bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 10
1 Corinthians 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Abooluganda, njagala mumanye, nti bajjajjaffe baali wansi w'ekire, era bonna baasomoka ennyanja,
2
era nti bonna baabatizibwa mu Musa mu kire ne mu nnyanja,
3
era nti bonna baalyanga ku mmere emu ey'omwoyo,
4
era nti baanywanga ku kyokunywa kimu eky'omwoyo. Anti baanywanga ku lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga; olwazi olwo yali Kristu.
5
Newandibadde bwe gutyo bwe guli, bangi mu bo Katonda teyabasanyukira, anti emirambo gyabwe gyabikkirira eddungu.
6
Ebyo byali bya kutulabula, tuleme kwegomba bibi nga bali bwe beegomba.
7
Muleke na kusinza bitaliimu ng'abamu mu bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu ne batuula wansi okulya n'okunywa, ne basituka okwesanyusa.”
8
Tuleke kudda mu bya buseegu ng'abamu mu bo bwe baabikola ne bafaamu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu mu lunaku lumu.
9
Tuleme kukema Mukama ng'abamu mu bo bwe baamukema, emisota ne gibazikiriza.
10
Temwemulugunyanga ng'abamu mu bo bwe beemulugunya eyali azikiriza n'abazikiriza.
11
Ebyo byonna byabajjira okubaako kye bituyigiriza, ne biwandiikibwa okutulabula ffe abaliwo enkomerero y'emirembe b'etuukiridde.
12
Bwe kityo nno, alowooza ng'ayimiridde, yeekuume aleme kugwa.
13
Ebigezo ebibajjidde si bye bigezo ebitasangibwa buli muntu. Katonda mwesigwa, tayinza kubaleka kugezebwa mu bibayitiridde; na buli kigezo ekijja akiweerako ekkubo ery'okukivvuunuka, musobole okukigumira.
14
Kale nno, abooluganda, mwewale okusinza balubaale.
15
Njogera gye muli ng'abantu abategeera; mwetegereze mmwennyini bye njogera.
16
Ekikompe eky'omukisa kye tuwa omukisa, tekiba musaayi gwa Kristu gwe tugabanako? Omugaati bwe tugumenya, teguba mubiri gwa Mukama gwe tugabanako?
17
Omugaati guli gumu, naye naffe abangi ffenna olw'okugabana ku mugaati ogumu ogwo, tufuuka mubiri gumu.
18
Mulabire ku Yisirayeli ng'eggwanga. Abalya ku biwongebwa tebafuuka kimu ku mwaliiro?
19
Bwe ŋŋamba ntyo mba ntegeeza ki? Mba ntegeeza nti emmere emponge kintu ekiri awo, oba nti lubaale w'ali ddala?
20
Nedda! Bye batambira, babiwongera myoyo mibi, si Katonda. Saagala nno mwetabe na myoyo mibi.
21
Temuyinza kunywa kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku ky'emyoyo emibi; temusobola kugabana ku lujjuliro lwa Mukama, ate ne ku lw'emyoyo emibi.
22
Twandisosonkerezza obuggya bwa Katonda? Ffe tumusinga amaanyi?
23
“Byonna bikkirizibwa,” naye si byonna nti bingasa. “Byonna bikkirizibwa,” naye si byonna nti bizimba omuntu.
24
Oli aleme kwefaako yekka, naye afe ne ku bulungi bwa munne.
25
Mulye buli kitundibwa mu katale awatali mmeeme kubalumira kintu na kimu.
26
Anti ensi ya Mukama na byonna ebigijjuza.
27
Singa omu mu batakkiriza abayita okulya, nammwe ne mukkiriza okugendayo, mulye kyonna ky'abaleetera awatali mmeeme kubalumira kintu na kimu.
28
Naye bwe wabeerawo agamba nti: “Eyo emmere mponge,” temulya olw'okubeera oyo akyogedde, n'olw'obutalumwa mmeeme –
29
ntegeeza emmeeme ye, si eyiyo. Lwaki eddembe lyange lyandikugiddwa emmeeme y'omulala entiitiizi?
30
Nze bwe ndya nga mmaze okwebaza, lwaki nandivunaaniddwa olw'ekyo kye mmaze okwebaza?
31
Awo nno oba mulya, oba munywa, na buli kirala kyonna kye mukola, mugendererengamu kitiibwa kya Katonda.
32
Muleme kunyiiza Bayudaaya oba Bagereeki oba Ekleziya wa Katonda,
33
nga nange bwe ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga seefaako nzekka, wabula nga nfa ku bulungi bw'abangi, balyoke balokoke.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16