bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 1
Mark 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Gano ge Mawulire Amalungi aga Yesu Kristo Omwana wa Katonda.
2
Gaatandika ng'omulanzi Yisaaya bwe yawandiika nti: “Laba, ntuma omubaka wange akukulembere okukwerulira ekkubo.
3
Waliwo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ”
4
Bw'atyo ne Yowanne Omubatiza yajja mu ddungu, n'abatiza abantu, nga bw'abategeeza nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.”
5
Abantu baavanga mu byalo by'omu Buyudaaya bwonna, ne mu kibuga Yerusaalemu, ne bagenda eri Yowanne, ne baatula ebibi byabwe. Olwo Yowanne n'ababatiza mu Mugga Yorudaani.
6
Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.
7
Abantu yabategeezanga nti: “Waliwo ansinga obuyinza ajja okujja. Sisaanira na kukutama kusumulula buguwa bwa ngatto ze.
8
Nze mbatiza na mazzi kyokka ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu.”
9
Mu nnaku ezo, Yesu n'ava e Nazaareeti eky'omu Galilaaya, n'agenda okubatizibwa Yowanne mu Mugga Yorudaani.
10
Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, amangwago n'alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo Mutuukirivu ng'afaanana ng'ejjiba, ng'akka ku ye.
11
Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” Mak 9:7; Luk 3:22
12
Amangwago Yesu n'asindikibwa Mwoyo Mutuukirivu mu ddungu,
13
n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Sitaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
14
Awo Yowanne bwe yamala okuggalirwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Galilaaya, n'ategeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda,
15
n'agamba nti: “Ekiseera ekyali kirindirirwa kituuse. Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkirize Amawulire Amalungi.”
16
Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja ey'e Galilaaya, n'alaba abavubi Simooni ne Andereya abooluganda, nga batega obutimba mu nnyanja.
17
Awo n'abayita nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.”
18
Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye.
19
Ate bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe.
20
Amangwago nabo n'abayita. Ne baleka awo kitaabwe Zebedaayo n'abapakasi be mu lyato, bo ne bagenda ne Yesu.
21
Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka mu kibuga Kafarunawumu. Amangwago, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza.
22
Abantu abaamuwulira, ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu. Kuba yayigiriza nga nnannyinibuyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.
23
Amangwago, omuntu aliko omwoyo omubi, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'aleekaana nnyo nti:
24
“Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi! Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.”
25
Yesu n'aboggolera omwoyo ogwo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu oyo muveeko!”
26
Omwoyo omubi ne gujugumiza omuntu oyo, ne gumuvaako nga guwowoggana.
27
Bonna abaaliwo ne bawuniikirira, nga bwe beebuuzaganya nti: “Ono wa ngeri ki? Enjigiriza ye mpya, ate ejjudde obuyinza! Era alagira emyoyo emibi ne gimuwulira”
28
Okuva olwo, ettutumu lye ne libuna mu nsi ey'e Galilaaya yonna n'emiriraano.
29
Olwava mu kkuŋŋaaniro, Yesu n'agenda negi.
30
Yali yaakatuuka, ne bamubuulira nti nnyina wa muka Peetero omusujja gumuluma.
31
Yesu n'agenda w'ali, n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa. Amangwago, omusujja ne gumuwonako, n'atandika okubaweereza.
32
Akawungeezi, ng'enjuba egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abaliko emyoyo emibi.
33
Era abantu ab'omu kibuga ekyo bonna ne beeyiwa wabweru ku mulyango.
34
N'awonya bangi abalina endwadde eza buli ngeri. N'abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako, nga tagikkiriza kumwatuukiriza, kubanga gyali gimumanyi.
35
Awo Yesu n'azuukuka ku makya nnyo, obudde nga tebunnalaba, n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu, n'abeera eyo ng'asinza Katonda.
36
Simooni ne banne, ne bagenda nga bamunoonyereza.
37
Bwe baamulaba, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.”
38
Yesu n'abaddamu nti: “Tugende mu bubuga obulala obuliraanye wano, nayo njigirizeeyo, kubanga ekyo kye najjirira.”
39
Bw'atyo n'atambula Galilaaya yonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era abantu abaliko emyoyo emibi ng'agibagobako.
40
Awo omugenge n'ajja eri Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
41
Yesu n'amukwatirwa ekisa, n'agolola omukono n'amukwatako, n'amugamba nti: “Njagala, wona.”
42
Amangwago, ebigenge ne bimuwonako, n'alongooka.
43
Yesu n'amukuutira nnyo era n'amusiibula amangwago,
44
nga bw'amugamba nti: “Kino tokibuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
45
Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16