bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 13
Mark 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Awo Yesu bwe yali ng'ava mu Ssinzizo, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja n'ebizimbe ebyewuunyisa!”
2
Yesu n'amuddamu nti: “Ebizimbe bino ebinene obiraba? Mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna galisuulibwa wansi.”
3
Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, ng'atunuulidde Essinzizo, Peetero ne Yakobo ne Yowanne ne Andereya, ne bamubuuza mu kyama nti:
4
“Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti ebyo byonna binaatera okubaawo?”
5
Awo Yesu n'abagamba nti: “Mwerinde waleme kubaawo ababuzaabuza.
6
Bangi balijja nga beeyita nze, era balibuzaabuza bangi.
7
Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
8
“Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
9
“Naye mwekuume, kubanga balibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Balibakubira mu makuŋŋaaniro. Era muliyimirira mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, okubatuusaako obubaka bwange.
10
Enkomerero nga tennatuuka, Amawulire Amalungi gateekwa okumala okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna.
11
“Era bwe babakwatanga ne babawaayo mu mbuga z'amateeka, temweraliikiriranga kye munaayogera, naye mwogeranga ekyo Katonda ky'abawa okwogera mu kaseera ako. Ebigambo bye mulyogera tebiriba byammwe, wabula bya Mwoyo Mutuukirivu.
12
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.
13
Era nammwe abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
14
“Bwe muliraba ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa nga kiteekeddwa we kitandibadde (oyo asoma bino ategeere), olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.
15
Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.
16
Era aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye.
17
Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo nga balibonaabona nnyo!
18
Mwegayirire Katonda, bino bireme kubaawo mu biseera eby'obutiti.
19
“Mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ebintu, okutuusa kati. Era tewaliddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.
20
Era singa Katonda teyakendeeza ku nnaku ezo, ez'okubonaabona, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu be, ennaku ezo yazikendeezaako.
21
“Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano,’ oba nti: ‘Ali wali,’ temukkirizanga.
22
Abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka.
23
Naye mwerinde, mbabuulidde byonna nga bukyali.
24
“Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka.
25
Emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.
26
“Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa.
27
Alituma bamalayika mu njuuyi zonna ennya ez'ensi, okukuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
28
“Mulabire ku muti omutiini muyige. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
29
Mu ngeri ye emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo.
30
“Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.
31
Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
32
“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde Mwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
33
Mwerinde, mutunule, kubanga temumanyi kiseera kirindirirwa we kirituukira.
34
“Kino kifaananako n'ekyo omuntu ky'akola ng'agenda okutambula olugendo. Bw'aba ava awaka, aleka akwasizza buli muddu we omulimu gw'anaakola, n'omuggazi n'amulagira okukuuma.
35
Kale mutunule, kubanga temumanyi nnannyini maka w'alijjira, oba mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba mu makya,
36
aleme kubagwako bugwi, n'abasanga nga mwebase.
37
Kye ŋŋamba mmwe, era kye ŋŋamba n'abalala bonna nti: Mutunule!”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16