bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 12
Mark 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Awo Yesu n'atandika okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala abakuumi mwe balengerera, n'agissaamu abapangisa n'alaga mu nsi ey'ewala.
2
“Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu.
3
Awo omuddu ne bamukwata ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
4
“N'abatumira nate omuddu omulala, ne bamukuba olubale, ne bamuswazaswaza.
5
Era n'atuma omulala, oyo ne bamutta. N'abalala bangi ne babayisa mu ngeri ye emu, abamu ne babakuba, abalala ne babatta.
6
“Yali akyalinawo omuntu omulala omu, ye mutabani we omwagalwa. Ono gwe yasembyayo okubatumira, ng'agamba nti: ‘Mutabani wange banaamussaamu ekitiibwa.’
7
Kyokka abapangisa abo ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika, mujje tumutte, obusika buliba bwaffe!’
8
Awo ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu.
9
“Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu kiki ky'alikola? Alijja n'atta abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.
10
Ddala ekyawandiikibwa mwali mukisomye ekigamba nti: ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.
11
Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’ ”
12
Awo abalabe ba Yesu bwe baategeera nti olugero olwo aluleese nga lufa ku bo, ne bagezaako okumukwata, kyokka ne batya ekibiina ky'abantu, ne bamuleka ne bagenda.
13
Abafarisaayo n'abawagizi ba Herode abamu, ne batumibwa okutega Yesu mu bigambo.
14
Awo ne bajja ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Kaakati ssebo, tubuulire, kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?
15
Tuteekwa okugumuwa oba tetuteekwa?” Yesu n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere ssente ngirabe.”
16
Ne bagireeta. Ye n'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne baddamu nti: “Bya Kayisaari.”
17
Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
18
Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti:
19
“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
20
“Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana.
21
Owookubiri n'awasa nnamwandu w'oli omubereberye, era n'ono n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo.
22
Bonna omusanvu baawasa omukazi oyo, kyokka ne batamuzaalamu mwana. Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa.
23
“Kale ku lunaku olw'okuzuukira, abantu bwe balizuukira, omukazi oyo aliba muk'ani? Bonna omusanvu baamuwasa!”
24
Yesu n'abagamba nti: “Muwubwa, era ekibaleetera okuwubwa, bwe butamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda.
25
Abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu, nga tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa.
26
“Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, ddala mwali musomye mu kitabo kya Musa, mu kitundu ekyogera ku kisaka, Katonda bye yagamba Musa nti: ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo’.
27
Katonda si wa bafu, wabula wa balamu. Muwubwa nnyo!”
28
Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'ajja, n'awulira Abasaddukaayo nga bawakana. Bwe yalaba nga Yesu abazzeemu bulungi, naye n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”
29
Yesu n'addamu nti: “Ekiragiro ekisinga byonna obukulu kiikino: ‘Ggwe Yisirayeli, wulira: Mukama ye Katonda waffe, Mukama yekka.
30
Era yagalanga Mukama, Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’
31
Ekiragiro ekiddirira mu bukulu, kiikino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wennyini.’ Teri kiragiro kirala kisinga bino bukulu.”
32
Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, ozzeemu bulungi. Ky'ogambye kya mazima nti: Katonda ali omu yekka, teri mulala,
33
era nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffe ffennyini, kusinga ensolo zonna eziweebwayo okwokebwa nga nnamba, era n'ebirala byonna ebiweebwayo eri Katonda.”
34
Yesu bwe yalaba ng'omunnyonnyozi w'amateeka azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Otandise okutegeera eby'omu Bwakabaka bwa Katonda.” Ne wataba aguma kumubuuza bibuuzo birala.
35
Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza, n'abuuza nti: “Abannyonnyozi b'amateeka bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi?
36
Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
37
“Oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” Abantu abangi abaaliwo, ebigambo bye bino ne babiwuliriza n'essanyu.
38
Awo Yesu bwe yali ng'ayigiriza, n'agamba nti: “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka, abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale,
39
n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga,
40
era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
41
Yesu bwe yali ng'atudde mu maaso g'ekifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo, n'alaba abantu bangi nga bateekamu ensimbi. Abagagga bangi baateekamu ensimbi nnyingi.
42
Awo nnamwandu omwavu n'ajja, n'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ennyo.
43
Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu atadde kinene nnyo mu kifo omuteekebwa ebirabo, okusinga abalala bonna.
44
Bo bataddemu nga batoola ku kingi kye balina. Naye nnamwandu ono omwavu, ataddemu kyonna ky'abadde alina, ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16