bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Romans 7
Romans 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Abooluganda, (njogera n'abo abategeera amateeka), temumanyi nti amateeka omuntu gamufuga ng'akyali mulamu?
2
Ekyokulabirako: omukazi omufumbo etteeka limulagira okubeera ne bba, nga bba oyo akyali mulamu. Bba bw'afa, omukazi oyo aba takyafugibwa tteeka eryo.
3
N'olwekyo omukazi bw'aba n'omusajja omulala, ng'ate bba akyali mulamu, ayitibwa mwenzi. Kyokka bba bw'afa, aba takyasibibwa tteeka eryo. Era bw'afumbirwa omusajja omulala, olwo taba mwenzi.
4
Nammwe bwe mutyo bwe muli, baganda bange. Mwafa ne mwawukanira ddala n'Amateeka, kubanga muli bitundu bya mubiri gwa Kristo. Era kaakano muli ba Kristo oyo eyazuukira tulyoke tube n'obulamu obugasa mu kuweereza Katonda.
5
Bwe twali nga tukyafugibwa omubiri, Amateeka gaayongera amaanyi mu kwegomba kwaffe okubi, ne kukola mu mibiri gyaffe, okufa ne kweyongera.
6
Naye kaakano tetukyafugibwa Mateeka, kubanga twafa ne twawukana n'Amateeka agaatufuula abasibe. N'olwekyo Katonda tumuweereza mu ngeri empya eya Mwoyo Mutuukirivu, sso si mu ngeri enkadde ey'okugoberera Amateeka amawandiike.
7
Kale tugambe tutya? Tugambe nti Amateeka kye kibi? Nedda, si bwe kiri. Naye sandimanye kibi, singa tewali Mateeka. Sandimanye kiyitibwa kwegomba kubi, singa Amateeka tegagamba nti: “Teweegombanga.”
8
Naye ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kindeetera okwegomba okubi okwa buli ngeri. Awatali mateeka, ekibi kiba kifudde.
9
Nze nali mulamu nga tewali mateeka. Naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kiramuka,
10
ne kindeetera okufa. Olwo ekiragiro ekyali eky'okundeetera obulamu, ne kinviiramu okufa.
11
Ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kinnimbalimba, ne kinzita nga kisinziira mu kiragiro.
12
N'olwekyo Amateeka ku bwago matukuvu, n'ebiragiro bitukuvu, bituufu era birungi.
13
Kale olwo ekirungi kye kyandeetera okufa? Nedda, si bwe kiri. Naye ekibi kye kyandeetera okufa nga kiyita mu kirungi, ekibi kiryoke kyeyoleke nga bwe kiri ekibi, era olw'ekiragiro, ekibi ekyo kiryoke kyeyongere okulagira ddala obubi bwakyo.
14
Tumanyi nti Amateeka galiwo lwa bya mwoyo, naye nze nfugibwa mubiri, ndi muddu wa kibi.
15
Kye nkola sikitegeera, kubanga kye njagala si kye nkola, wabula kye nkyawa ate kye nkola.
16
Bwe nkola kye ssaagala kukola ekyo kiraga nti nzikiriza nti Amateeka malungi.
17
Kubanga si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola.
18
Mmanyi nti mu nze, ng'omuntu obuntu, temuli kalungi n'akamu, kubanga newaakubadde nga njagala okukola ekirungi, naye nnemwa okukikola.
19
Ekirungi kye njagala si kye nkola, wabula ekibi kye ssaagala kye nkola.
20
Kale oba nga nkola ekyo kye ssaagala, kwe kugamba nti si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola.
21
Kale kino kye ndaba mu nze: bwe njagala okukola ekirungi, ate nnondawo kukola kibi.
22
Mu mwoyo gwange nsanyukira etteeka lya Katonda.
23
Naye mu mubiri gwange nsangamu ekirala ekirwanyisa etteeka eryo, amagezi gange lye gasemba, ne kinfuula omuddu w'etteeka ly'ekibi ekiri mu mubiri gwange.
24
Nze nga ndi muntu munaku! Ani alimponya omubiri guno oguntwala mu kufa?
25
Katonda yeebazibwe ankolera ekyo ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe ntyo bwe ndi: mu kutegeera kwange, nze ngoberera mateeka ga Katonda, naye mu kwegomba kwange, ngoberera tteeka lya kibi.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16