bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 15
Judges 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
1
Awo ebbanga bwe lyayitawo, Samusooni n'agenda okukyalira mukazi we mu makungula g'eŋŋaano, ng'amutwalidde embuzi ento. N'agamba kitaawe w'omukazi nti: “Njagala kuyingira mu kisenge kya mukazi wange.” Kyokka kitaawe w'omukazi n'atamuganya kuyingira.
2
N'agamba Samusooni nti: “Nze nalowooza nga wamukyayira ddala, ne mmuwa munno. Naye muganda we omuto ye asinga obulungi. Gw'oba otwala mu kifo ky'oli.”
3
Samusooni n'abagamba nti: “Ku mulundi guno sigenda kuvunaanibwa olw'akabi ke nnaakola Abafilistiya!”
4
Awo n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'asiba bibiri bibiri emikira, n'ateeka ebitawuliro mu bifundikwa.
5
Bwe yamala okukoleeza omuliro ku bitawuliro, n'abita okugenda mu nnimiro z'eŋŋaano ez'Abafilistiya. Bw'atyo n'ayokya ebinywa by'eŋŋaano ekunguddwa, era n'eyo ekyali mu nnimiro, wamu n'ennimiro z'emiti emizayiti.
6
Awo Abafilistiya ne beebuuza nti: “Akoze kino ye ani?” Ne babagamba nti: “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna. Kubanga Omutimuna oyo yaddira muka Samusooni, n'amuwa munne wa Samusooni.” Awo Abafilistiya ne bagenda ne bookya omuliro omukazi n'ab'omu maka ga kitaawe.
7
Samusooni n'abagamba nti: “Bwe mukoze bwe mutyo? Kale, sijja kuweera nga sinnabawoolerako ggwanga.”
8
N'abalumba n'amaanyi mangi, n'abattamu bangi nnyo. N'agenda n'abeera mu mpuku ku kagulungujjo k'olwazi lw'e Etamu.
9
Awo Abafilistiya ne bajja ne basiisira mu Buyudaaya, ne bazinda ekibuga Lehi.
10
Abantu b'omu Buyudaaya ne bababuuza nti: “Lwaki mutulumbye?” Ne baddamu nti: “Tuzze okukwata Samusooni tumusibe, twesasuze bye yatukola.”
11
Awo abasajja enkumi ssatu aba Buyudaaya ne bagenda ku mpuku, ku kagulungujjo k'e Etamu ne bagamba Samusooni nti: “Tomanyi ng'Abafilistiya be batufuga? Kale kiki ky'otukoze?” N'abaddamu nti: “Nneesasuza kye bankola.”
12
Ne bamugamba nti: “Tuzze okukusiba tukuweeyo gye bali.” Samusooni n'agamba nti: “Mundayirire nga temunzite mmwe mwennyini.”
13
Ne bagamba nti: “Tetujja kukutta, wabula tujja kukusiba busibi, tukuweeyo gye bali.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya, ne bamuggyayo mu mpuku.
14
Bwe yatuuka e Lehi, Abafilistiya ne badduka okujja gy'ali nga baleekaana. Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'akutula emiguwa egyali gimusibye emikono, ne giba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro.
15
N'agwikiriza oluba lw'endogoyi olubisi, n'alulonda, n'alussa abasajja lukumi.
16
Samusooni n'agamba nti: “Oluba lw'endogoyi ndussizza abasajja lukumi. Mbatuumye entuumu n'oluba lw'endogoyi.”
17
Bwe yamala okwogera ebyo, n'asuula wansi oluba lw'endogoyi. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamati Lehi.
18
Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti: “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Kaakano nfe ennyonta, nkwatibwe abatali bakomole?”
19
Awo Mukama n'aggula ekinnya ekiri eyo e Lehi, ne muvaamu amazzi. Samusooni bwe yamala okunywa, n'awulira ng'ali bulungi, n'addamu obulamu. Oluzzi olwo ne lutuumibwa erinnya Enihakkore, oluli e Lehi n'okutuusa kati.
20
Awo Samusooni n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu biseera by'Abafilistiya.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21