bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 11
Romans 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Nedda si bwe kiri. Nange ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Aburahamu, era ndi wa mu kika kya Benyamiini.
2
Katonda abantu be, be yamanya edda, teyabeegoberako ddala. Temumanyi ekyawandiikibwa kye kigamba ku Eliya, bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Bayisirayeli? Yagamba nti:
3
“Mukama, batta abalanzi bo, ne boonoona ebifo byo eby'ebitambiro. Nze nzekka nze nsigaddewo, era nange banoonya okunzita.”
4
Kyokka Katonda yamuddamu atya? Nti: “Neeterekeddewo abantu kasanvu, abatafukaamiriranga Baali.”
5
Era bwe kiri ne mu biseera bino. Waliwo abasigaddewo, abaalondebwamu olw'ekisa kya Katonda.
6
Katonda yabalondamu lwa kisa kye, si lw'ebyo bye baakola. Singa yabalondamu lw'ebyo bye baakola, ekisa kye kyandibadde tekikyali kisa.
7
Kale tugambe tutya? Abayisirayeli baalemwa okufuna ekyo kye baali banoonya. Abatono abalondemu be baakifuna. Naye abalala emitima gyabwe gyakakanyazibwa,
8
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo ogutaliimu magezi. Yabawa amaaso agatalaba, n'amatu agatawulira okutuusa ku lunaku lwaleero.”
9
Ne Dawudi agamba nti: “Ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego n'ekigu, enkonge n'ekibonerezo.
10
Amaaso gaabwe gasiikirizibwe baleme okulaba, n'emigongo gyabwe ogikutamye ennaku zonna.”
11
Kale ka mbuuze: Abayudaaya beesittala balyoke bagwe bazikirire? Nedda, si bwe kiri. Naye okwonoona kwabwe kwaleetera ab'amawanga amalala okulokolebwa, bo Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya.
12
Naye oba nga okwonoona kwabwe kwaweesa ensi emikisa mingi, kale bonna bwe balidda eri Katonda emikisa tegirisingawo obungi?
13
Kaakano ŋŋamba mmwe ab'amawanga amalala: nga bwe ndi omutume eri ab'amawanga amalala, nzisaamu omulimu gwange ekitiibwa,
14
nga ngezaako okukwasisa ab'eggwanga lyange obuggya, ndyoke ndokole abamu ku bo.
15
Bwe baagobebwa, ensi yatabagana ne Katonda. Kale bwe balikomezebwawo, kiriba kitya? Buliba bulamu obuliggyawo okufa.
16
Ekitole kyonna kiba kitukuvu, ekitundu kyakyo ekisooka bwe kitukuzibwa. Era ekikolo ky'omuti bwe kiba ekitukuvu, n'amatabi gaba matukuvu.
17
Naye oba ng'amatabi agamu ag'omuti omuzayiti ogw'omu nnimiro gaawogolwako, ggwe eyali ettabi ery'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko n'osimbibwa mu kifo kyago, n'ogabana ku bugimu bw'omuti ogwo,
18
leka kwewaana nti amatabi ago ogasinga. Bwe weewaana, jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, wabula ekikolo kye kikuwaniridde.
19
Naye oyinza okugamba nti: “Amatabi gaawogolwako, nze ndyoke nsimbibweko.”
20
Weewaawo, gaawogolwako lwa butakkiriza bwago, naye ggwe ekikuyimirizzaawo kwe kukkiriza. N'olwekyo teweewaana, wabula tya weerinde.
21
Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi agaazaalibwa ku muti ogwo, era naawe talikusaasira.
22
Kale manya ekisa n'obukambwe bwa Katonda. Akambuwalira abo abagudde n'akwatirwa ggwe ekisa, kasita onywerera ku kisa kye. Naye bw'otolikinywererako, naawe oliwogolebwako.
23
Era n'Abayudaaya bwe baliba tebalemedde mu butakkiriza bwabwe, balizzibwako ku muti, kubanga Katonda asobolera ddala okubazzaako.
24
Kuba oba nga ggwe, mu nkula yo, eyali ettabi ly'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko, wasalibwa n'osimbibwa ku muti omuzayiti ogw'omu nnimiro ogutali gwa nkula yo, amatabi agaazaalibwa ku muti ogwo tegaliba mangu nnyo okuzzibwa ku muti gwago?
25
Abooluganda, njagala mumanye ekyama kino, mulemenga okwewaanawaana. Abayisirayeli abamu baasigala bakakanyavu, okutuusa ab'amawanga amalala bonna lwe balimala okujja eri Katonda.
26
Olwo n'Abayisirayeli bonna balirokolebwa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi alisibuka mu Siyooni, aliggya bazzukulu ba Yakobo mu byonoono byabwe.
27
Era eyo y'eriba endagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28
Bo, mu bikwata ku Mawulire Amalungi, baba balabe ba Katonda, mmwe mulyoke mugasibwe. Naye mu bikwata ku kulondebwamu, baba baagalwa ba Katonda olwa bajjajjaabwe.
29
Katonda bw'agabira abantu oba bw'abayita, teyejjusa.
30
Nammwe edda mwajeemera Katonda, kyokka kaakano mwakwatirwa ekisa olw'obujeemu bw'Abayudaaya.
31
Kaakano nabo bajeemye, balyoke bakwatirwe ekisa ekyakwatirwa mmwe.
32
Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu, alyoke akwatirwe bonna ekisa.
33
Ddala, obugagga bwa Katonda n'amagezi ge, n'okumanya kwe nga tebikoma! By'ateesa nga tebyefumiitirizika! Engeri ze nga tezitegeerekeka!
34
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ani yali amanye Mukama by'alowooza? Ani yali amuwadde amagezi?
35
Oba ani yali amuwadde ekirabo naye alyoke amuddize?”
36
Byonna ye yabitonda, ye abibeezaawo, era bibeerawo ku lulwe. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16