bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 5
Mark 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa.
2
Yesu bwe yali yaakava mu lyato, omuntu aliko omwoyo omubi n'ava mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, n'amusisinkana.
3
Omuntu oyo yasulanga mu mpuku ezo. Waali tewakyali muntu asobola kumukuuma nga musibe na kintu kyonna, wadde olujegere.
4
Emirundi mingi yasibibwanga n'enjegere emikono n'amagulu, kyokka zonna n'azikutulakutula. Era tewaali muntu wa maanyi n'omu ayinza kumusobola.
5
Bulijjo emisana n'ekiro, yasinziiranga mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, ne ku nsozi, n'awowoggana, era nga yeesala n'amayinja.
6
Awo bwe yalengera Yesu, n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amussaamu ekitiibwa ng'amufukaamirira.
7
Era n'awowoggana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde ku lw'ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.”
8
Yagamba bw'atyo, kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo.
9
Awo Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Erinnya lyange nze Ggye, kubanga tuli bangi.”
10
Ne gumwegayirira nnyo nti: “Totugoba mu kitundu kya nsi kino!”
11
Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi nga zirya.
12
Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Tusindike mu mbizzi, ze tuba tuyingiramu.”
13
N'agikkiriza, ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana eryali liweramu embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
14
Awo abaali bazirabirira ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo.
15
Ne batuuka awali Yesu, ne balaba omuntu eyabeerangako eggye ly'emyoyo emibi. Baamusanga atudde, ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya.
16
Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu ono, era nga giyingira mu mbizzi, ne banyumiza abantu abazze.
17
Olwo abantu ne beegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe.
18
Bwe yali ng'asaabala mu lyato, omuntu eyagobwako emyoyo emibi n'amwegayirira amukkirize ayitenga naye.
19
Kyokka Yesu n'agaana, era n'amugamba nti: “Ddayo ewammwe mu bantu bo, obabuulire byonna Mukama by'akukoledde, era nga bw'akukwatiddwa ekisa.”
20
Awo omuntu oyo n'agenda n'atandika okubuulira ab'omu kitundu ky'e Dekapoli, byonna ebyamukolerwa Yesu. Bonna abaabiwulira ne beewuunya.
21
Yesu bwe yasaabala mu lyato, n'alaga emitala w'ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abeera nabo ku lubalama.
22
Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, ayitibwa Yayiro, n'ajja. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira kumpi n'ebigere bye,
23
n'amwegayirira nnyo nti: “Kawala kange kali kumpi okufa. Jjangu ssebo, okakwateko, okawonye, kaleme kufa.”
24
Awo Yesu n'agenda naye. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nga bagenda bamunyigiriza.
25
Waaliwo omukazi eyali abonyeebonye n'obulwadde obw'ekikulukuto ky'omusaayi, okumala emyaka kkumi n'ebiri.
26
Yali awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo bangi abaamujjanjaba, kyokka n'atawona, wabula ng'endwadde ye yeeyongera bweyongezi okuba embi.
27
Bwe yawulira bye boogera ku Yesu, n'ajja gy'ali ng'ayita mu kibiina ky'abantu abaali bagoberera Yesu,
28
nga bw'agamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye, nnaawona.”
29
Bwe yakikwatako, amangwago ekikulukuto ky'omusaayi ne kikalira. N'awulira mu mubiri gwe ng'awonye obulwadde bwe.
30
Mu kaseera ako kennyini, Yesu n'awulira ng'obuyinza bwe obuwonya bukoze. N'akyukira ekibiina ky'abantu, n'abuuza nti: “Ani ankutte ku kyambalo?”
31
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Naawe olaba abantu bakunyigiriza, ate n'obuuza nti ani ankutteko?”
32
Awo Yesu ne yeebunguluza amaaso alabe amukutteko.
33
Ye omukazi eyamanya ekimukoleddwa, n'ajja ng'atidde, era nga bw'akankana, n'afukamira mu maaso ga Yesu, n'amutegeeza amazima.
34
Yesu n'amugamba nti: “Omuwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe, obulwadde bwo buwonere ddala.”
35
Yesu yali akyayogera, ababaka abaava mu maka ga Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bajja. Ne bategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde, ate Omuyigiriza okyamuteganyiza ki?”
36
Yesu bwe yawulira bano bye boogera, n'agamba Yayiro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
37
Awo Yesu n'agaana abantu abalala okugenda naye, okuggyako Peetero n'abooluganda Yakobo ne Yowanne.
38
Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, Yesu n'asangawo okwaziirana, ng'abantu bakaaba, era nga bakuba ebiwoobe.
39
Bwe yayingira, n'abagamba nti: “Lwaki mwaziirana, lwaki mukaaba? Omwana tafudde, wabula yeebase.”
40
Ne bamusekerera. Bwe yamala okugobawo abalala bonna, n'atwala abazadde b'omwana, n'abayigirizwa be abasatu, n'ayingira nabo mu kisenge omwana mw'ali.
41
N'akwata omwana ku mukono, n'amugamba nti: “Talita kumi,” ekitegeeza nti: “Kawala ggwe, nkugamba, golokoka.”
42
Amangwago, akawala akaali ak'emyaka ekkumi n'ebiri, ne kayimirira, ne katambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo!
43
Yesu n'abakuutira nnyo, kino obutakibuulirako balala. Era n'abalagira okuwa omwana emmere alye.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16