bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 5
Romans 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Kale nga bwe tubaliddwa okuba abatuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe mu maaso ga Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
2
Mu ye mwe twayita okutuuka ku kisa kya Katonda kye tulimu, era tusanyuka olw'okusuubira okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
3
Si ekyo kyokka, naye twongerako n'okusanyuka mu kubonaabona kwaffe nga tumanyi nti okubonaabona kuvaamu okugumiikiriza,
4
okugumiikiriza ne kuvaamu okusiimibwa Katonda, n'okusiimibwa Katonda ne kuvaamu okusuubira.
5
Ate okusuubira okwo tekutuswaza, kubanga okwagala kwa Katonda kwabunduggulwa mu mitima gyaffe ku bwa Mwoyo Mutuukirivu gwe twaweebwa.
6
Bwe twali nga tetweyinza, Kristo yafiirira aboonoonyi, mu kiseera Katonda kye yateesa.
7
Kiba kizibu omuntu okufiirira oyo akola ebituufu. Kale akolera abalala eby'ekisa mpozzi wandibaawo eyeewaayo okumufiirira.
8
Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwe twali nga tukyali boonoonyi.
9
Kaakano nga bwe tubalibwa okuba abatuukirivu olw'okufa kwe, tugenda kusingawo nnyo okulokolebwa ku bubwe, tuwone obusungu bwa Katonda.
10
Kuba oba nga bwe twali nga tukyali balabe ba Katonda, twatabaganyizibwa naye olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganye naye, obulamu bw'Omwana we bujja kusingawo okutulokola.
11
Era si ekyo kyokka, wabula twongerako n'okusanyukira mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atutuusizza kaakano ku kutabagana okwo.
12
Ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu ne kireeta okufa, n'okufa bwe kutyo bwe kwabuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.
13
Ddala ekibi kyaliwo mu nsi ng'Amateeka tegannateekebwawo. Era awatali tteeka, tewali avunaanibwa kibi.
14
Naye okufa kwafuga abantu okuviira ddala ku Adamu, okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n'abo abataayonoona mu ngeri ya Adamu, eyajeemera ekiragiro kya Katonda. Adamu yali afaananako n'oyo eyali alindirirwa okujja.
15
Kyokka bombi si be bamu, kubanga ekirabo kya Katonda kisukkiridde nnyo okwonoona kw'omuntu. Kuba oba ng'okwonoona kw'omuntu omu kwaleetera abangi okufa, ekisa kya Katonda n'ekirabo kye, kye yaweera mu muntu omu Yesu Kristo, kyasinzaawo nnyo okubuna abangi.
16
Era ekirabo kya Katonda tekiri ng'okufa okwava mu kwonoona kw'omuntu omu oli. Ekibi kye ekimu, kyaleetera abantu okusingibwa omusango. Naye ebibi bingi bwe byakolebwa abantu, ne wabaawo ekirabo kye batasaanidde, eky'okubaggyisaako omusango.
17
Oba ng'omuntu omu bwe yayonoona, okufa kwafuga olw'omuntu oyo omu, abo Katonda be yakwatirwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu, balisingawo nnyo okufugira mu bulamu, olw'omuntu omu Yesu Kristo.
18
Era ng'okwonoona kw'omuntu omu bwe kwaleetera abantu bonna okusingibwa omusango, bwe kityo n'ekikolwa eky'obutuukirivu ekyakolebwa omuntu omu, kyaleetera abantu bonna okuggyibwako omusango n'okuweebwa obulamu.
19
N'olwekyo, ng'obujeemu bw'omuntu omu bwe bwaleetera abangi okuba aboonoonyi, bwe butyo n'obuwulize bw'omuntu omu, bulireetera bangi okuba abatuukirivu.
20
Amateeka gajja, okwonoona kulyoke kweyongere. Naye okwonoona gye kwakoma okweyongera, n'ekisa kya Katonda gye kyakoma okweyongera ennyo okusingawo.
21
Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu, ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16