bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 16
Romans 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Mbanjulira mwannyinaffe Foyibe, omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu Kenkereya.
2
Mumwanirize ng'abantu ba Katonda bwe baaniriza, kubanga muntu wa Mukama waffe. Era mumuwe kyonna kye yeetaaga ng'ali nammwe, kubanga naye yennyini yayamba bangi, nga nange sibuzeemu.
3
Munnamusize Priska ne Akwila, be nkola nabo mu kuweereza Kristo Yesu,
4
abeewaayo okusalwako obulago okuwonya obulamu bwange. Abo si nze mbeebaza nzekka, wabula n'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo eby'abamawanga amalala bibeebaza.
5
Munnamusize n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu nnyumba yaabwe. Munnamusize mukwano gwange Epayineeto, eyali omubereberye mu Asiya okukkiriza Kristo.
6
Munnamusize Mariya eyabateganira mmwe ennyo bw'atyo.
7
Munnamusize Anduroniiko ne Yuniya baganda bange, be nali nabo mu kkomera, abamanyiddwa obulungi mu batume, era abansooka okubeera abagoberezi ba Kristo.
8
Mulamuse Ampuliyaato, mukwano gwange mu Mukama waffe.
9
Mulamuse Wurubaano akolera awamu naffe mu kuweereza Kristo, mulamuse ne Sutaaku mukwano gwange.
10
Mulamuse Apele Omukristo omutuufu. Mulamuse ab'omu maka ga Arisitobulo.
11
Munnamusize ne Herodiyooni, muganda wange. Mulamuse n'ab'omu nnyumba ya Narukiso, abagoberezi ba Mukama waffe.
12
Munnamusize Turufayina ne Turufoosa abakola omulimu gwa Mukama waffe. Munnamusize ne Perusi omwagalwa, akoledde ennyo Mukama waffe.
13
Mulamuse Ruufo omulondemu wa Mukama waffe. Mulamuse ne nnyina eyafuuka mmange.
14
Mulamuse Asunkurito, Fulegooni, Herume, Paturoba, Heruma, n'abooluganda abali awamu nabo.
15
Mulamuse Filologo ne Yuliya, Nerewo ne mwannyina, ne Olimpa, n'abantu ba Katonda bonna abali nabo.
16
Mulamusagane mu ngeri eraga okwagalana okw'abooluganda. Ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo bibalamusizza.
17
Abooluganda, mbeegayiridde mwerindenga abo abaleeta ebyawukanya n'ebyesittaza abantu, ebirwanyisa okuyigirizibwa kwe mwafuna. Mubeewalenga.
18
Ab'engeri eyo si baweereza ba Kristo Mukama waffe, wabula baweereza ba mbuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi era eby'okuwaanawaana, ne balimbalimba emitima gy'abantu abatalina kabi.
19
Wonna wonna abantu baawulira nga mmwe bwe muli abawulize eri Katonda, kyenva mbeera omusanyufu ku lwammwe. Njagala mubenga bagezi mu kukola ebirungi, naye nga temumanyi kukola bibi.
20
Olwo amangu ddala Katonda atuwa emirembe, ajja kubetentera Sitaani wansi w'ebigere byammwe. Emikisa gya Mukama waffe Yesu gibeerenga nammwe.
21
Timoteewo akolera awamu nange abalamusizza.
22
Era nange Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.
23
Gaayo ansuza, era nga mu nnyumba ye mwe mukuŋŋaanira ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, abalamusizza. Erasto omuwanika w'ekibuga era ne muganda waffe Kwanto babalamusizza.
25
Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna.
26
Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga.
27
Kale Katonda oyo omu era omugezi yekka, aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe n'emirembe. Amiina.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16