bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 9
Mark 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Awo Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba ng'Obwakabaka bwa Katonda buzze na maanyi.”
2
Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, ne Yakobo, ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba.
3
Ebyambalo bye ne bimasamasa, ne bitukula nnyo nga tewali mwozi n'omu ku nsi eyandisobodde okubitukuza okwenkana awo.
4
Olwo ne balaba Eliya ne Musa nga boogera ne Yesu.
5
Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”
6
Peetero yagamba bw'atyo, ng'ebyokwogera bimubuze, kubanga ye ne banne, baali batidde nnyo.
7
Awo ekire ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, era eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirize.”
8
Ate amangwago bwe beebunguluza amaaso, ne batalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yesu yekka.
9
Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”
10
Era nabo ne bagondera ky'abagambye, wabula ne beebuuzaganya nti: “Ategeezezza ki bw'ayogedde ku kuzuukira?”
11
Awo ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya ye ateekwa okusooka okujja?”
12
Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya ye ateekwa okusooka okujja atereeze byonna. Wabula, lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w'Omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era n'okunyoomebwa?
13
Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, era abantu baamukolako byonna bye baayagala, ng'ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.”
14
Awo Yesu n'abayigirizwa be abasatu, bwe baava ku lusozi, ne basanga ekibiina ky'abantu kinene, nga kyetoolodde abayigirizwa be abalala, era ng'abannyonnyozi b'amateeka bawakana nabo.
15
Abantu bonna bwe baalaba Yesu, amangwago ne bajjula essanyu, ne badduka okugenda gy'ali, ne bamwaniriza.
16
Awo ye n'abuuza abayigirizwa be nti: “Kiki kye muwakana nabo?”
17
Omu ku bantu abangi abaaliwo, n'amuddamu nti: “Muyigiriza, nakuleetedde mutabani wange, aliko omwoyo omubi ogumugaana okwogera.
18
Buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, era n'alambaala. Nasabye abayigirizwa bo okugumugobako ne balemwa.”
19
Yesu n'abaddamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere.”
20
Awo ne bamumuleetera. Omwoyo omubi bwe gwalaba Yesu, amangwago ne gujugumiza omulenzi, n'agwa wansi, ne yeevulungula, nga bw'abimba ejjovu.
21
Yesu n'abuuza kitaawe w'omulenzi nti: “Amaze bbanga ki ng'akwatiddwa omwoyo guno omubi?” Ye n'addamu nti: “Okuviira ddala mu buto.
22
Era emirundi mingi gumusuula mu muliro, oba mu mazzi, gumutte. Naye tukwatirwe ekisa, otuyambe, singa osobola.”
23
Yesu n'amuddamu nti: “Ogambye nti: ‘Singa osobola?’ Manya nti byonna bisoboka, omuntu bw'aba n'okukkiriza.”
24
Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!”
25
Yesu bwe yalaba abantu abalala bangi nga nabo bajja badduka, n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omubi ogutayogera, era ogwaziba amatu, nkulagira nti omulenzi muveeko, era tomuddangako nate.”
26
Awo bwe gwamala okuleekaana n'okujugumiza ennyo omulenzi, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Era abasinga obungi ne bagamba nti: “Afudde!”
27
Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa, era omulenzi n'ayimirira.
28
Oluvannyuma, Yesu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?”
29
Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.”
30
Yesu n'abayigirizwa be bwe baava awo, ne bayita mu Galilaaya, Yesu n'atayagala bantu balala bamanye,
31
kubanga yali n'abayigirizwa be ng'abayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta, wabula nga bamaze okumutta, waliyitawo ennaku ssatu n'azuukira.”
32
Kyokka kye yabagamba tebaakitegeera, ate ne batya okumubuuza.
33
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe baamala okuyingira mu nnyumba, Yesu n'ababuuza nti: “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
34
Naye bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.
35
Awo Yesu n'atuula n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba asembayo mu bonna, era ateekwa okuba omuweereza wa bonna.”
36
Awo n'ayita omwana omuto, n'amugamba okuyimirira we bayinza okumulabira. Namulera, olwo n'abagamba nti:
37
“Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba tayanirizza nze, wabula aba ayanirizza oyo eyantuma.”
38
Awo Yowanne n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tugezaako okumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
39
Yesu n'addamu nti: “Temumuziyiza, kubanga buli akola ebyamagero ng'akozesa erinnya lyange, tasobola, nga waakayitawo akaseera katono, okunjogerako obubi.
40
Buli atatulwanyisa, taba mulabe waffe.
41
Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.
42
“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandimusingidde obulungi kwe kumusiba ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja.
43
Era singa omukono gwo gukukozesa ekibi, gutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli wa mukono gumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
44
omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.”]
45
Oba singa okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli mulema, okusinga lw'osigaza amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
46
omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.]
47
“Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira,
48
omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.
49
“Buli muntu alikumwamu omuliro, ng'emmere bw'erungwamu omunnyo.
50
Omunnyo gwa mugaso, naye singa gusaabulukuka, muyinza mutya okuguzzaamu obuka bwagwo? Mube n'omunnyo mu mpisa zammwe, era mutabagane.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16