bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Mark 7
Mark 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, bwe baakuŋŋaanira awali Yesu,
2
ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga baliisa engalo ezitatukuziddwa, kwe kugamba, nga tebazinaabye ng'obulombolombo bw'Abayudaaya bwe bulagira.
3
Abafarisaayo n'Abayudaaya abalala bonna, baakuumanga empisa ya bajjajjaabwe ey'obutalya nga tebamaze kunaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwabwe bwe bulagira.
4
Era bye baggyanga mu katale nga tebabirya, okuggyako nga bimaze okutukuzibwa. Baalina n'obulombolombo obulala bungi bwe baakuumanga, ng'okwoza ebikopo, ebibya, n'entamu ez'ekikomo.
5
Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe, naye ne balya ng'engalo zaabwe tezitukuziddwa?”
6
Yesu n'abaddamu nti: “Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi eyaboogerako, bye yawandiika bituufu nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko.
7
N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo eby'abantu obuntu, bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’
8
“Muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukuuma obulombolombo bw'abantu.”
9
N'abagamba nate nti: “Mukola bubi okugaana ekiragiro kya Katonda, mulyoke mukuume obulombolombo bwammwe.
10
Musa yalagira nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’
11
“Naye mmwe mugamba nti: ‘Singa omuntu ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye yandimuwadde okumuyamba, kifuuse Korubaani,’ ekitegeeza nti kiwongeddwa eri Katonda,
12
olwo nga temukyamukkiriza kubaako kantu na kamu k'akolera kitaawe oba nnyina.
13
Bwe mutyo ekyo Katonda ky'agamba ne mukidibya nga mugoberera obulombolombo bwammwe bwe muyigiriza. Era mukola n'ebirala bingi eby'engeri eyo.”
14
Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu nate, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumpulirize mwenna, era mwetegereze.
15
Ebyo omuntu by'alya, si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe, bye bizoonoona. [
16
Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”]
17
Olwo n'aleka awo ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g'ekyo ky'ayogedde.
18
N'abagamba nti: “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temulaba nti omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze?
19
Emmere teyingira mu mutima gwe, wabula egenda mu lubuto, mw'eva n'efuluma.” (Yesu, mu kwogera bw'atyo, yalaga nti tewali byakulya, abantu bye bateekwa okuziza).
20
Era n'agamba nti: “Omuntu by'akola ne by'ayogera, bye byonoona empisa ze,
21
kubanga mu mutima gw'omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu,
22
obwenzi, okululunkanira ebintu, ebikolwa ebibi ebya buli ngeri, obukumpanya, obuluvu, obuggya, okwogera obubi ku balala, okwekulumbaza, n'obugwagwa.
23
Ebintu bino byonna ebibi biva mu mutima, ne byonoona empisa z'omuntu.”
24
Yesu bwe yava awo, n'alaga mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni, n'abeera mu maka agamu, n'atayagala bantu bamanye, kyokka n'atasobola kwekisa.
25
Waaliwo omukazi eyalina kawala ke akaliko omwoyo omubi. Bwe yawulira ettutumu lya Yesu, amangwago n'agenda gy'ali, n'afukamira okumpi n'ebigere bye.
26
Omukazi oyo teyali Muyudaaya. Yali nzaalwa y'e Fenikiya mu nsi y'e Siriya. N'asaba Yesu agobe omwoyo omubi ku kawala ke.
27
Yesu n'amuddamu nti: “Leka abaana, be baba basooka okulya bakkute, kubanga bwe baba tebannakkuta, si kirungi okuddira emmere yaabwe, n'esuulirwa embwa.”
28
Omukazi n'addamu Yesu nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'embwa, bwe ziba wansi w'emmeeza, zirya ku bukunkumuka obuva ku mmere y'abaana.”
29
Yesu n'amugamba nti: “Olw'ebigambo bino by'ozzeemu, weddireyo eka, muwala wo, omwoyo omubi gumuvuddeko.”
30
Awo n'addayo eka, n'asanga nga muwala we agalamidde ku buliri, era ng'omwoyo omubi gumuvuddeko.
31
Awo Yesu n'ava mu kitundu eky'e Tiiro, n'alaga ku nnyanja y'e Galilaaya, ng'ayita mu bitundu eby'e Sidoni ne Dekapoli.
32
Ne wabaawo abaamuleetera kiggala, era eyali tasobola kwogera bulungi, ne bamwegayirira amukwateko.
33
Awo Yesu n'aggya omuntu ono mu kibiina ky'abantu, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awanda amalusu, n'amukwata ku lulimi.
34
Ate n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba omuntu oyo nti: “Effata”, ekitegeeza nti: “Zibuka.”
35
Awo amatu ge ne gazibuka, n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka, n'ayogera bulungi.
36
Yesu n'akuutira abantu, kino obutakibuulirako balala. Naye gye yakomya okubakuutira, ate bo gye baakomya okukibunyisiza ddala wonna.
37
Bonna abaakiwulira, ne bawuniikirira nnyo, nga bagamba nti: “Byonna abikola bulungi: ababadde abaggavu b'amatu, abasobozesa okuwulira; ate ababadde bakasiru, n'abasobozesa okwogera.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16