bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 6
Mark 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu nsi y'ewaabwe, n'abayigirizwa be ne bagenda naye.
2
Olunaku lwa Sabbaato bwe lwatuuka, n'atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro. Abantu bangi abaaliwo. Bwe baawulira by'ayigiriza, ne bawuniikirira! Ne bagamba nti: “Bino byonna yabiggya wa? Magezi ga ngeri ki gano ge yaweebwa? Era asobola atya okukola ebyamagero bino?
3
Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yose, ne Yuda, ne Simooni? Era bannyina tebabeera kuno naffe?” Awo ne bamukwatirwa obuggya.
4
Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
5
Era eno Yesu teyasobola kukolerayo byamagero, okuggyako okuwonyaayo abalwadde abatonotono, ng'abakwatako.
6
Yeewuunya nnyo kubanga abantu baayo tebaalina kukkiriza. Awo n'agenda ng'ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abatuma babiri babiri. Era n'abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
8
N'abakuutira nti: “Mu lugendo luno temugenda na kantu na kamu, okuggyako omuggo. Temutwala mmere, wadde ensimbi, oba ensawo ng'ez'abasabiriza.
9
Naye mwambale engatto, era buli omu ayambale ekkanzu emu yokka, tatwala yaakubiri.”
10
Era n'abagamba nti: “Buli kibuga kye muba mutuuseemu, musule mu maka g'abantu ababaanirizza, okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
11
Bwe mutuuka mu kifo ne batabaaniriza, oba ne bagaana okubawuliriza, nga muvaayo. Era bwe muba muvaayo, n'enfuufu eba ebakutte ku bigere mugyekunkumulangako, olw'okulabula abantu abo.”
12
Awo abayigirizwa ne bagenda nga bategeeza abantu nti: “Musaanidde okuleka ebikolwa byammwe ebibi.”
13
Ne bagoba emyoyo emibi mingi ku bantu. Ne basiiga abalwadde omuzigo ne babawonya.
14
Awo Kabaka Herode n'awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna. Abamu nga bagamba nti: “Ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”
15
Naye abalala nga bagamba nti: “Ye Eliya.” N'abalala nti: “Mulanzi, omu ku balanzi ab'edda.”
16
Herode bwe yabiwulira n'agamba nti: “Yowanne Omubatiza gwe natemako omutwe, ye azuukidde!”
17
Herode yennyini ye yali alagidde, Yowanne akwatibwe era aggalirwe mu kkomera, kino kisanyuse Herodiya, Herode gwe yali awasizza, ng'amusigudde ku muganda we Filipo.
18
Yowanne Omubatiza yagambanga Herode emirundi mingi nti: “Tokkirizibwa kusigula muka muganda wo n'omufuula mukazi wo.”
19
Kino ne kireetera Herodiya okuwalana Yowanne, n'ayagala n'okumutta, kyokka nga tasobola.
20
Herode yali atya Yowanne, ng'amanyi nti Yowanne musajja mwesimbu, era mutuukirivu, kyeyava amukuuma aleme kubaako kabi. Yayagalanga okumuwuliriza, newaakubadde buli lwe yamuwulirizanga, yeeraliikiriranga nnyo mu mutima.
21
Naye olunaku lwatuuka, Herodiya n'afuna akakisa. Lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Herode. Herode n'afumba embaga, n'ayita abakungu be, n'abakulu b'abaserikale, n'abantu abatutumufu mu Galilaaya.
22
Muwala wa Herodiya bwe yajja n'azina, n'asanyusa nnyo Herode n'abagenyi be. Awo kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nnaakikuwa.”
23
N'alayira n'okulayira nti: “Kyonna kyonna ky'ononsaba nnaakikuwa, ne bw'onooyagala obwakabaka bwange tubugabanire wakati.”
24
Awo omuwala n'afuluma, ne yeebuuza ku nnyina nti: “Kiki kye mba nsaba?” Nnyina n'addamu nti: “Omutwe gwa Yowanne Omubatiza gw'oba osaba.”
25
Amangwago omuwala n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'amusaba nti: “Kye njagala, kwe kumpeerawo mu kaseera kano, omutwe gwa Yowanne Omubatiza, nga guteekeddwa ku ssowaani.”
26
Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, naye olw'okuba nga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'atayagala kumumma ky'amusabye.
27
Amangwago kabaka n'atuma omuserikale omukuumi w'ekkomera okuleeta omutwe gwa Yowanne. Gwe yatuma, n'agenda mu kkomera n'atemako Yowanne omutwe.
28
Era n'aguleetera ku ssowaani, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina.
29
Abayigirizwa ba Yowanne bwe baamanya, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika.
30
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu, ne bamunyumiza byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza.
31
Ye n'abagamba nti: “Mujje, tugende mu kifo mwe tunaasobolera okuba ffekka, muwummuleko.” Baali babuliddwa n'akaseera okulya emmere olw'abantu abangi abajjanga we bali. Bano baabanga bavaawo, ng'ate abalala batuuka.
32
Awo ne basaabala mu lyato, ne bagenda bokka, mu kifo ekitaalimu bantu.
33
Naye abantu bangi ne babalaba nga bagenda, ne babategeera nti be bo. Olwo ne bava mu bibuga byonna, ne bayita ku lukalu, nga bagenda badduka, ne babeesooka mu kifo Yesu n'abayigirizwa be gye baali balaga.
34
Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba! Awo n'amala ekiseera kiwanvu ng'abayigiriza.
35
Abayigirizwa bwe baalaba ng'obudde bunaatera okuwungeera, ne bajja awali Yesu, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buubuno buwungeera.
36
Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bubuga obuliraanye wano.”
37
Yesu n'abaddamu nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tubagulire emigaati egya denaari ebikumi bibiri, tubawe balye?”
38
Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe” Bwe baamala okwetegereza, ne bamugamba nti: “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
39
Awo Yesu n'alagira abantu bonna batuule ku muddo mu bibinja.
40
Ne batuula nga bali mu bibinja, ebimu nga birimu abantu kikumi kikumi, ebirala amakumi ataano ataano.
41
Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be bagigabire abantu. Era n'ebyennyanja ebibiri n'abimenyaamenyamu, bonna ne bafuna.
42
Buli muntu n'alya n'akkuta.
43
Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya ebitundutundu by'emigaati n'eby'ebyennyanja ebyasigalawo, ne bijjuza ebibbo kkumi na bibiri.
44
Ku bantu abaalya, omuwendo gw'abasajja gwali enkumi ttaano.
45
Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulemberemu, bagende e Betusayida, emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu.
46
Bwe yamala okubasiibula, n'ayambuka ku lusozi okusinza Katonda.
47
Obudde we bwazibira, ng'abayigirizwa be bali mu lyato ku nnyanja, Yesu ye ng'ali yekka ku lukalu.
48
Awo n'abalengera nga bategana okuvuga eryato n'enkasi, olw'omuyaga ogwali gubafuluma gye balaga. Obudde bwali bunaatera okukya, n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. N'aba ng'ayagala okubayitako.
49
Naye bo bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne balowooza nti muzimu. Ne baleekaana,
50
kubanga bonna baamulaba, ne batya nnyo. Kyokka amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti: “Mugume omwoyo, ye nze. Temutya!”
51
Awo n'asaabala mu lyato mwe baali. Omuyaga ne gulekera awo okukunta. Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo,
52
kubanga ekyewuunyo eky'emigaati baali tebategedde makulu gaakyo. Emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
53
Bwe baatuuka emitala w'ennyanja, mu kitundu eky'e Gennesareeti, ne bagoba ku lubalama.
54
Bwe baava mu lyato, abantu ne bategeera Yesu amangwago.
55
Ne badduka nga bayita buli wantu mu kitundu ekyo, ne baleeta abalwadde, nga babasitulidde ku butanda, ne babatwala wonna we baawuliranga nti Yesu w'ali.
56
Wonna wonna we yalaganga, mu butale, mu bibuga, oba mu byalo, abantu bassanga abalwadde mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako, baawona.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16