bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 11
Mark 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Awo Yesu n'abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Ekibuga Yerusaalemu, kwe kugamba, nga batuuse e Betufaage ne Betaniya, okumpi n'Olusozi olw'Emiti Emizayiti, Yesu n'atuma babiri ku bayigirizwa be nti:
2
“Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugisumulule mugireete.
3
Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki endogoyi mugisumulula?’ Muddamu nti: ‘Mukama waffe agyetaaga, era ajja kulagira bagizze mangu wano.’ ”
4
Awo ne bagenda, ne basanga endogoyi entoototo esibiddwa ku mulyango, ng'eyimiridde wabweru mu luguudo, ne bagisumulula.
5
Abamu ku baali bayimiridde awo, ne bababuuza nti: “Mukola ki? Lwaki endogoyi mugisumulula?”
6
Abayigirizwa ne babaddamu nga Yesu bwe yali agambye. Bali ne babaleka bagende.
7
Awo abayigirizwa ne batwalira Yesu endogoyi, ne bagissaako ekkooti zaabwe, Yesu n'agyebagala.
8
Bangi ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne baaliiramu obutabi bw'emiti obuliko amakoola, bwe baatema mu nnimiro.
9
Awo abaali bakulembedde, n'abaali bava emabega, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mukama atenderezebwe.” Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa.
10
Obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi obujja okuzzibwawo buweereddwa omukisa. Mukama, ali mu ggulu, atenderezebwe.
11
Awo Yesu n'atuuka mu Yerusaalemu, n'ayingira mu Ssinzizo. Bwe yamala okwebunguluza amaaso okulaba ebintu byonna, n'afuluma, n'alaga e Betaniya wamu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, kubanga obudde bwali bunaatera okuwungeera.
12
Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bava e Betaniya, Yesu n'alumwa enjala.
13
Bwe yalengera omuti omutiini oguliko amakoola, n'agenda okulaba oba nga anaagusangako ebibala. Bwe yagutuukako, n'atasangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka, kubanga si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira.
14
N'agugamba nti: “Okuva kati tewabanga alya ku bibala byo nate!” Ebigambo bino abayigirizwa be ne babiwulira.
15
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baatuuka e Yerusaalemu, Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'atandika okugobamu abo abaali batundiramu n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batunda enjiibwa.
16
Era n'aziyiza buli muntu okuyisa ebintu mu Ssinzizo.
17
Awo n'ayigiriza abaaliwo nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba abantu b'amawanga gonna mwe banansinzizanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi!”
18
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basala amagezi ag'okuzikiriza Yesu. Baali bamutidde, kubanga ekibiina ky'abantu kyonna kyali kiwuniikiridde olw'enjigiriza ye.
19
Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ne bava mu kibuga.
20
Enkeera ku makya, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bayitawo, ne balaba omuti omutiini guli nga gukaze okuviira ddala ku kikolo.
21
Awo Peetero n'ajjukira, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, laba, omuti omutiini gwe wakolimidde gukaze!”
22
Yesu n'abaddamu nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda.
23
Mazima mbagamba nti singa omuntu agamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja, kino kirimukolerwa, kasita tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula n'akkiriza nti ky'agamba kinaatuukirira.’
24
N'olwekyo mbagamba nti: buli kye musaba Katonda, mukkirize nti mukifunye, era mulikifuna.
25
“Era buli lwe muyimusa emitima gyammwe eri Katonda, singa wabaawo aba akoze ekibalumya mmwe, mumusonyiwe, olwo Kitammwe ali mu ggulu alyoke nammwe abasonyiwe ebibi byammwe. [
26
Naye singa temusonyiwa, olwo ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa bibi byammwe.”]
27
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bakomawo nate e Yerusaalemu. Yesu bwe yali atambula mu Ssinzizo, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagenda gy'ali.
28
Ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza buno okubikola”?
29
Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Singa munziramu, olwo nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola ebintu bino.
30
Ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda, oba bantu? Munziremu.”
31
Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Tuddemu nti: Katonda ye yamutuma? Anaatubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?’
32
Oba tuddemu nti: abantu be baamutuma?” Kino ne bakitya: kubanga abantu bonna baali bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.
33
Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Kale nno nange siibabuulire buyinza bwe nnina okukola ebintu bino.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16