bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 1
1 Corinthians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Pawulo, eyayitibwa okuba omutume wa Kristu Yezu olw'okwagala kwa Katonda, ko n'owooluganda Sositene;
2
ya Ekleziya wa Katonda ali mu Korinti, eri abo abaatukuzibwa mu Kristu Yezu, abaayitibwa okubeera abatuukirivu awamu n'abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yezu Kristu buli wantu, Mukama waabwe era owaffe.
3
Eneema ebeere nammwe n'emirembe gya Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.
4
Bulijjo neebaza Katonda ku lwammwe olw'eneema ya Katonda eyabaweebwa mu Kristu Yezu,
5
kubanga mu ye mugaggawaziddwa mu buli kintu: mu buli njogera ne mu buli magezi;
6
anti ng'ebijulirwa ku Kristu byanywezebwa mu mmwe;
7
bwe kityo mubeere nga temuliiko kirabo kya mwoyo ekibabulako nga muli mu kulindirira okwolekebwa kw'Omukama Yezu Kristu.
8
Ajja kubanyweza okutuusa ku nkomerero, nga temuliiko musango ku lunaku lwa Mukama waffe Yezu Kristu.
9
Katonda oyo mwesigwa eyabayita n'abagatta mu kubeera ekimu n'Omwana we Yezu Kristu, Mukama waffe.
10
Mbeegayiridde, abooluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, mussenga kimu; mu mmwe muleke kubaamu kwesalaasalamu, wabula mubeerere ddala ba mmeeme emu, ba ndowooza emu.
11
Baganda bange, anti ab'ewa Kulowe bantegeezezza nti mu mmwe mulimu obugulumbo.
12
Kye ntegeeza kye kino, nti buli omu mu mmwe agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” oba nti: “Nze ndi wa Apollo,” oba nti: “Nze ndi wa Kefa,” oba nti: “Nze ndi wa Kristu.”
13
Kristu yeetemyemu? Pawulo ye yakomererwa ku musaalaba okubeera mmwe? Mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14
Neebaza Katonda nti mu mmwe saabatizaamu n'omu, okuggyako Krisipo ne Gayiyo,
15
nti munaagamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange.
16
Nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Stefana. Okuggyako abo, tewali mulala gwe nabatiza.
17
Kristu tantumanga kubatiza, wabula okulangirira Evangili; si mu lulimi olw'ekigezi, sikulwa ng'omusaalaba gwa Kristu guggwaamu ensa.
18
Ku bazikirira ekigambo ky'omusaalaba kiba busiru; naye ku ffe abalokoka, ge maanyi ga Katonda,
19
anti kyawandiikibwa nti: “Nzija kuzikiriza amagezi g'abagezi; ndiggyawo okutegeera kw'abalabalaba.”
20
Omugezi ali ludda wa? Omuwandiisi ali ludda wa? Abawakanyi b'omu mulembe guno baluwa? Amagezi g'ensi eno Katonda tagafudde busiru?
21
Obanga okusinziira ku magezi ga Katonda ensi teyamanya Katonda ng'eyita mu magezi gaayo, Katonda yayagala ng'ayita mu busiru bw'ekyo kye tuyigiriza alokole abo abakkiriza.
22
Bo Abayudaaya basaba bubonero, ate Abagereeki banoonya magezi;
23
naye ffe tulangirira Kristu omukomerere, ku Abayudaaya kyesittazo, ate ku b'amawanga busiru;
24
naye ku abo abaayitibwa, Abayudaaya oba Abagereeki, ye Kristu obuyinza bwa Katonda, era amagezi ga Katonda.
25
Anti obusiru bwa Katonda bwa magezi okusinga abantu; obunafu bwa Katonda bwa maanyi okusinga abantu.
26
Abooluganda, mulabe nga bwe mwayitibwa, mu mmwe abagezi, ku bw'omuntu, temwali bangi, n'ab'obuyinza tebaali bangi, n'abakungu tebaali bangi.
27
Naye Katonda yalonda ababuyabuya mu nsi aswaze abagezi; abanafu mu nsi Katonda be yalonda aswaze ab'amaanyi.
28
Abo mu nsi abataliiko bwe bali, abagayibwa, omutali nsa, Katonda be yalonda okuggyawo abalimu ensa,
29
walyoke wabulewo n'omu eyeetendera mu maaso ga Katonda.
30
Mu ye mwe mwava mulyoke mubeerewo mu Kristu Yezu, Katonda gwe yafuula amagezi gaffe, obutuukirivu bwaffe, okutukuzibwa kwaffe n'okununulibwa kwaffe.
31
Awo nno nga bwe kyawandiikibwa, “Eyeetenda, yeetendere mu Mukama.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16