bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 14
Mark 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Mu kiseera ekyo, waali wakyabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, zituuke. Bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka baali mu kukola lukwe lwa kukwata Yesu, bamutte.
2
Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
3
Awo Yesu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde, alya, mu kiseera ekyo omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo. N'asaanukula eccupa eyo, omuzigo n'agufuka ku mutwe gwa Yesu.
4
Naye abamu ku baaliwo, ne basunguwala. Ne bagambagana nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa bwe gutyo?
5
Gubadde guyinza okutundibwa, ne guvaamu ensimbi ezisoba mu denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu.” Bwe batyo omukazi ne bamunenya.
6
Kyokka Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, lwaki mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi.
7
Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, era buli lwe mwagala, muyinza okubayamba. Naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
8
Omukazi ono akoze ky'ayinza, omubiri gwange agusiize omuzigo ogw'akawoowo nga sinnafa, n'aguteekerateekera okuziikibwa.
9
Era mazima mbagamba nti wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
10
Awo Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu, ng'ayagala okulyamu Yesu olukwe, amuweeyo gye bali.
11
Bakabona bwe baawulira ky'ayagala okubakolera, ne basanyuka, era ne basuubiza okumuwa ensimbi. Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
12
Ku lunaku olusooka olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?”
13
Awo Yesu n'atuma babiri ku bo, n'abagamba nti: “Mulage mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere.
14
Era mugambe nnannyini nnyumba omuntu oyo mw'anaayingira, nti: ‘Omuyigiriza agambye nti ekisenge kyange kiruwa, nze n'abayigirizwa bange mwe tunaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’
15
Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mututegekere omwo.”
16
Awo abayigirizwa ne basitula, ne balaga mu kibuga. Era ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba. Ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
17
Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri.
18
Awo bwe baali batudde nga balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe alya nange kaakati, anandyamu olukwe.”
19
Abayigirizwa be ne banakuwala, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Omuntu oyo, ye nze?”
20
Yesu n'abaddamu nti: “Ye omu ku mmwe ekkumi n'ababiri, akoza nange mu kibya.
21
Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
22
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu n'abawa, n'abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe mubiri gwange.”
23
Ate n'akwata ekikopo, era bwe yamala okwebaza Katonda n'abawa bonna ne banywa,
24
n'abagamba nti: “Kino gwe musaayi gwange ogunaayiyibwa ku lw'abangi, era ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda.
25
Mazima mbagamba nti siryongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa, nga muggya, mu Bwakabaka bwa Katonda.”
26
Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti.
27
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ne zisaasaana.’
28
Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.”
29
Awo Peetero n'amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira nze siikwabulire.”
30
Yesu n'amuddamu nti: “Mazima nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu, mu kiro kino kyennyini.”
31
Kyokka Peetero n'addamu n'akakasiza ddala nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.
32
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nga nze neegayirira Katonda.”
33
N'atwalako Peetero ne Yakobo ne Yowanne, n'atandika okutya ennyo n'okweraliikirira.
34
N'abagamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde ennaku eyinza n'okunzita! Musigale wano, mukuume.”
35
Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Singa kiyinzika, essaawa ey'okubonaabona ereme kuntuukako.”
36
Era n'agamba nti: “Kitange, oyinza byonna. Nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona. Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
37
Awo n'ajja, n'asanga Peetero ne Yakobo ne Yowanne nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde okumala essaawa emu bw'eti?
38
Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa, kubanga omwoyo mumalirivu, naye omubiri munafu.”
39
Era n'agenda ne yeegayirira Katonda mu ngeri ye emu nga bwe yeegayiridde mu kusooka.
40
Awo n'ajja nate n'abasanga era nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo. Ne babulwa kye banaamuddamu.
41
Bwe yajja omulundi ogwokusatu n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Mulekere awo! Essaawa etuuse! Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi.
42
Musituke tugende. Laba, omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
43
Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga.
44
Olwo eyalyamu Yesu olukwe, yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate era mumutwale nga mumunywezezza.”
45
Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
46
Awo ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata ne bamunyweza.
47
Naye omu ku baali bayimiridde awo, n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona n'amukutulako okutu.
48
Awo Yesu n'ababuuza nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo, ng'abajjiridde omunyazi?
49
Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo nga njigiriza, ne mutankwata. Naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa biryoke bituukirizibwe.”
50
Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka.
51
Waaliwo omuvubuka eyali tayambadde kirala kyonna okuggyako olugoye, lwe yali yeebikkiridde. Abantu ne bamukwata ng'agoberera Yesu.
52
Kyokka omuvubuka oyo n'abeesumattulako, n'adduka bwereere, ne basigaza lugoye.
53
Awo Yesu ne bamutwala ewa Ssaabakabona. Bakabona abakulu bonna n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne batuula mu lukiiko.
54
Peetero yagoberera Yesu, ng'amwesuddeko ebbanga, n'ayingirira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, n'atuula n'abakuumi, n'ayota omuliro.
55
Olwo bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, kyokka ne batabuzuula.
56
Waaliwo bangi abaawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza, obujulizi bwabwe ne butakwatagana.
57
Era abamu ne basituka, ne bawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza nti:
58
“Twamuwulira ng'agamba nti: ‘Ndimenyawo Essinzizo lino eryazimbibwa abantu, ate mu nnaku ssatu, ndizimbawo eddala, nga terizimbiddwa bantu.’ ”
59
Naye obujulizi bwa bano nabwo ne butakwatagana.
60
Awo Ssaabakabona n'ayimirira bonna we bamulabira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina kyakuddamu? Kiki ky'ogamba ku bino bye bakulumiriza?”
61
Kyokka Yesu n'asirika, n'ataddamu. Ssaabakabona n'ayongera okumubuuza nti: “Gwe Kristo, Omwana wa Katonda atenderezebwa?”
62
Awo Yesu n'addamu nti: “Ye nze. Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira mu bire eby'eggulu.”
63
Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa abalala?
64
Muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde. Mmwe mulowooza mutya?” Awo bonna ne basalira Yesu omusango nti asaanidde okuttibwa.
65
Abamu ne batandika okumuwandira amalusu, ne bamubikka ku maaso, era ne bamukuba ebikonde nga bagamba nti: “Tulage akukubye.” Awo abakuumi ne bamutwala nga bamukuba empi.
66
Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bawala abaweereza ewa Ssaabakabona, n'ajja.
67
Bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amwetegereza, n'agamba nti: “Naawe wali n'Omunazaareeti oyo, Yesu.”
68
Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Ky'ogamba sikimanyi era sikitegeera.” AwoPeetero n'ava mu luggya, n'alaga mu lukuubo olufuluma ebweru. Awo enkoko n'ekookolima.
69
Awo omuwala oli n'addamu okulaba Peetero, n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Omusajja ono ye omu ku bagoberezi ba Yesu.”
70
Kyokka Peetero ne yeeyongera okwegaana. Era nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bamugamba nate nti: “Ddala oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga naawe oli Mugalilaaya.”
71
Kyokka Peetero n'atandika okwekolimira era n'okulayira nti: “Nze simanyi muntu oyo gwe mwogerako!”
72
Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika, n'akaaba amaziga.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16