bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 2
Romans 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Kale munnange ggwe asalira abalala omusango, ne bw'obeera ani, tolina kyakwewolereza. Mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga, kubanga bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
2
Tumanyi ng'abakola ebyo, Katonda abasalira omusango okubasinga, nga tasaliriza.
3
Kale ggwe munnange, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, ate nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala?
4
Oba, ekisa kya Katonda ekingi n'obukwatampola, n'okugumiikiriza kwe, by'ogaya? Tomanyi nga Katonda akukwatirwa ekisa olyoke weenenye?
5
Naye olw'obukakanyavu bw'omutima gwo ogutayagala kwenenya, weeterekedde okusalirwa omusango n'obukambwe, ku lunaku Katonda lw'aliragirako obusungu bwe ng'asala omusango awatali kusaliriza.
6
Aliwa abantu bonna empeera, ng'asinziira ku bye baakola.
7
Abo abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibawa obulamu obutaggwaawo.
8
Naye abo ab'empaka era abatagoberera mazima, ne bagoberera ekitali kituufu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
9
Abantu bonna abakola ebibi balibonyaabonyezebwa ne balumizibwa, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.
10
Naye bonna abakola obulungi, baliweebwa ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala,
11
kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12
Bonna aboonoona nga tebamanyi Mateeka, balizikirizibwa nga tebavunaanibwa Mateeka. Ate bonna aboonoona nga bamanyi Amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu Mateeka,
13
kubanga abatuukirivu mu maaso ga Katonda, si be bo abawulira obuwulizi Amateeka, wabula abo abakola bye galagira.
14
Ab'amawanga amalala abatalina Mateeka bwe bakolera ku kutegeera kwabwe, ne batuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, be baba bafuuse amateeka agabafuga, newaakubadde nga tebalina Mateeka gali,
15
kubanga balaga nti Amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe. Kino n'eddoboozi ly'omutima gwabwe likikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza.
16
Era okusinziira ku Mawulire Amalungi, ge ntegeeza abantu, ku bwa Yesu Kristo bwe kityo bwe kiriba, ku lunaku Katonda lw'alisalirako abantu omusango olw'ebyo bye baakisa.
17
Naye ggwe eyeeyita Omuyudaaya, weesigama ku Mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda.
18
Omanyi Katonda by'ayagala okole, era wayigirizibwa mu Mateeka okulondawo ekisinga obulungi.
19
Okakasa nti oli mukulembeze wa bazibe b'amaaso, era amulisa abali mu kizikiza;
20
aluŋŋamya abatalina magezi, era omuyigiriza w'abaana abato, kubanga mu Mateeka, mw'oggya byonna eby'amagezi n'eby'amazima.
21
Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki ggwe teweeyigiriza? Ggwe ategeeza abantu obutabbanga, ate ggwe obba?
22
Ogamba abalala nti temwendanga, ate ggwe n'oyenda? Okyawa ebitali Katonda, ate n'obba eby'omu masabo?
23
Weenyumiririza mu mateeka ga Katonda, ate n'omuswaza ng'ogamenya?
24
Kyawandiikibwa nti: “Mmwe muleetera erinnya lya Katonda okuvumibwa ab'amawanga amalala.”
25
Okukomolebwa kugasa bw'okwata Amateeka, naye bw'ojeemera Amateeka, oba ng'atali mukomole.
26
Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu Mateeka, talibalibwa ng'eyakomolebwa?
27
Oyo ataakomolebwa mu mubiri, kyokka n'atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, talikusalira omusango okukusinga ggwe omumenyi w'Amateeka, newaakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu Mateeka, era nga wakomolebwa?
28
Omuyudaaya ddala, si y'oyo alabikira ku byokungulu. Era okukomolebwa okw'amazima, si kwe kwo okwokungulu ku mubiri.
29
Naye Omuyudaaya ddala ye Muyudaaya munda, eyafuna okukomolebwa okw'amazima, okutali kwa kungulu ku mubiri, wabula okw'omu mutima. Omuntu ng'oyo tatendebwa bantu, wabula Katonda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16