bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 6
Romans 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Kale tunaagamba tutya? Tubeere mu kibi, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere?
2
Nedda, tekisoboka. Ffe abaafa ne twawukanira ddala n'obulamu obw'ekibi, tuyinza tutya okubuddamu?
3
Temumanyi nti ffe abaabatizibwa ne twegatta wamu ne Kristo Yesu, twabatizibwa ne twegatta wamu naye mu kufa kwe?
4
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, ne tugabana ku kufa kwe, bwe tutyo nga Kristo bwe yazuukizibwa obuyinza bwa Kitaawe obwekitiibwa, naffe tubenga mu bulamu obuggya.
5
Kale oba nga twegatta wamu naye mu kufa kwe, era bwe tutyo tulyegatta wamu naye ne mu kuzuukira kwe.
6
Tumanyi nti embeera yaffe ey'edda yakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo omubiri ogukola ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okuddamu okuba abaddu b'ekibi.
7
Omuntu afudde, aba takyafugibwa kibi.
8
Naffe, oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nti tuliba balamu wamu naye.
9
Tumanyi nti nga Kristo bwe yazuukira, takyaddamu kufa, okufa tekukyamufuga.
10
Okufa kwe yafa olw'ekibi, yafa omulundi gumu, kyokka kaakano mulamu, nga mulamu eri Katonda.
11
Bwe mutyo nammwe musaanye okwebala nti mufudde ne mwawukana n'ekibi, ne muba balamu eri Katonda, nga muli wamu ne Kristo Yesu.
12
N'olwekyo temukkirizanga ekibi okuddamu okufuga mu mibiri gyammwe egifa, ne mugondera okwegomba kwagyo okubi.
13
Era temuwangayo bitundu bya mibiri gyammwe eri ekibi, okubikozesa mu kwonoona, naye mweweeyo eri Katonda, ng'abantu abavudde mu kufa ne balamuka. Era mweweereyo ddala gy'ali, abakozesenga eby'obutuukirivu.
14
Ekibi tekikyabafuga, kubanga Amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa kya Katonda.
15
Kale tukole ki? Tukole ekibi, kubanga Amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa kya Katonda? Nedda, tekisoboka.
16
Temumanyi nti ekyo kye mwewa ne mukiwulira ng'abaddu, oba kibi ekireeta okufa, oba obuwulize obuleeta obutuukirivu, muba baddu baakyo?
17
Kyokka Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abaali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa.
18
Kale bwe mwaggyibwa mu kibi, mwafuuka baddu ba Katonda, abagoberera obutuukirivu.
19
Njogera ng'abantu obuntu bwe boogera, olw'obunafu bw'engeri mmwe ng'abantu gye mutegeeramu ebintu. Nga bwe mweweerangayo ddala mu bugwagwa ne mu kwonoona, ne mukola ebibi, bwe mutyo ne kaakano mweweereyo ddala mu butuukirivu, mulyoke mutukuzibwe.
20
Bwe mwali nga mukyali baddu ba kibi, eby'obutuukirivu byali tebibafuga.
21
Kale kalungi ki ke mwaggya mu kukola ebyo ebibakwasa ensonyi kaakano? Ebyo bireeta kufa.
22
Naye kaakano nga bwe mwaggyibwa mu kibi ne mufuuka abaddu ba Katonda, kye mufunyeemu kwe kutukuzibwa okubaleetera obulamu obutaggwaawo.
23
Empeera y'ekibi kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo, bwe tufuna mu Kristo Yesu Mukama waffe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16