bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 15
Romans 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Ffe ab'amaanyi mu kukkiriza tusaana okuyamba abo abanafu, nga tetwefaako ffekka.
2
Buli omu mu ffe alowoozenga ku bulungi bwa muntu munne, alyoke amuzimbenga mu kukkiriza.
3
Ne Kristo teyeerowoozaako yekka, wabula, nga bwe kyawandiikibwa, “Abantu bye baakuvuma byadda ku nze.”
4
Byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tubeerenga n'essuubi olw'okugumiikiriza n'olw'amaanyi ebyawandiikibwa ge bituwa.
5
Era Katonda asibukamu okugumiikiriza era n'amaanyi, abawe okussanga ekimu nga Kristo Yesu bw'ayagala,
6
mulyoke mutenderezenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo gumu n'eddoboozi limu.
7
Mwaniriziganenga nga Kristo bwe yabaaniriza mmwe, Katonda alyoke aweebwenga ekitiibwa.
8
Ŋŋamba nti Kristo yafuuka omuweereza w'abakomole, okulaga nga Katonda bw'ali omwesigwa, n'okutuukiriza ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe;
9
era n'okusobozesa ab'amawanga amalala okutendereza Katonda olw'okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyennaavanga nkutendereza mu b'amawanga amalala, ne nnyimba nga ntenda erinnya lyo.”
10
Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Mmwe ab'amawanga amalala, musanyukirenga wamu n'abantu be.”
11
Era nti: “Mwenna ab'amawanga amalala mutenderezenga Mukama. Era abantu bonna bamutenderezenga.”
12
Era ne Yisaaya agamba nti: “Omuzzukulu wa Yesse alijja, alisituka okufuga ab'amawanga amalala. Era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13
Katonda asibukamu okusuubira, abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okumukkiriza, mulyoke mweyongerenga okubeera n'essuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu.
14
Baganda bange, nange nze nnyini nkakasiza ddala nti mmwe mujjudde empisa ennungi, mulina okumanya okujjuvu, era muyinza okubuuliriragana.
15
Naye mu bitundu ebimu eby'ebbaluwa eno, mbawandiikidde n'obuvumu, nga ndiko bye mbajjukiza. Kino nkikoze, kubanga Katonda yankwatirwa ekisa,
16
n'ampa okuba omuweereza wa Kristo Yesu nga nkolera mu b'amawanga amalala. Nkola omulimu ogw'obwakabona, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, ab'amawanga amalala balyoke babe ekirabo Katonda ky'asiima, nga kitukuziddwa Mwoyo Mutuukirivu.
17
N'olwekyo mu Kristo Yesu nnyinza okwenyumiriza olw'omulimu gwe nkoledde Katonda.
18
Kubanga siguma kwogera ku kintu na kimu, wabula ku ebyo Kristo bye yakolera mu nze, n'afuula ab'amawanga amalala abawulize eri Katonda, ng'ayita mu ebyo bye nayogera ne bye nakola,
19
mu maanyi g'ebyewuunyo n'ebyamagero, ne mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Bwe ntyo okuviira ddala e Yerusaalemu n'okwetooloola okutuuka mu Yilliriko, nategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.
20
Kye nduubirira bulijjo, kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi mu bifo ebyo erinnya lya Kristo gye litawulirwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala,
21
wabula nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abo abatategeezebwanga bimufaako balimulaba, n'abatamuwulirangako balimutegeera.”
22
Ekyo kye kyanziyiza emirundi emingi okujja gye muli.
23
Naye kaakano nga bwe mmalirizza omulimu gwange mu bitundu bino, era nga bwe mmaze emyaka emingi nga njagala okujja okubalaba,
24
bwe ndiba ŋŋenda mu Sipaniya, nsuubira okuyitirako eyo ewammwe mbalabeko okumala ennaku eziwerako. Bwe ndimala okusanyukirako awamu nammwe, njagala munnyambe okutuuka mu Spaniya.
25
Naye kaakano ŋŋenda Yerusaalemu okutwalira abantu ba Katonda obuyambi.
26
Ab'e Makedooniya n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ku byabwe, okuyamba abantu ba Katonda abaavu, abali e Yerusaalemu.
27
Ekyo be baakyesiimira okukikola. Naye era balina ebbanja okuyamba abaavu abo, kubanga ab'amawanga amalala baagabana ku birungi eby'omwoyo eby'Abayudaaya, n'olwekyo basaana nabo okuyamba Abayudaaya mu by'omubiri.
28
Kale bwe ndimaliriza omulimu ogwo, nga mmaze okubakwasa byonna ebibaweerezeddwa bo, ndivaayo ne mpitira ewammwe, nga ŋŋenda e Sipaniya.
29
Mmanyi nti bwe ndijja gye muli, ndijja n'emikisa gya Kristo emijjuvu.
30
Abooluganda, mbeegayiridde ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikirire wamu nange okunsabira eri Katonda.
31
Munsabire mpone abo abatalina kukkiriza abali mu Buyudaaya, era n'abantu ba Katonda abali mu Yerusaalemu, basiime bye mbatwalira.
32
Olwo nga Katonda ayagadde, ndijja gye muli nga nzijudde essanyu, mpummuleko nga ndi wamu nammwe.
33
Katonda agaba emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
Recommended Reading
Commentary
Romans Commentaries
→
Devotional
Romans Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→