bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 2
Mark 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Nga wayiseewo ennaku, Yesu n'akomawo mu kibuga Kafarunawumu. Abantu bwe baawulira ng'azze mu maka agamu,
2
ne bakuŋŋaana bangi, nga ne mu luggya tebakyagyamu. Yesu bwe yali ng'abategeeza ekigambo kya Katonda,
3
ne wajjawo abaamuleetera omulwadde akonvubye, nga yeetikkiddwa abantu bana.
4
Bwe baalemwa okumutuusa awali Yesu, olw'obungi bw'abantu, ne basereekulula ekitundu ky'akasolya k'ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisa omulwadde mu mwagaanya ogwo, ng'agalamidde ku katanda kwe baamuleetera.
5
Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
6
Olwo abannyonnyozi b'amateeka abaali batudde awo, ne balowooza mu mitima gyabwe nti:
7
“Ono ayinza atya okwogera bw'atyo? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda?”
8
Amangwago Yesu n'ategeera mu mwoyo gwe, ebyali mu birowoozo byabwe. Kyeyava abagamba nti: “Lwaki mulowooza mutyo mu mitima gyammwe?
9
Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba akonvubye nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, weetikke akatanda ko, otambule?’
10
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti:
11
“Yimirira. Weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
12
Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”
13
Awo Yesu n'addayo nate ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Abantu ne bajja bangi nnyo, n'abayigiriza.
14
Bwe yali ng'atambula, n'alaba Leevi, omusolooza w'omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu oyitenga nange.” Ne Leevi n'asituka n'amugoberera.
15
Oluvannyumako, Yesu n'agenda n'abayigirizwa be ewa Leevi ku kijjulo. Abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi, nabo ne bagenda naye. Bonna ne batuula ne Yesu okulya.
16
Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, bwe baalaba Yesu ng'aliira wamu n'aboonoonyi n'abasolooza b'omusolo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki aliira wamu n'abasolooza b'omusolo era n'aboonoonyi?”
17
Yesu bwe yawulira kye babuuza, ye yennyini n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
18
Mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'Abafarisaayo baali basiiba. Awo abantu abamu ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye ababo ne batasiiba?”
19
Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba.
20
Naye ekiseera kirituuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo balitandika okusiiba.
21
“Omuntu tatunga mu lugoye, lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga bwe kyetugga, kyekutula ku lugoye olukadde, ne kitwalirako n'ekitundu kyalwo, olwo ekituli ne kyeyongera obunene.
22
Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.”
23
Olumu Yesu yali ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato, abayigirizwa be abaali bayise naye, ne bagenda nga banoga ku birimba.
24
Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Sabbaato?”
25
Ye n'abaddamu nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola, bwe yali nga talina kyakulya? Ye ne be yali nabo, bwe baalumwa enjala,
26
yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda. Kino yakikola, Abiyataari bwe yali nga ye Ssaabakabona, sso ng'emigaati egyo gyali tegikkirizibwa kuliibwako bantu balala, wabula bakabona bokka. Kyokka Dawudi yagiryako, era n'awaako n'abaali naye.”
27
Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Olunaku lwa Sabbaato lwassibwawo lwa bulungi bwa muntu, sso omuntu teyatonderwa Sabbaato.
28
N'olwekyo Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16