bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 13
Romans 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga obuyinza bwonna buva eri Katonda, era abafuzi abaliwo, Katonda ye yabateekawo.
2
N'olwekyo ajeemera abafuzi, aba ajeemedde abo Katonda be yateekawo. Era abajeema, balyereetera omusango,
3
kubanga abafuzi tebaba ba kutiisa abo abakola obulungi, wabula abo abakola obubi. Oyagala obutatiisibwa mufuzi? Kale kola bulungi, olwo ajja kukusiima,
4
kubanga ye muweereza wa Katonda ku lw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi tya, kubanga obuyinza bw'alina si bwa bwereere. Ye muweereza wa Katonda, era ye abonereza abakola obubi.
5
N'olwekyo musaanidde okuba abawulize, si lwa kutya kubonerezebwa kwokka, naye n'olw'obulungi bw'emyoyo gyammwe.
6
Era kyemuva muwa omusolo, kubanga abafuzi baba baweereza ba Katonda, bwe banyiikirira emirimu gyabwe.
7
Kale bonna mubawenga bye muteekwa okubawa: asolooza omusolo mugumuwe, asolooza empooza mugimuwe, ateekwa okutiibwa mumutye, n'oweekitiibwa mukimuwe.
8
Temubeeranga na bbanja eri muntu n'omu, wabula okwagalananga, kubanga ayagala muntu munne aba atuukirizza Amateeka.
9
Ebiragiro bino: “Toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, tobeeranga na kwegomba kubi”, n'ebiragiro ebirala, byonna bigattiddwa mu kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
10
Alina okwagala, takola muntu munne kabi. N'olwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza Amateeka gonna.
11
Ate ebyo nga bikyali awo, mumanyi nti kino kye kiseera, essaawa etuuse, mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano okulokolebwa kwaffe kuli kumpi okusinga we twatandikira okukkiriza.
12
Ekiro kinaatera okuggwaako, olunaku lusembedde. Kale tuve mu ebyo bye tubadde tukola mu kizikiza, tukwate ebyokulwanyisa bye tunaakozesa emisana.
13
Tube n'empisa ezisaanira abantu abali mu kitangaala, sso si ez'abo abali mu kizikiza. Tuleme kwemalira mu binyumu ne mu kutamiira, newaakubadde mu bwenzi ne mu bukaba, wadde mu kuyombanga ne mu buggya.
14
Naye mwambale Mukama Yesu Kristo, mulemenga kuwa mubiri bbeetu okukolanga bye gwegomba.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16