bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 9
Romans 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Njogerera ddala mazima mu Kristo, sirimba, n'omwoyo gwange nga gufugibwa mu Mwoyo Mutuukirivu, gukinkakasa
2
nti ndi munakuwavu nnyo, era nnina obulumi obutakkiriza mutima gwange kuwummula,
3
kubanga nandyagadde nze mwene, nkolimirwe Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab'eggwanga erimu.
4
Be Bayisirayeli, abaaweebwa omukisa okuba abaana ba Katonda, era abaaweebwa ekitiibwa, n'endagaano, n'Amateeka, n'engeri ey'okusinzangamu Katonda, era abaasuubizibwa ebirungi.
5
Bajjajjaabwe, Kristo ng'omuntu be yasibukamu. Katonda afuga byonna, atenderezebwenga emirembe gyonna. Amiina.
6
Naye si kwe kugamba nti ebyo Katonda bye yasuubiza byalema okutuukirizibwa. Abayisirayeli bonna si be Bayisirayeli ddala.
7
Era abazzukulu ba Aburahamu mu mubiri, si be baana ba Katonda. Wabula kyawandiikibwa nti: “Mu Yisaaka mwe muliva abaliyitibwa abazzukulu bo.”
8
Ekyo kitegeeza nti abo abazaalibwa mu kuzaalibwa okwa bulijjo, si be baana ba Katonda; wabula abo abazaalibwa nga kiva ku kusuubiza kwa Katonda, be babalwa okuba abazzukulu ba Aburahamu abatuufu.
9
Katonda bwe yali asuubiza, yagamba nti: “Ndikomawo mu kiseera ekituufu, era Saara aliba alina omwana ow'obulenzi.”
10
Era si ekyo kyokka. N'abaana ba Rebbeeka baalina kitaabwe omu, Yisaaka jjajjaffe.
11
Naye bwe baali nga tebannaba na kuzaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola ekirungi oba ekibi, Katonda n'agamba Rebbeeka nti: “Omukulu ye aliweereza omuto.” Kino kyali bwe kityo, kiryoke kikakase nti Katonda alonda oyo gw'aba ayise, nga tasinziira ku ebyo abantu bye bakola.
13
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yakobo namwagala, kyokka Esawu ne mmukyawa.”
14
Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti Katonda si mwenkanya? Nedda si bwe kiri,
15
kubanga yagamba nti: “Ndisaasira oyo gwe nsaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe nkwatirwa ekisa.”
16
N'olwekyo tekiva ku ebyo omuntu by'ayagala wadde by'akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
17
Ekyawandiikibwa kigamba Faraawo nti: “Nakutuusa ku bukulu, ndyoke njoleseze obuyinza bwange mu ggwe, era mmanyise erinnya lyange mu nsi zonna.”
18
N'olwekyo Katonda asaasira oyo gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza omutima gw'oyo gw'ayagala okukakanyaza omutima.
19
Kale onoŋŋamba nti: “Oba nga bwe kityo bwe kiri, lwaki Katonda anenya omuntu? Ani ayinza okuziyiza Katonda ky'ayagala?”
20
Naye ggwe omuntu, ddala ggwe ani awakanya Katonda? Ekibumbe kigamba omubumbi nti: “Lwaki wammumba bw'oti?”
21
Omubumbi tayinza kukola ky'ayagala mu bbumba lye, ekitole ekimu n'akibumbamu ekibya ekyekitiibwa, n'ekirala ekigayibwa?
22
Ne Katonda si ky'ekyo kye yakola? Yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe. Kyeyava agumiikiriza ennyo abo be yasunguwalira, abaateekerwateekerwa okuzikirira.
23
Era yayagala okulaga ekitiibwa kye ekinene ennyo eri abo be yakwatirwa ekisa, era abo okuva edda be yateekerateekera ekitiibwa.
24
Abo ye ffe be yayita, si mu Bayudaaya bokka, wabula ne mu b'amawanga amalala,
25
nga bw'agamba mu Kitabo kya Hoseya nti: “Abataali bantu bange, ndibayita abantu bange. Ne gwe nali ssaagala, ndimuyita mukwano gwange.
26
Mu kifo kyennyini mwe baayitirwa abatali bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda Nnannyinibulamu.”
27
Ne Yisaaya ayogera ku Yisirayeli n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Abantu ba Yisirayeli ne bwe balyenkana omusenyu gw'ennyanja obungi, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28
Mukama talirema kusalawo kutuukiriza mangu kye yagamba okukola ku nsi.”
29
Era nga Yisaaya bwe yagamba edda nti: “Singa Mukama Omuyinzawaabyonna teyatulekerawo zzadde, twandibadde nga Gomora.”
30
Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti ab'amawanga amalala abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, kwe kugamba, obutuukirivu obuva mu kukkiriza.
31
Naye Abayisirayeli, abaanoonyanga Amateeka ag'okubatuusa ku butuukirivu obwo, tebaagazuula.
32
Lwaki? Kubanga tebaabugoberera nga beesigama ku kukkiriza, naye beesigama ku bye bakola, ne beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako.
33
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba nteeka mu Siyooni ejjinja eryesittalwako, olwazi olulibasuula. Era buli akkiriza oyo, taliswazibwa.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16