bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 3
Romans 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki?
2
Kugasa mu ngeri yonna. Okusookera ddala, Abayudaaya be baakwasibwa ekigambo kya Katonda.
3
Kale kiba kitya abamu ku bo bwe bataba beesigwa? Obuteesigwa bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?
4
Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Oba mutuufu mu bigambo byo. Bw'osalirwa omusango ggwe osinga.”
5
Naye oba nga ffe okuba ababi kiragira ddala nga Katonda bw'asala omusango mu bwenkanya, tunaagamba tutya? Tugambe nti Katonda bw'atubonereza aba mubi? Njogera ng'abantu bwe boogera.
6
Nedda, tekisoboka. Katonda bw'ataba mwenkanya, ate olwo ayinza atya okulamula ensi?
7
Naye obulimba bwange bwe bwongera okulaga nga Katonda bw'ali ow'amazima, n'aweebwa ekitiibwa, nze ate lwaki mba nkyasalirwa omusango okunsinga ng'omwonoonyi?
8
Era lwaki tetugamba–nga bwe batuwaayiriza era ng'ambamu bwe batulumiriza nti bwe tugamba–nti tukle ebibi mulyoke muveemu ebirungi? – ng'abamu bwe batuwaayiriza nti bwe tugamba. Abo basaanidde okusalirwa omusango okubasinga.
9
Kale olwo ffe Abayudaaya tulina kye tusinza abalala? Nedda, tetukirina, nga bwe nasoose okulaga nti abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, bafugibwa kibi,
10
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali mutuukirivu wadde omu.
11
Tewali ategeera, wadde anoonya Katonda.
12
Bonna baawaba, bonna awamu baakola ebitasaana. Tewali akola kirungi, wadde omu bw'ati.
13
Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde. Ennimi zaabwe bazoogeza bya bukuusa. Bye boogera bya kabi ng'obusagwa bw'enswera.
14
Akamwa kaabwe kajjudde ebikolimo n'ebigambo eby'obukambwe.
15
Banguwa okugenda okutta abantu.
16
Buli gye bayita baleetera abantu okuzikirira era n'okunakuwala.
17
Tebamanyi kuleetera bantu mirembe.
18
Era tebafa ku kussaamu Katonda kitiibwa.”
19
Tumanyi nti byonna ebiri mu Mateeka bikwata ku abo abafugibwa Amateeka ago, waleme kubaawo yeewolereza, wabula ab'oku nsi bonna Katonda abasalire omusango.
20
Mu maaso ge, tewali muntu n'omu alibalwa okuba omutuukirivu olw'okutuukiriza ebiri mu Mateeka. Amateeka kye gakola, kwe kumanyisa omuntu nti akoze kibi.
21
Naye kaakano obutuukirivu obuva eri Katonda nga tebuyita mu Mateeka, bulabise, era bukakasibwa Amateeka n'abalanzi,
22
bwe butuukirivu Katonda bw'awa abantu bonna abakkiriza Yesu Kristo, kubanga bonna tewali njawulo.
23
Bonna baayonoona, ne balemwa okutuuka ku kitiibwa Katonda kye yayagala babeere nakyo.
24
Katonda olw'ekisa kye, yabawa obutuukirivu bwa buwa, kubanga baanunulibwa Yesu Kristo.
25
Yesu oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba omutango gw'ebibi by'abamukkiriza. Bw'atyo Katonda n'alaga nga bw'ali omutuukirivu, kubanga mu kugumiikiriza kwe, ebibi ebyakolebwa edda yabiyisaako amaaso,
26
alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu.
27
Kale ekitwenyumirizisa kiki? Tekiriiwo. Lwaki tekiriiwo? Olw'ebyo bye tukola? Nedda, naye lwa kukkiriza.
28
Tukakasiza ddala nti omuntu aba mutuukirivu lwa kukkiriza, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.
29
Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga amalala bo si waabwe? Ddala nabo waabwe,
30
kubanga Katonda ali omu, era abakomole alibawa obutuukirivu ng'asinziira ku kukkiriza kwabwe, n'abatali bakomole alibubawa olw'okukkiriza kwabwe.
31
N'olwekyo Amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza okwo? Nedda, tekisoboka, naye tuganyweza bunyweza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16