bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 3
Mark 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Awo Yesu n'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro. Era omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze.
2
Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamwekaliriza amaaso, balabe oba anaawonya omuntu oyo ku Sabbaato, balyoke bagende bawaabe.
3
Yesu n'agamba ow'omukono ogukaze nti: “Situka, oyimirire wano, bonna we bayinza okukulabira.”
4
Awo n'abuuza abaaliwo nti: “Kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba kukola bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Naye bo ne ba sirika busirisi.
5
Yesu n'abeebunguluza amaaso ng'abasunguwalidde, era nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu oyo nti: “Wamma golola omukono gwo.” N'agugolola, ne guwonera ddala.
6
Amangwago, Abafarisaayo ne bafuluma, ne beetaba wamu n'abawagizi ba Herode, bateese nga bwe banaazikiriza Yesu.
7
Awo Yesu n'alaga ku lubalama lw'ennyanja wamu n'abayigirizwa be. Abantu bangi ne bamugoberera, nga bava mu Galilaaya ne mu Buyudaaya,
8
ne mu kibuga Yerusaalemu, ne mu kitundu ky'e Yidumeya, n'emitala w'Omugga Yorudaani, ne mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni. Bano bonna bajja gy'ali, kubanga baali bawulidde by'akola.
9
Olw'abantu okuyitirira obungi, Yesu n'alagira abayigirizwa be bategekewo eryato limubeere kumpi, sikulwa ng'ekibiina ky'abantu kimunyigiriza.
10
Yabalagira okukola kino kuba, nga bwe yali awonyezza abantu abangi, abalwadde bonna baali beenyigiriza, basobole okumutuukirira, bamukwateko.
11
Abantu abaliko emyoyo emibi bwe baamulabangako, ne bagwa wansi mu maaso ge, ne baleekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!”
12
Kyokka Yesu n'agaanira ddala emyoyo emibi okumwatuukiriza.
13
Awo Yesu n'alaga mu kitundu eky'ensozi, n'ayita abo be yalondamu. Ne bajja w'ali,
14
n'ayawulako kkumi na babiri, babeerenga wamu naye, era abatumenga okubunyisa obubaka bwe.
15
N'abawa n'obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu.
16
Ekkumi n'ababiri be yayawulako be bano: Simooni, gwe yayongerako erya Peetero;
17
batabani ba Zebedaayo: Yakobo ne Yowanne, be yayongerako erya “Bowaneruge” (ekitegeeza nti: “Ababwatuka nga laddu”),
18
ne Andereya, ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Taddaayo, ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye,
19
ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.
20
Awo Yesu n'ayingira mu nnyumba. Abantu bangi ne baddamu okukuŋŋaanira w'ali. Ye n'abayigirizwa be ne babulwawo n'akaseera okulya emmere.
21
Ababe bwe baawulira, ne bagenda okumukwata, kubanga baali bagamba nti: “Alaluse?”
22
Abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, ne bagamba nti: “Aliko Beeluzebuli omukulu w'emyoyo emibi, era akozesa buyinza bwa Beeluzebuli oyo okugigoba ku bantu.”
23
Awo Yesu n'ayita abantu, n'abagamba mu ngero nti: “Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani ku bantu?
24
Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu, ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira.
25
Ne mu maka, abantu baamu bwe batategeeragana, baawukana, amaka ago ne gasasika.
26
Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obuyinza bwe ne bwawukanamu, aba takyaliwo, ng'azikiridde.
27
“Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wa maanyi n'anyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kumusiba, olwo n'alyoka anyaga eby'omu nnyumba ye.
28
“Mazima mbagamba nti: abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, era bayinza okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna.
29
Naye buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa, wabula aba akoze ekibi ky'asigala nakyo emirembe gyonna.”
30
Kino Yesu yakyogera okuddamu abo abaali bagambye nti aliko omwoyo omubi.
31
Awo baganda ba Yesu ne nnyina, ne bajja gy'ali, ne bayimirira wabweru, ne bamutumira nga bamuyita.
32
Ekibiina ky'abantu kyali kitudde nga kimwetoolodde, ne bamugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.”
33
Yesu n'abaddamu nti: “Baba bantu ba ngeri ki be mpita mmange ne baganda bange?”
34
Awo ne yeebunguluza amaaso abantu abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano.
35
Buli akola Katonda by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16