bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 10
Romans 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Abooluganda, omutima gwange kye gwagala, era kye nsabira Abayisirayeli eri Katonda, kye kino nti balokolebwe.
2
Nkakasa nga banyiikirira okussaamu Katonda ekitiibwa, naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.
3
Tebaamanya ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu, bwe batyo ne bagezaako okwezuulira ekkubo eryabwe ku bwabwe, ne batagoberera ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu.
4
Ekigendererwa ky'Amateeka kituukirizibwa mu Kristo, buli akkiriza alyoke abe mutuukirivu.
5
Musa yawandiika ebikwata ku butuukirivu obuva mu kuwulira Amateeka, nti alibugoberera bulimuweesa obulamu.
6
Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba bwe buti nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: Ani alirinnya mu ggulu?” - kwe kugamba, okuggyayo Kristo akke ku nsi
7
oba nti: “Ani alikka emagombe?” - kwe kugamba, aggyeyo Kristo okuva mu bafu.
8
Kale obutuukirivu obwo bugamba butya? Bugamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiri kumpi naawe; kiri mu kamwa ko, ne mu mutima gwo” - kwe kugamba, kye kigambo kye tutegeeza abantu, ekifa ku kukkiriza.
9
Bw'oyatula n'akamwa ko nti: Yesu ye Mukama, era n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza, olirokolebwa.
10
Omuntu akkiriza na mutima gwe n'aba omutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n'alokolebwa.
11
Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti “Buli amukkiriza taliswazibwa,”
12
tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola.
13
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa.”
14
Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza?
15
Era baliyinza batya okutegeezebwa, nga tewali batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Okujja kw'abo abaleeta Amawulire Amalungi nga kulungi!”
16
Naye si bonna abakkiriza Amawulire Amalungi. Yisaaya agamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye twayogera?”
17
N'olwekyo okukkiriza kuva mu ebyo ebiwulirwa, n'ebiwulirwa biva mu kutegeeza bantu ebifa ku Kristo.
18
Naye ka mbuuze: tebabiwuliranga? Ddala baabiwulira, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n'ebigambo byabwe byatuuka ensi gy'ekoma.”
19
Era ka mbuuze: abantu ba Yisirayeli tebamanyi? Musa ye yasooka okugamba nti: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abantu abatali ggwanga, mbaleetere mmwe okusunguwalira eggwanga eritalina magezi.”
20
Ne Yisaaya aguma n'agamba nti: “Nalabibwa abo abatannoonyanga. Nalabikira abo abatambuulirizanga.”
21
Kyokka eri Yisirayeli agamba nti: “Olunaku lwonna nalumala nga ngololedde emikono gyange abantu abatawulira era abajeemu.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16