bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 4
Mark 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Awo Yesu n'atandika nate okuyigiriza ng'ali ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Ekibiina ky'abantu abaamukuŋŋaanirako ne kiyitirira obunene. Kyeyava asaabala mu lyato n'atuula mu lyo, ku nnyanja. Kyo ekibiina ky'abantu ne kisigala ku lubalama.
2
N'abayigiriza ebintu bingi ng'akozesa engero. Era mu kuyigiriza kwe, n'abagamba nti:
3
“Muwulirize. Omusizi yagenda n'asiga ensigo.
4
Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya.
5
Ensigo endala ne zigwa mu ttaka ery'oku lwazi. Amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu.
6
Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera. Era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala.
7
Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaamera, ne gakulira wamu nazo, ne gaziziyiza okubala.
8
N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi. Ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo amakumi asatu; ebirala, ensigo nkaaga; n'ebirala, ensigo kikumi.”
9
Awo Yesu n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
10
Awo abasinga obungi bwe baali nga bamaze okugenda, abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abalala, abaali basigadde ne Yesu, ne bamusaba abannyonnyole engero.
11
Ye n'abagamba nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ekyama ekifa ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye abantu abalala, buli kintu kibabuulirwa mu ngero:
12
‘Balyoke balabe, naye nga tebeetegereza; bawulire, naye nga tebategeera, sikulwa nga beenenya ne basonyiyibwa ebibi byabwe.’ ”
13
Awo Yesu n'ababuuza nti: “Amakulu g'olugero luno temugategedde? Kale olwo muliyinza mutya okubaako n'olugero lwonna lwe mutegeera?
14
Omusizi, ye muntu asiga ekigambo kya Katonda mu bantu.
15
Abantu abamu bafaanana ng'ensigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Ekigambo bwe kibasigibwamu, bakiwulira, naye amangwago Sitaani ajja n'akibaggyamu.
16
Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka ery'oku lwazi. Bwe bawulira ekigambo, amangwago bakyaniriza n'essanyu.
17
Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, bamalawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka.
18
Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Ekigambo bakiwulira,
19
naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, n'okululunkanira ebyokufuna ebirala, bwe bifuga emitima gyabwe, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi.
20
Ate abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi. Mu bamu ne byeyongera emirundi amakumi asatu; mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala emirundi kikumi.”
21
Awo Yesu n'abagamba nti: “Ettaala tereetebwa kukwekebwa mu kibbo, oba kuteekebwa wansi wa kitanda, wabula kuwanikibwa ku kikondo kyayo.
22
Kale nno buli kintu ekikwekeddwa, kirikwekulwa. Era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.
23
Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
24
Era n'abagamba nti: “Mwekkaanye bye muwulira. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe, era mulyongerwako.
25
Oyo alina ebingi alyongerwako n'ebirala. Ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.”
26
Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n'engeri omuntu gy'asigamu ensigo mu ttaka.
27
Omuntu ono ekiro yeebaka, emisana n'atunula. Zo ensigo ne zimera, ne zikula, nga ye omuntu tamanyi ngeri gye zimeramu, na gye zikulamu.
28
Ettaka lye likuza ebimera ne bibala. Ebimera bino bisooka kuleeta bukoola, ne bizzaako ebirimba ebito. Ate oluvannyuma mu birimba ebyo, ne mubaamu empeke ezikuze.
29
Empeke nga zengedde, olwo omuntu n'akwata akambe, kubanga amakungula gatuuse.”
30
Yesu n'agamba nate nti: “Obwakabaka bwa Katonda tuyinza kubugeraageranya na ki? Oba lugero ki lwe tuyinza okukozesa okubunnyonnyola?
31
Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali. Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna ku nsi.
32
Naye bwe kasigibwa mu ttaka, kamera ne kavaamu ekimera ky'enva ekisingira ddala ebimera eby'enva ebirala byonna obunene. Ne kyawula amatabi manene, ebinyonyi ne bisobola okuzimbamu ebisu, n'okwewogoma mu kisiikirize kyago.”
33
Yesu yategeezanga abantu ekigambo kya Katonda ng'akozesa engero nnyingi ezifaananako na zino, okusinziira ku kye baasobolanga okutegeera.
34
Yakozesanga ngero mu byonna bye yabategeezanga. Ate bwe yasigalanga n'abayigirizwa be bokka, bo ng'abannyonnyola byonna.
35
Awo ku lunaku olwo lwennyini, obudde nga buwungedde, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuwunguke, tugende emitala w'ennyanja.”
36
Awo abayigirizwa be ne bava mu kibiina ky'abantu, ne basaabala mu lyato Yesu mwe yali, ne bagenda naye. N'abantu abalala ne basaabala amaato, ne bagenda naye.
37
Awo omuyaga ne gukunta, amayengo ne geeyiwa mu lyato, ne liba kumpi okujjula amazzi.
38
Yesu yali mu kifo eky'emabega mu lyato nga yeebase, nga yeezizise omutto. Abayigirizwa be ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, ggwe tofaayo ng'ennyanja etutta?”
39
Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, era n'alagira ennyanja nti: “Kkakkana, teeka!” Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteekera ddala!
40
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki mutidde? Temunnaba kufuna kukkiriza?”
41
Naye bo ne bakwatibwa ensisi, ne bagambagana nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga era n'amayengo bimuwulira!”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16