bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 15
Mark 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Obudde bwe bwali nga bwakakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, era n'abakiise abalala bonna, ne bateesa. Ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato.
2
Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
3
Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira emisango mingi.
4
Pilaato n'amubuuza nti: “Tolina kyakuddamu? Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi.”
5
Kyokka Yesu n'atayongera kumuddamu kigambo, Pilaato ne yeewuunya.
6
Mu biseera eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yatanga omusibe gwe baamusabanga okuta.
7
Ku mulundi guno, mu kkomera mwalimu omusajja ayitibwa Barabba, eyasibwa awamu ne bajeemu banne abatta abantu mu kajagalalo.
8
Awo ekibiina ky'abantu ne kyambuka, ne kitandika okusaba Pilaato okubakolera nga bwe yali amanyidde.
9
Pilaato n'abaddamu ng'ababuuza nti: “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?”
10
Ekyo yakyogera, kubanga yamanya nti bakabona abakulu baali bawaddeyo Yesu lwa kumukwatirwa buggya.
11
Kyokka bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu nti Pilaato abateere Barabba mu kifo kya Yesu.
12
Awo Pilaato n'abagamba nti: “Kale gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya nnaamukola ntya?”
13
Bo ne bamuddamu nga baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba!”
14
Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
15
Awo Pilaato olw'okwagala okusanyusa ekibiina ky'abantu, n'abateera Barabba, ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
16
Awo abaserikale ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato oluyitibwa Purayitoriyo, ne bayita bannaabwe ab'ekibinja ekyo kyonna, ne bakuŋŋaana.
17
Ne bambaza Yesu olugoye olumyufu, ne bawetaaweta amaggwa, ne bagakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe.
18
Awo ne batandika okumulamusa nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!”
19
Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bafukamira nga beefuula abamussaamu ekitiibwa.
20
Awo bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye olumyufu, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamufulumya, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
21
Awo Simooni Omukireene yali ayitawo ng'ava mu kyalo, abaserikale ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. Simooni ono ye kitaawe wa Alekizanda ne Ruufo.
22
Awo Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga.
23
Ne bamuwa omwenge gw'emizabbibu nga gutabuddwamu envumbo eyitibwa mirra. Kyokka n'agaana okugunywa.
24
Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu, balabe buli omu lw'anaatwala,
25
Baamukomerera ku musaalaba nga ziwera essaawa ssatu ez'enkya.
26
Omusango ogumuvunaanibwa ne guwandiikibwa nti: “KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
27
Baakomerera n'abanyazi babiri buli omu ku musaalaba ogugwe, okumpi ne Yesu, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. [
28
Ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti: “Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka.”]
29
Abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ha! Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu,
30
weewonye! Va ku musaalaba okke!”
31
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, nabo ne bamukudaalira nga bagambagana nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya yennyini!
32
Kristo, Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulabe, tulyoke tumukkirize!” N'abo abaakomererwa buli omu ku musaalaba okumpi ne Yesu, ne bamuvuma.
33
Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.
34
Ku ssaawa ey'omwenda Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
35
Abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya!”
36
Awo omu n'adduka n'annyika ekyangwe mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa, nga bw'agamba nti: “Leka tulabe oba nga Eliya anajja n'amuggya ku musaalaba!”
37
Yesu n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
38
Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.
39
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo ng'atunuulidde Yesu, bwe yalaba engeri gy'afuddemu, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda!”
40
Era waaliwo abakazi abaali ewalako nga balengera. Abamu ku bo be bano: Mariya Magudaleena, Salome, ne Mariya nnyina Yose ne Yakobo omuto.
41
Abakazi bano baayitanga ne Yesu nga bamuweereza, bwe yali mu Galilaaya. Era waaliwo abakazi abalala bangi abajja naye ng'ayambuka e Yerusaalemu.
42
Obudde bwe bwali buwungeera, ate nga lwali lunaku lwa kweteekateeka, kwe kugamba, olukulembera Sabbaato,
43
Yosefu ow'e Arimataya n'ajja. Yali mubaka mu lukiiko olukulu olw'Abayudaaya, assibwamu ekitiibwa. Era naye yali alindirira okujja kw'Obwakabaka bwa Katonda. Yosefu oyo n'aguma, n'agenda ewa Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu.
44
Pilaato ne yeewuunya okuwulira nti Yesu yafudde dda. N'ayita omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, n'amubuuza oba nga Yesu yafudde dda.
45
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yamala okukakasa Pilaato nti Yesu amaze okufa, Pilaato n'akkiriza Yosefu okutwala omulambo.
46
Awo Yosefu n'agula olugoye olweru olulungi, n'awanula omulambo gwa Yesu ku musaalaba, n'aguzinga mu lugoye olwo, n'aguteeka mu ntaana ey'empuku, era eyali esimiddwa mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja, n'aliggaza omulyango gw'entaana.
47
Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yose, ne beetegereza omulambo gwa Yesu we guteekeddwa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16