bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 16
Mark 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Olunaku olwa Sabbaato bwe lwaggwaako, Mariya Magudaleena ne Salome ne Mariya nnyina Yakobo, ne bagula ebyobuwoowo, balyoke bagende basiige omulambo gwa Yesu.
2
Ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali nga yaakavaayo, ne bagenda ku ntaana.
3
Awo ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?”
4
Ejjinja eryo lyali ddene nnyo. Naye bwe beetegereza, ne balaba nga liyiringisiddwa, ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
5
Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku ludda olwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru, ne bawuniikirira.
6
N'abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira. Munoonya Yesu Omunazaareeti eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde. Mulabe, kino kye kifo we baabadde bamutadde.
7
Mugende mubuulire abayigirizwa be nga ne Peetero kw'ali, nti: ‘Abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
8
Awo ne bafuluma, ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga baakwatibwa ensisi n'okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu n'omu, kubanga baali batidde. [
9
Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba.
10
Ebyo bwe byaggwa, Ye yennyini Yesu n'atuma abayigirizwa be okutwala obubaka bwa Katonda obw'emirembe gyonna obw'okulokola abantu, babubunye mu nsi yonna,okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.
11
Naye bwe baawulira nti Yesu mulamu, era nti Mariya Magudaleena amulabye, ne batakkiriza.
12
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira babiri ku bo nga balaga mu kyalo. Yali afaanana mu ngeri ndala.
13
Awo ne baddayo, ne babuulira bannaabwe. Naye bo ne batakkiriza.
14
Oluvannyuma, Yesu n'alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu, nga batudde balya. N'abanenya olw'obutakkiriza bwabwe, n'olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza bigambo by'abo abaamulaba ng'amaze okuzuukira.
15
Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mutegeeze abantu bonna Amawulire Amalungi.
16
Buli akkiriza era n'abatizibwa, alirokolebwa, naye atakkiriza, omusango gulimusinga.
17
“Abakkiriza balikola ebyamagero bino: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi ku bantu; balyogera mu nnimi ze batayiganga;
18
singa balikwata emisota, era singa balinywa ekintu kyonna ekitta, tebalibaako kabi. Balikwata ku balwadde, abalwadde abo ne bawona.”
19
Awo Mukama Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda.
20
Awo abayigirizwa be ne bagenda ne bategeeza abantu wonna wonna Amawulire Amalungi. Mukama n'ababeeranga, era n'akakasanga obubaka bwabwe ng'abakozesa ebyamagero.]
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16