bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 4
Romans 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Kale tunaagamba ki ku jjajjaffe Aburahamu?
2
Singa Aburahamu yali mutuukirivu olw'ebyo bye yakola, yandibadde n'ekimwenyumirizisa, wabula takirina mu maaso ga Katonda.
3
Kale ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
4
Omuntu akola omulimu, empeera ye tebalibwa ng'emuweebwa obuweebwa ng'ekirabo, obulabo, wabula aba ateekwa okugiweebwa.
5
Kyokka atakoze mulimu, wabula n'akkiriza bukkiriza Katonda atukuza aboonoonyi n'abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe Katonda kw'asinziirako okumufuula omutuukirivu.
6
Era kino Dawudi kye yategeeza bwe yayogera ku mukisa gw'omuntu, Katonda gw'abala okuba omutuukirivu awatali by'akoze. Agamba nti:
7
“Ba mukisa abasonyiyibwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe.
8
Omuntu oyo wa mukisa Mukama gw'abala nti talina kibi.”
9
Kale omukisa ogwo gwa bakomole bokka, oba n'abatali bakomole nabo gwabwe? Tugamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
10
Kino kyabaawo ddi? Ng'amaze okukomolebwa, oba nga tannakomolebwa? Tekyabaawo ng'amaze okukomolebwa, wabula nga tannaba kukomolebwa.
11
Yakomolebwa luvannyuma, okukomolebwa kwe ne kuba akabonero akakasa obutuukirivu bwe yaweebwa olw'okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa. Bw'atyo n'aba jjajja wa bonna abakkiriza nga si bakomole, ne babalibwa okuba abatuukirivu.
12
Era ye jjajja w'abakomole, sso si ow'abo abakoma ku kukomolebwa obukomolebwa, naye ow'abo abagoberera obulamu obw'okukkiriza, jjajjaffe Aburahamu bwe yalina nga tannakomolebwa.
13
Aburahamu n'ezzadde lye baasuubizibwa okuweebwa ensi, si lwa kutuukiriza ebiri mu Mateeka g'Ekiyudaaya, wabula lwa butuukirivu obuva mu kukkiriza.
14
Singa abo abanywerera ku Mateeka g'Ekiyudaaya be baweebwa ebyo Katonda bye yasuubiza, okukkiriza kwandibadde kwa bwereere, n'ebyo Katonda bye yasuubiza tebyandibaddewo,
15
kubanga Amateeka gatuleetera okusunguwalirwa Katonda. Naye awatali Mateeka, tewaba kwonoona.
16
Kale ebyo Katonda bye yasuubiza byesigamye ku kukkiriza, biryoke birabikire ddala nti byava mu kisa kya Katonda okuweebwa ezzadde lya Aburahamu lyonna, sso si abo bokka abanywerera ku Mateeka, naye n'abo abalina okukkiriza nga Aburahamu kwe yalina, kubanga Aburahamu ye jjajjaffe ffenna;
17
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkutaddewo obeere jjajja w'amawanga amangi.” Ekyo kyamusuubizibwa Katonda gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alagira ebitaliiwo ne bibaawo.
18
Aburahamu yakkiriza n'asuubira, mu kifo ky'okuggwaamu essuubi. Kyeyava aba jjajja w'amawanga amangi, nga bwe yasuubizibwa nti: “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”
19
Teyaddirira mu kukkiriza, newaakubadde nga yali awezezza emyaka nga kikumi egy'obukulu, era ng'alaba nti omubiri gwe guli ng'ogufudde, nga ne Saara mugumba.
20
Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza. Yeeyongera okufuna amaanyi mu kukkiriza kwe, n'agulumiza Katonda,
21
kubanga yakakasiza ddala nti Katonda asobola okukola kye yasuubiza.
22
Olw'okukkiriza kwe, kyeyava abalibwa okuba omutuukirivu.
23
Kyokka ebigambo ebigamba nti: “Yabalibwa okuba omutuukirivu”, tebyawandiikibwa ku lulwe yekka,
24
wabula era ne ku lwaffe. Naffe abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe, tulibalibwa okuba abatuukirivu.
25
Yesu oyo yattibwa olw'ebibi byaffe, n'azuukira tulyoke tuggyibweko omusango.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16