bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 8
1 Corinthians 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Kati ate ku bifa ku mmere empongere balubaale: tumanyi nti ffenna tumanyi; naye nno okumanya kuleeta lwetumbu; wabula okwagala kwo kuzimba omuntu.
2
Oli alowooza nti aliko ky'amanyi, aba tannamanya ng'omuntu bw'asaanye okumanya.
3
Naye oli bw'ayagala Katonda, amanyibwa Katonda.
4
Kati nno ku kulya emmere ewongeddwa balubaale: ffenna tumanyi nga lubaale mu butuufu taliiwo, era tewali Katonda mulala wabula omu ono.
5
Newandibadde nga waggulu eyo ne mu nsi osanga be bayita balubaale, anti balubaale nkuyanja, n'abakama nkumu,
6
naye ffe tumanyi Katonda omu, Taata, byonna mwe bisibuka, naffe mwe tuva, n'Omukama omu Yezu Kristu, byonna mwe byayita okubaawo, naffe mwe twayita okubaawo.
7
Naye ebyo si bonna nti babimanyi. Naye abamu olw'okubeera nga n'okutuusa kati beemanyiizizza balubaale, balya emmere emponge nga ddala eyawongeddwa lubaale; kubanga omutima gwabwe munafu, ne gujjako ekibi.
8
Emmere si y'etufuula abalungi ewa Katonda; bwe tutalya, tetuliiko kye tufiirwa, ne bwe tulya tetuliiko kye tweyongerako.
9
Wabula mwekkaanye, sikulwa ng'eddembe lyammwe lifuuka ekyesittazo eri omunafu.
10
Oli singa akulaba ggwe amanyi ng'olya ebiwonge mu kiggwa kya lubaale, bw'aba ow'omutima omunafu, taguma bugumi naye n'alya ebiwongere lubaale?
11
Bw'otyo ggwe amanyi oleetedde omunafu ono okuzikirira, owooluganda Kristu gwe yafiirira.
12
Bwe musobya mutyo eri bannammwe, ne muttattana mutyo emitima gyabwe eminafu, mubeera Kristu gwe musobezza.
13
Oba bwe guli, emmere ng'ereetera munnange okwesittala, sirirya nnyama omulundi n'ogumu, nneme kwesittaza munnange.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16