bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 16
1 Corinthians 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Ku bikwata ku kusonda okwakolebwa abatuukirivu: Nammwe mukole nga bwe nagamba Ekleziya z'omu Galasiya.
2
Buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe ayawuzengako atereke ebbali ky'aba asobodde, okusonda muleme kukukola nga mmaze okutuuka eyo.
3
Bwe ndituuka eyo, ne ntuma abamu mu mmwe be muliba mukakasizza, n'ebbaluwa yammwe ey'okubanjula, batwale ebirabo byammwe e Yeruzaalemu.
4
Bwe ndiba nange nsaanira ŋŋendereko, baligenda nange.
5
Bwe ndiba mmaze okuyita mu Masedoniya, ŋŋenda kujjako ewammwe, kubanga ndiyitira mu Masedoniya.
6
Nsuubira okusigalako ewammwe; oboolyawo ndimala n'eyo obudde obw'obutiti, olwo mmwe ne mumperekereko bwe ndiba ntuusizza okugenda wonna we ndiba ndaga.
7
Saagala kubalabako luwunguko; nsuubira okumala nammwe akabanga Omukama ng'ayagadde.
8
Nzija kusigala mu Efezi okutuusa ku Pentekooti.
9
Omulyango munene ogunziguliddwawo wano ogw'omulimu ogwegasa; naye n'abampakanya nabo nnina bangi.
10
Timotewo bw'atuukanga, mulabe ng'abeera mu mmwe awatali kutya; anti naye akola mulimu gwa Mukama nga nze gwe nkola.
11
Wabulewo amugaya; mumuwerekereko mirembe amadda, asobole okudda gye ndi; anti ndi wano mmulinda wamu n'abooluganda.
12
Ye muganda waffe Apollo namwekubako nnyo abakyalireko wamu n'abooluganda abalala, naye olwo yali tannafuna mwoyo gujja. Bw'alifuna akabanga, alijja.
13
Mutunule, munywere mu kukkiriza, mugume, mubeere ba maanyi.
14
Byonna bye mukola mubikozenga kwagala.
15
Abooluganda, nnina kye nsaba: Mumanyi ng'ab'ennyumba ya Stefana be baasooka okusoma mu Akayiya, era nga bajjumbize mu kuyamba abatuukirivu,
16
mugondere abantu ng'abo na bonna ababakwatirako ne bannaabwe bwe bakola.
17
Nsanyuse olw'okujja kwa Stefana ne Forutunato ne Akayiko; bano bajjuulirizzaawo mmwe we mutali.
18
Bampadde okuweeraweerako, era nammwe babakoze kye kimu. Abantu nga bano mubalagenga okusiima kwammwe.
19
Ekleziya z'omu Aziya zibalamusizza. Akwila ne Prisika n'Ekleziya yenna akuŋŋaanira mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama.
20
Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusaganye n'okunywegeragana okutukuvu.
21
Nze Pawulo, okutumira kuno nkuwandiise n'omukono gwange gwennyini.
22
Oli atayagala Mukama waffe avumirirwe! Marana tha.
23
Eneema ya Mukama waffe ebeere nammwe.
24
N'okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristu Yezu. Amiina.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16