bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 8
Romans 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Kale kaakano abo abali mu Kristo Yesu tebakyalina musango,
2
kubanga etteeka lya Mwoyo, erituwa obulamu ffe abali mu Kristo, lyamponya etteeka erireeta ekibi era n'okufa.
3
Amateeka kye gataasobola kukola olw'okulemesebwa obunafu bw'omubiri, Katonda yakikola. Yasalira ekibi ekiri mu mubiri omusango okukisinga, bwe yatuma Omwana we yennyini, ng'alina omubiri ogufaananira ddala omubiri ogukola ekibi, alyoke awangule ekibi.
4
Ekyo Katonda yakikola, ffe abatafugibwa mubiri, wabula abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu tulyoke tutuukirize eby'obutuukirivu, Amateeka bye gatulagira okukola.
5
Kubanga abo abafugibwa omubiri, beemalira ku bya mubiri, naye abo abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu, beemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu.
6
Okwemalira ku by'omubiri kuleeta kufa, naye okwemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu kwe kuleeta obulamu n'emirembe.
7
Okwemalira ku by'omubiri, kuleetera omuntu okuba omulabe wa Katonda, nga tawulira mateeka ga Katonda, era ddala tayinza kugawulira.
8
Era abo abafugibwa omubiri, tebayinza kusanyusa Katonda.
9
Naye mmwe oba nga ddala Mwoyo wa Katonda ali mu mmwe, temufugibwa mubiri, wabula mufugibwa mwoyo. Oyo atalina Mwoyo wa Kristo, si wa Kristo.
10
Naye oba nga Kristo ali mu mmwe, emibiri gyammwe ne bwe gifa olw'ekibi, emyoyo gyammwe giba miramu olw'okutukuzibwa Katonda.
11
Oba nga Mwoyo wa Katonda eyazuukiza Yesu, ali mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu, n'emibiri gyammwe egifa aligiwa obulamu ku bwa Mwoyo we ali mu mmwe.
12
Kale nno abooluganda, tulina ebbanja. Naye omubiri si gwe gutubanja nti tugobererenga ebyo bye gwagala.
13
Bwe munaagobereranga eby'omubiri, mugenda kufa. Naye Mwoyo bw'anaabayambanga ne mulekerayo ddala ebikolwa byammwe ebibi, muliba balamu.
14
Bonna abaluŋŋamizibwa Mwoyo wa Katonda, be baana ba Katonda.
15
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu okudda mu kutya, naye mwaweebwa Mwoyo Mutuukirivu abafuula abaana ba Katonda, atusobozesa okuyita Katonda nti “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”.
16
Mwoyo yennyini akakasiza wamu n'emyoyo gyaffe nti tuli baana ba Katonda.
17
Nga bwe tuli abaana be, tulifuna ebyo bye yasuubiza abantu be, era tulifunira wamu ne Kristo ebyo Katonda bye yamuterekera. Bwe tubonaabonera awamu ne Kristo, era tuliweerwa wamu naye ekitiibwa.
18
Ndaba ng'okubonaabona kwaffe okw'omu kiseera kino ekiriwo, tekuyinza kugeraageranyizibwa na kitiibwa ekiritulagibwa.
19
Ebitonde byonna bitunula nkaliriza, nga birindirira okulagibwa kw'abaana ba Katonda.
20
Ebitonde ebyo byafuuka ebitalina mugaso, si lwa kweyagalira, wabula ku bw'oyo eyayagala bibe bwe bityo. Naye waliwo essuubi
21
nti ebitonde byennyini biriggyibwa mu buddu obubireetera okuvunda, ne bifuna eddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.
22
Tumanyi ng'okutuusa kaakano, ebitonde byonna bisinda era byonna birumwa ng'omukazi alumwa okuzaala.
23
Naye si bitonde byokka, wabula naffe abaafuna Mwoyo Mutuukirivu ng'ekirabo kya Katonda ekisookera ddala, tusinda mu mitima gyaffe, nga tulindirira Katonda okutufuula abaana be, n'okununula emibiri gyaffe.
24
Twalokolebwa lwa kusuubira. Naye singa kye tusuubira tuba tukirabako, okwo tekwandibadde kusuubira. Ani asuubira ekyo ky'alabako?
25
Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tugumiikiriza ne tukirindirira.
26
Ne Mwoyo bw'atyo atuyamba mu bunafu bwaffe, kubanga tetumanyi kusaba Katonda nga bwe kitugwanira. Naye Mwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka.
27
Era Katonda akebera emitima gy'abantu, amanyi Mwoyo ky'alowooza, kubanga Mwoyo yeegayiririra abantu ba Katonda, nga Katonda bw'ayagala.
28
Tumanyi nti abaagala Katonda era be yayita nga bwe yayagala, byonna ebibatuukako bibaviiramu ebirungi.
29
Kubanga Katonda yamanya dda abantu be, nga tebannaba na kubaawo, era yabategeka bafaanane Omwana we, Omwana we oyo alyoke abe omubereberye mu booluganda abangi.
30
Abo Katonda be yategeka, be bo be yayita. Era abo be yayita, be bo be yatukuza. Era abo be yatukuza, be bo be yawa ekitiibwa.
31
Kale ebyo tunaabyogerako ki? Katonda bw'abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?
32
Oyo ataasaasira na Mwana we yennyini, n'amuwaayo ku lwaffe fenna, alirema atya okutugabira byonna awamu naye?
33
Ani aliroopa abalondemu ba Katonda, nga Katonda yennyini abaggyako omusango?
34
Ani alibasalira omusango okubasinga? Kristo eyafa, era eyazuukira, oyo aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ye atuwolereza.
35
Kale ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?
36
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Olunaku lwonna tuli mu kabi ka kuttibwa ku lulwo. Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa.”
37
Naye mu ebyo byonna, tuwangulira ddala ku bw'oyo eyatwagala.
38
Nkakasiza ddala nti newaakubadde bamalayika, wadde abafuzi n'ab'obuyinza abalala, newaakubadde ebiriwo, wadde ebigenda okubaawo,
39
newaakubadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tebirisobola kutwawukanya na kwagala kwa Katonda, okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16