bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 12
Romans 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Kale abooluganda, mbeegayirira olw'okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe eri Katonda, gibe ekitambiro naye nga kiramu, ekitukuvu era ekimusanyusa. Okwo kwe kumusinzanga okw'amazima.
2
Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.
3
Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa.
4
Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, nga byonna tebikola mulimu gumu,
5
naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu.
6
Kale tukozesenga ebirabo bye tulina ebyenjawulo, okusinziira ku kisa Katonda kye yatukwatirwa. Bwe kiba ekirabo eky'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, tukibategeezenga ng'okukkiriza kwaffe bwe kuli.
7
Oba twafuna kuweereza, tunyiikirenga okuweereza. Oyo ayigiriza, anyiikirenga okuyigiriza.
8
Abuulirira abalala, anyiikirenga okubabuulirira. Agaba, agabenga n'omutima gumu. Ali mu buyinza, abeerenga munyiikivu. N'oyo akolera abalala eby'ekisa, abikolenga nga musanyufu.
9
Okwagalana kwammwe kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi.
10
Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa.
11
Mubeerenga banyiikivu, temugayaalanga. Mweweereyo ddala mu kuweereza Mukama.
12
Okusuubira kwammwe kubakuumenga nga muli basanyufu. Mugumiikirizenga mu kubonaabona kwammwe, muyimusenga emitima gyammwe eri Katonda bulijjo.
13
Mutoolenga ku byammwe muwe abantu ba Katonda bye beetaaga. Mwanirizenga abagenyi.
14
Musabenga Katonda awe emikisa abo ababayigganya. Mubasabirenga mikisa, naye mulemenga kubakolimira.
15
Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; munakuwalirenga wamu n'abo abanakuwala.
16
Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga.
17
Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi.
18
Mukolenga kyonna kye musobola okutabagananga n'abantu bonna.
19
Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.”
20
N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba: “Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga ekyokulya n'alya, era bw'alumwanga ennyonta omuwanga ekyokunywa n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi.
21
Towangulwanga bibi bikukolebwa balala, naye ggwe biwangulenga ng'okola ebirungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16