bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 14
Romans 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Atali munywevu mu kukkiriza temumugobaganyanga, naye era temuwakananga naye ku ebyo by'abuusabuusaamu.
2
Waliwo akkiriza nti ayinza okulya buli ekiriibwa. Naye atali munywevu mu kukkiriza, alekerayo ddala okulya ennyama.
3
Oyo alya buli ekiriibwa alemenga kunyooma oyo atakirya. N'oyo atakirya, tanenyanga oyo akirya, kubanga Katonda teyamwegobaako.
4
Ggwe ani anenya omuweereza w'omulala? Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba akola bubi. Era ajja kukola bulungi, kubanga Mukama ye amusobozesa okuyimirirawo.
5
Omu alowooza olunaku olumu okusinga olulala obukulu, omulala alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Buli muntu anywererenga ku ky'alowooza okuba ekituufu.
6
Oyo akuza olunaku, akikola lwa kuwa Mukama kitiibwa. N'oyo alya buli ekiriibwa, akirya lwa kuwa Mukama kitiibwa, kubanga yeebaza Katonda. Era n'oyo atakirya, akireka lwa kuwa Mukama kitiibwa, era yeebaza Katonda.
7
Tewali muntu mu ffe abeera mulamu ku bubwe yekka, era tewali afa ku bubwe yekka.
8
Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama. Era bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. N'olwekyo oba tuba balamu oba tufa, tuba ba Mukama.
9
Kristo kyeyava afa n'azuukira, alyoke abeerenga Mukama w'abafu n'abalamu.
10
Kale ggwe, lwaki onenya muganda wo? Oba ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda kw'asalira emisango,
11
kubanga kyawandiikibwa nti: “Mukama agamba nti: nga bwe ndi omulamu, buli muntu alinfukaamirira. Era buli muntu alintendereza nze Katonda.”
12
N'olwekyo buli muntu mu ffe alyennyonnyolerako mu maaso ga Katonda.
13
Kale tulekere awo okunenyagananga, naye mumalirire obutaleetawo kyesittaza wa luganda oba ekimusuula mu kibi.
14
Nga bwe ndi obumu ne Mukama waffe Yesu Kristo, mmanyi era nkakasa nga tewali kyakulya kizira ku bwakyo, wabula kiba kya muzizo eri oyo akirowooza nti kya muzizo.
15
Bw'onakuwaza muganda wo olw'emmere gy'olya, oba tokyafugibwa kwagalana. Oyo Kristo gwe yafiirira tomulekanga kuzikirira olw'ekyo ky'olya.
16
Kale ekyo mmwe kye muyita ekirungi, kiremenga kuvumibwa.
17
Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kulya na kunywa, wabula mu butuukirivu na mirembe na ssanyu, Mwoyo Mutuukirivu by'atuwa.
18
Aweereza bw'atyo Kristo, asanyusa nnyo Katonda, era abantu bamusiima.
19
Kale tunyiikirirenga ebireeta emirembe n'ebiyamba buli omu okuzimba munne.
20
Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw'ebyokulya. Ebyokulya byonna birungi, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera abalala okugwa mu kibi.
21
Kirungi obutalyanga nnyama, newaakubadde okunywanga omwenge, wadde okukolanga ekirala kyonna ekyesittaza muganda wo [oba ekimunyiiza oba ekimunafuya].
22
Ggwe ky'okkiriza, kikuumenga nga kimanyiddwa ggwe ne Katonda. Wa mukisa ateesalira musango kumusinga mu ebyo by'alowooza okuba ebituufu.
23
Kyokka oyo abuusabuusa, bw'alya azza musango, kubanga akola ekyo omutima gwe kye gutakkiriza. Era buli ekitava mu kukkiriza, kiba kibi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16