bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 8
Mark 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Awo mu nnaku ezo, abantu ne bakuŋŋaana bangi nate. Bwe baali nga tebakyalina mmere, Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti:
2
“Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya.
3
Bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe ng'enjala ebaluma, bajja kuzirikira mu kkubo, kubanga abamu baava wala.”
4
Abayigirizwa be ne baddamu nti: “Mu ddungu omuntu aggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?”
5
Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka!” Ne baddamu nti: “Musanvu.”
6
Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n'agimenyaamenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu. Ne bagibagabira.
7
Baalinawo n'obwennyanja mpa we buzira. Bwe yamala okwebaza Katonda, nabwo n'alagira babubagabire.
8
Abantu ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa be ne bakuŋŋaanya ebitundutundu ebyalemerawo, ne bijjuza ebibbo musanvu.
9
Abantu baali bawera ng'enkumi nnya.
10
Awo Yesu n'abasiibula. Amangwago n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'alaga mu kitundu eky'e Dalumanuta.
11
Abafarisaayo ne bagenda eri Yesu, ne batandika okuwakana naye, ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
12
Awo n'assa ekikkowe, olw'okulumwa mu mwoyo gwe, n'agamba nti: “Abantu b'omulembe guno lwaki basaba akabonero? Mazima mbagamba nti ab'omulembe guno tewali kabonero kanaabaweebwa.”
13
N'abavaako, n'asaabala mu lyato nate, n'alaga ku ludda olulala olw'ennyanja.
14
Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati. Wabula mu lyato baalinamu omugaati gumu.
15
Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafarisaayo, n'ekizimbulukusa ekya Herode.”
16
Bo ne bagambagana nti: “Tetulina migaati!”
17
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? N'okutuusa kati temunnaba kwetegereza na kutegeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
18
Mulina amaaso, naye temulaba? N'amatu ge mulina tegawulira? Era temujjukira?
19
Bwe nagabira abantu enkumi ettaano emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Kkumi na bibiri.”
20
“Ate bwe nagabira abantu enkumi ennya emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Ebibbo musanvu.”
21
Awo n'ababuuza nti: “N'okutuusa kati temunnaba kutegeera?”
22
Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka e Betusayida. Abantu abamu ne baleeta muzibe awali Yesu, ne bamwegayirira amukwateko.
23
Yesu n'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kabuga ako. Bwe yamala okufujja amalusu ku maaso ga muzibe, n'okugakwatako, n'amubuuza nti: “Oliko ky'olaba?”
24
Muzibe n'alabamu katono, n'agamba nti: “Ndaba abantu abatambula, wabula bandabikira ng'emiti.”
25
Yesu n'ayongera okumukwata ku maaso, ne gazibukira ddala, n'alaba bulungi buli kintu.
26
Yesu n'agamba eyali muzibe nti: “Genda ewammwe, n'eri mu kabuga toddayo.”
27
Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'omu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo. Bwe baali nga batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba banjogerako, bampita ani?”
28
Ne bamutegeeza nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza. Abalala bagamba nti ggwe Eliya, ate abalala nti oli omu ku balanzi.”
29
Awo n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo.”
30
Yesu n'abakuutira, kino baleme kukibuulirako muntu mulala.
31
Awo Yesu n'atandika okubayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka. Era alittibwa, naye nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
32
Bino yabyogera mu lwatu. Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya.
33
Kyokka Yesu bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba abayigirizwa be abalala, n'akangukira Peetero nti: “Nva mu maaso, oli Sitaani! Ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
34
Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.
35
Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, alibulokola.
36
“Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe?
37
Tewali kintu na kimu, muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe.
38
Buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu bantu b'omulembe guno abava ku Katonda era ababi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika abatuukirivu.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16