bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 3
1 Corinthians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Nange nno, abooluganda, saayogera nammwe ng'abantu aba Mwoyo, wabula ng'abantu obuntu, abakyali abato mu Kristu.
2
Nabagabiriranga mata, sso si mmere eŋŋumu, kubanga mwali temunnagisobola. Na kati temunnagisobola,
3
era mukyali ba mubiri. Nga mu mmwe mukyalimu okukwatiragana obuggya n'obugulumbo, muba temukyali ba mubiri, nga mweyisa ng'abantu aba bulijjo?
4
Kubanga oli amala okuwoza: “Nze ndi wa Pawulo,” omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuli bantu buntu?
5
Apollo kye ki? Pawulo kye ki? Baweereza buweereza mwe mwayita okukkiriza buli omu ng'Omukama bwe yamuwa.
6
Nze nasimba, Apollo n'afukirira, naye Katonda ye yawa okukula.
7
Asimba n'afukirira bo si ba nsonga, wabula Katonda, awa okukula.
8
Asimba n'afukirira bonna kye kimu; buli omu alifuna empeera okusinziira ku mulimu gwe yakola.
9
Ffe tuli bakozi abayamba ku Katonda, mmwe muli nnimiro ya Mukama, kizimbe kye.
10
Olw'eneema Katonda gye yampa nassaawo omusingi, okufaanana ng'omuzimbi omukugu bw'akola, okwo omulala kw'azimbira. Buli omu yeegendereze bw'aguzimbirako.
11
Kubanga tewali asobola kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwassibwawo, ye Yezu Kristu.
12
Singa ku musingi ogwo oli azimbirako ne zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, embaawo, essubi, ebisusunku…
13
buli mulimu gwa kinnoomu gulyolekebwa, kubanga olunaku lw'Omukama luligulaga; anti gulyolekebwa n'omuliro; omuliro guligeza buli kika kya mulimu gwa kinnoomu.
14
Omulimu oli gwe yazimbako bwe gulisigalawo, alifuna empeera;
15
singa omulimu gw'oli gulisirikka, alifiirwa, nandibadde nga ye yennyini aliwonyezebwa; naye kyenkana aliba ng'ayise mu muliro.
16
Temumanyi nga muli kiggwa kya Katonda, nga ne Mwoyo wa Katonda asula mu mmwe?
17
Oli bw'alizikiriza ekiggwa kya Katonda, ne Katonda alimuzikiriza; kubanga ekiggwa kya Katonda kintu kitukuvu, ate ekiggwa ekyo ye mmwe.
18
Wabulewo eyeerimba; oba mu mmwe mulimu alowooza nti mugezi mu mulembe guno, afuuke musiru, alyoke afuuke omugezi.
19
Kubanga mu maaso ga Katonda, amagezi g'ensi eno buba busiru. Anti kyawandiikibwa nti: “Akwatira abagezi mu bukujjukujju bwabwe,”
20
n'awalala nti: “Omukama amanyi ebirowoozo by'abagezi, nti temuli kantu.”
21
Awo nno muleme kwetendera mu bantu. Anti byonna byammwe,
22
abeere Pawulo, oba Apollo, oba Kefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba kati, oba gye bujja; ebyo byonna byammwe;
23
nammwe muli ba Kristu; ne Kristu wa Katonda.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16