bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 11
1 Corinthians 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Mulabire ku nze nga nze bwe ndabira ku Kristu.
2
Mbatenda kubanga munzijukira mu byonna, n'empisa ez'okugoberera muzituusa nga bwe nazibayigiriza.
3
Naye njagala kino mukitegeere, nti omutwe gwa buli musajja ye Kristu; omutwe gw'omukazi ye bba; omutwe gwa Kristu ye Katonda.
4
Omusajja bw'abikka omutwe ng'asoma, obanga alanga, aswaza omutwe gwe.
5
Sso omukazi bw'atabikka mutwe nga yeegayirira obanga alanga, aswaza omutwe gwe, guba nga ogumwereddwa.
6
Oba omukazi omutwe tagubikka, n'enviiri azisalireko ddala. Oba omukazi okumusala enviiri, yadde okumumwa omutwe, kya nsonyi, omutwe nno agubikke.
7
Omusajja ye tasaanye kwebikka mutwe, kubanga ye kye kifaananyi kya Katonda n'ekitiibwa kye; naye omukazi kitiibwa kya musajja.
8
Kubanga omusajja si ye yakolebwa ng'ava mu mukazi, wabula omukazi ye yakolebwa ng'ava mu musajja.
9
N'omusajja si ye yatonderwa omukazi, wabula omukazi ye yatonderwa omusajja.
10
Awo nno omukazi, olw'abamalayika abali awo, kyava ateekwa okwoleka ku mutwe gwe obuyinza bba bw'amulinako.
11
Sso ate mu Mukama omukazi teyeemalirira awatali musajja, era n'omusajja teyeemalirira awatali mukazi.
12
Ng'omukazi bwe yakolebwa ng'ava mu musajja, era n'omusajja bw'abaawo ng'ava mu mukazi, anti byonna biva wa Katonda.
13
Mmwe mmwennyini musalewo: kisaana omukazi okwegayirira Katonda nga tabisse mutwe?
14
Ne mu buwangwa tolaba nti omusajja okukuza enviiri kiba kwefeebya,
15
sso ng'omukazi eyaweebwa enviiri empanvu ku ye kiba kya kitiibwa? Enviiri empanvu zaamuweebwa okumubikka.
16
Oba oli ayagala kino okukiwakanya, amanye nti ffe tetulinaayo mpisa ndala, era n'Ekleziya za Katonda nazo tezigirina.
17
Mu bino bye nkuutira mmwe sibatenda, kubanga bwe mukuŋŋaana, temweyongera mu bulungi wabula mu bubi.
18
Ekisooka, bwe mukuŋŋaana awamu ng'Ekleziya, mpulira mbu mubeeramu okwetemamu. Ngira ate kino ne nkikkiriza,
19
anti okwetemamu kuteekwa okubaawo mu mmwe, abatuufu ddala balyoke balabike.
20
Bwe mukuŋŋaana, tekukyali kulya mbaga ya Mukama.
21
Bwe muba mulya, buli omu asooka kweriira mmere ye, omu aba enjala emuluma, omulala aba atamidde.
22
Abaffe, temulina ka wammwe gye muliira na kunywera? Nandiki Ekleziya wa Katonda gwe mugaya nga muswaza abatalina? Mbagambe ki? Mbatende? Mu kino sibatenda.
23
Ekyo kye nafuna okuva ew'Omukama nange kye nababuulira, nti: Mukama Yezu mu kiro kye baamuweerayo, yakwata omugaati,
24
ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agamba nti: “ Kino mubiri gwange ku lwammwe; kino mukikolanga okunzijukira.”
25
Mu ngeri ye emu, ekyeggulo nga kiwedde, yakwata ekikompe n'agamba nti: “Ekikompe kino ye Ndagaano empya mu musaayi gwange; buli lwe munaanywanga, kino mukikolanga okunzijukira.”
26
Awo nno buli lwe mulya omugaati guno ne munywa ne ku kikompe, mulangirira okufa kw'Omukama okutuusa lw'alijja.
27
Bwe kityo nno, buli anaalyanga omugaati guno oba n'anywa ku kikompe ky'Omukama nga tasaanidde, anazzanga omusango ku mubiri ne ku musaayi gw'Omukama.
28
Awo nno buli muntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati ogwo anywe ne ku kikompe.
29
Anti alya n'anywa nga tamaze kwetegereza nti mubiri, alya era anywa musango.
30
Kwe kulaba nga bangi mu mmwe balwadde era bayongobevu, n'abamu nga bafudde.
31
Tuba kumala kwekebera, ggwe wamma tetwandiramuddwa.
32
Bwe tulamulibwa, tubonerezebwa Omukama tuleme kusalirwa musango kutusinga wamu n'ensi eno.
33
Awo nno, baganda bange, bwe mukuŋŋaana okulya, mulindenga bannammwe.
34
Enjala gw'eruma aliire eka; muleme kwereetereza musango nga mubadde mukuŋŋaanye. Ensonga endala ndizitereeza nga nzize.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16