bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 1
Romans 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omuweereza wa Kristo Yesu, nayitibwa okuba omutume, ne nnondebwa okubunyisa Amawulire Amalungi agava eri Katonda.
2
Amawulire Amalungi ago Katonda ge yasuubiriza edda mu byawandiikibwa, ng'ayita mu balanzi be,
3
agafa ku Mwana we. Ng'omuntu, Omwana oyo yazaalibwa nga muzzukulu wa Dawudi.
4
Kyokka olw'obuyinza bwe, obusibuka mu butukuvu bwe yalina mu mwoyo, era n'olw'okuzuukira kwe, yakakasibwa nti Mwana wa Katonda. Ye Yesu Kristo Mukama waffe,
5
eyatukwatirwa ekisa ne tuba abatume, tutuuse amawanga gonna ku buwulize obuva mu kumukkiriza.
6
Nammwe muli mu abo, abaayitibwa okuba aba Yesu Kristo.
7
Mmwe mwenna abaagalwa ba Katonda abali e Rooma, era abaayitibwa okuba abantu be, Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
8
Okusooka, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yesu Kristo, ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna.
9
Katonda gwe mpeereza n'omutima gwange gwonna, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Omwana we, ye alaba bwe mbajjukira bulijjo mu ssaala zange,
10
nga mmwegayirira nti ye bw'asiima, ntambule bulungi, nsobole olumu okutuuka gye muli,
11
kubanga neegomba okubalabako, mbasobozese okufuna ekirabo ekigasa omwoyo.
12
Kwe kugamba: tusanyukire wamu olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange.
13
Abooluganda, njagala mumanye nti emirundi mingi nayagala okujja gye muli, nkole omulimu ogw'omugaso ne mu mmwe, nga bwe ngukola mu b'amawanga amalala. Naye n'okutuusa kaakano nkyalemeseddwa.
14
Nnina obuvunaanyizibwa okuyamba Abayonaani n'ab'amawanga agatannagunjuka, abayigirize n'abatali bayigirize.
15
Nammwe abali e Rooma, kyenva njagala ennyo okubategeeza Amawulire Amalungi.
16
Amawulire Amalungi tegankwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola bonna abakkiriza, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.
17
Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obuva eri Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabeeranga mulamu lwa kukkiriza.”
18
Katonda ng'asinziira mu ggulu, alaga bw'asunguwalira abantu bonna abatamussaamu kitiibwa era ababi, abaziyiza amazima okumanyibwa olw'empisa zaabwe embi.
19
Ebisoboka okumanyibwa ku Katonda, babiraba bulungi, kubanga Katonda yabibalaga.
20
Okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo era n'obwakatonda bwe, birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda. N'olwekyo tebalina kyakwewolereza,
21
kubanga newaakubadde nga Katonda baamumanya, kyokka tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, wadde okumwebaza, wabula ebirowoozo byabwe byadda mu bitagasa, emitima gyabwe emisirusiru ne gijjuzibwa ekizikiza.
22
Mu kweyita abagezi, baafuuka basiru.
23
Ekitiibwa kye bandiwadde Katonda ataggwaawo, ne bakiwa ebifaananyi by'abantu obuntu, n'eby'ebinyonyi, n'eby'ensolo, n'eby'ebyewalula.
24
Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby'ensonyi, ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
25
Baagaana amazima agafa ku Katonda, ne bakkiriza eby'obulimba, ne basinzanga, era ne baweerezanga ebitonde, mu kifo ky'Omutonzi atenderezebwa emirembe n'emirembe. Amiina.
26
Katonda kyeyava abaleka ne bafugibwa okwegomba kwabwe okubi: abakazi baabwe ne bagaana ebyo emibiri gyabwe bye gyatonderwa, ne bagikozesanga ebyo bye gitaatonderwa.
27
N'abasajja ne bakolanga bwe batyo: ne balekayo okumanyanga abakazi, ne babugujjanga okwegomba basajja bannaabwe, era ne bakolanga nabo eby'ensonyi, bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.
28
Era nga bwe baagaana okumanya Katonda, ne Katonda kyeyava abaleka ne bagwagwawala emitima, ne bakolanga ebitasaana.
29
Bajjudde ebyonoono ebya buli ngeri, obubi, omululu, n'ettima. Bajjudde obuggya, obussi bw'abantu, obuyombi, n'okulowooza obubi ku balala. Bageya,
30
basalaganako ebigambo, bakyawa Katonda, bavuma bannaabwe, beekulumbaza, beewaanawaana, era banoonyereza amakubo ag'okukola ebibi. Tebawulira bazadde baabwe.
31
Basirusiru tebalina mazima, tebaagalana era tebalina kusaasira.
32
Newaakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango nti abakola ebyo basaanidde kufa, naye babikola. Ate tebakoma ku kubikola kwokka, naye basiima n'abo ababikola.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16