bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 10
Mark 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Awo Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu kitundu eky'e Buyudaaya, ne mu kitundu eky'oku ludda olulala olw'Omugga Yorudaani. Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali nate, n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola.
2
Abamu ku Bafarisaayo ne bajja w'ali ne bamubuuza nga bamukema nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we?”
3
Ye n'abaddamu nti: “Musa yabalagira ki?”
4
Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okukola ekiwandiiko ekikakasa bw'agobye mukazi we, olwo n'alyoka amweggyirako ddala.”
5
Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abateerawo ekiragiro ekyo.
6
Naye okuva ku ntandikwa ensi lwe yatondebwa, ‘Katonda yatonda omusajja n'omukazi.
7
N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, n'abeera ne mukazi we,
8
bombi ne baba omuntu omu.’ Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu.
9
Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
10
Bwe baddayo mu nnyumba, abayigirizwa ne babuuza Yesu ku nsonga eyo.
11
N'abaddamu nti: “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba azzizza omusango ogw'obwenzi.
12
Era singa omukazi anoba ewa bba, ate n'afumbirwa omusajja omulala, aba ayenze.”
13
Abantu abamu baali baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa be ne babaziyiza nga bababoggolera.
14
Yesu bwe yalaba abayigirizwa be kye bakola, n'asunguwala, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda.
15
Mazima mbagamba nti buli muntu atakkiriza kwesiga Katonda, ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.”
16
Awo n'alera abaana ano abato, n'abawa omukisa ng'abakwatako.
17
Awo Yesu bwe yali ng'atandika olugendo lwe, omusajja n'ajja gy'ali ng'adduka, n'afukamira mu maaso ge, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?”
18
Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka.
19
Ebiragiro bya Katonda obimanyi nti: Tottanga muntu, toyendanga, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, tolyazaamaanyanga. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”
20
Omusajja ono n'addamu Yesu nti: “Muyigiriza, ebiragiro ebyo byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto, n'okutuusa kati.”
21
Awo Yesu bwe yamutunuulira, n'amusiima, n'amugamba nti: “Obulwako ekintu kimu ky'oteekwa okukola. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, olyoke ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
22
Olwawulira ebyo, omusajja oyo, n'alabika nga tasanyuse, era n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
23
Yesu ne yeebunguluza abaaliwo amaaso, n'agamba nti: “Abagagga nga kiribabeerera kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!”
24
Abayigirizwa be ne bawuniikirira olw'ebigambo bye. Kyokka Yesu n'abagamba nate nti: “Abange, nga kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!
25
Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!”
26
Awo ne bawuniikirira nnyo, ne bagambagana nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
27
Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Abantu tebayinza kwerokola, wabula Katonda ye ayinza okubalokola, kubanga Katonda ayinza byonna.”
28
Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ffe twaleka ebyaffe byonna, tulyoke tuyitenga naawe.”
29
Yesu n'addamu nti: “Mazima mbagamba nti buli muntu eyaleka ennyumba ye, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana be, oba ekibanja kye, ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi,
30
alifuna mu bulamu buno obw'oku nsi, emirundi kikumi: ennyumba, baganda be, bannyina, abazadde be abakazi, abaana, n'ebibanja, awamu n'okuyigganyizibwa. Era mu biseera eby'omu maaso, alifuna obulamu obutaggwaawo.
31
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”
32
Yesu n'abaali naye, baali mu lugendo, nga bambuka e Yerusaalemu. Yesu yali abakulembeddemu, ng'abeesuddeko ebbanga. Abayigirizwa be ne bawuniikirira, era abantu abalala abaali babavaako emabega ne batya. Awo n'azza nate abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ku bbali, n'atandika okubategeeza ebyali bigenda okumutuukako.
33
N'abagamba nti: “Mwetegereze, kati tugenda e Yerusaalemu; era eyo Omwana w'Omuntu anaaweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, era bamuweeyo mu b'amawanga amalala.
34
Abo bo bajja kumusekerera, bamuwandire amalusu, bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna, era bajja kumutta. Wabula nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
35
Awo Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.”
36
Yesu n'ababuuza nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?”
37
Ne bamuddamu nti: “Bw'olituula ku ntebe yo eyeekitiibwa mu Bwakabaka bwo, twagala otukkirize tukuliraane, ng'omu atudde ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
38
Yesu n'abagamba nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, oba okubatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu?”
39
Bo ne bamuddamu nti: “Tusobola.” Yesu n'abagamba nti: “Ekikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, ddala mulikinywako, era mulibatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu.
40
Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa.”
41
Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira Yakobo ne Yowanne.
42
Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nti abayitibwa abafuzi b'abantu ab'ensi, baagala kuweerezebwa era ababa n'obuyinza bafugisa bukambwe.
43
Naye mu mmwe si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne,
44
era buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba omuddu wa bonna.
45
N'Omwana w'Omuntu teyajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango okununula abangi.”
46
Awo Yesu n'abayigirizwa be, n'ekibiina ky'abantu kinene, ne batuuka e Yeriko. Bwe baali bavaayo, ne basanga muzibe atudde ku mabbali g'ekkubo, ayitibwa Barutimaayo, eyasabirizanga. Muzibe ono yali mutabani wa Timaayo.
47
Barutimaayo oyo bwe yawulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo, n'atandika okwogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Yesu Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
48
Abantu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
49
Awo Yesu n'ayimirira, n'agamba nti: “Mumuyite ajje.” Ne bamuyita, ne bamugamba nti: “Guma omwoyo, situka, akuyita.”
50
Awo n'asuula eri ekkooti ye, n'asituka mangu, n'ajja awali Yesu.
51
Yesu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amuddamu nti: “Ssebo, nzibula amaaso, nsobole okulaba.”
52
Awo Yesu n'amugamba nti: “Kale genda, owonye olw'okukkiriza kwo.” Amangwago, n'asobola okulaba, era n'agenda ne Yesu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16