bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 12
1 Corinthians 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Ku bikwata ku bitone Mwoyo by'awa, abooluganda, saagala mubeere nga temumanyi.
2
Mumanyi nga bwe mwali mukyali bakafiiri, mwawubisibwa ne mumala gatwalibwa mutyo mu maaso g'ebifaananyi bya balubaale bikasiru.
3
Kale nno njagala mumanye nti tewali ayogerera mu Mwoyo wa Katonda ayinza ate kugamba nti: “Yezu avumirirwe,” era tewali ayinza kugamba nti: “Mukama Yezu,” wabula ng'ayogerera mu Mwoyo Mutuukirivu.
4
Ebitone birimu enjawulo, naye nga Mwoyo ye omu;
5
n'empeereza zirimu enjawulo, naye ng'Omukama ye omu;
6
emirimo nagyo girimu enjawulo, naye nga Katonda ye omu, y'akola mu byonna mu buli kintu.
7
Buli omu aweebwa okwolesebwa kwa Mwoyo olw'ensonga y'okugasa abalala.
8
Omu aweebwa mu Mwoyo okwogera eby'amagezi, omulala kumanyisa, Mwoyo era nga ye omu.
9
Omulala kukkiriza, mu Mwoyo ye omu; omulala kitone kya kuwonya, mu Mwoyo ye omu.
10
Omulala kukola byewuunyo, omulala kulanga, omulala kwawula bika bya myoyo, omulala bika bya nnimi, omulala kuvvuunula nnimi.
11
Mu bano bonna Mwoyo ye omu akola, agabira buli muntu nga bw'ayagala.
12
Ng'omubiri bwe guba ogumu naye ne guba n'ebitundu bingi, ate n'ebitundu by'omubiri byonna sso newandibadde nga bingi, byonna wamu ne biba omubiri gumu, ne Kristu bw'ali.
13
Olwa Mwoyo omu ffenna twabatizibwa mu mubiri gumu. Abayudaaya n'Abagereeki, abaddu n'ab'eddembe, ffenna twanywesebwa ku Mwoyo omu.
14
Anti omubiri tegukolebwa kitundu kimu, naye bingi.
15
Singa ekigere kigamba nti: “Kubanga siri mukono; awo nno sibalirwa ku mubiri,” ekyo tekikigaana n'akamu kubalirwa mu mubiri.
16
Ye singa okutu kugamba nti: “Kubanga siri liiso, awo nno sibalirwa ku mubiri,” ekyo tekikugaana n'akamu kubalirwa ku mubiri.
17
Singa omubiri gwonna gwali liiso, ate okuwulira kwandibadde wa? Singa omubiri gwonna gwali kutu, ate okuwunyiriza kwandibadde wa?
18
Naye Katonda yatereeza ebitundu mu mubiri, buli kimu nga bwe yayagala.
19
Singa byonna byali kitundu kimu, olwo omubiri gwandibadde wa?
20
Sso kati ebitundu bingi, naye ng'omubiri gumu.
21
Eriiso teriyinza kugamba mukono nti: “Sikwetaaga;” n'omutwe teguyinza kugamba bigere nti: “Sibeetaaga.”
22
Ate nno ebitundu by'omubiri ebisinga obunafu, bye bitarekeka.
23
N'ebitundu by'omubiri bye tuyita ebitene, tubyetoolooza ekitiibwa ekiyitiridde; era ebitundu byaffe ebitali bikulu tubisukkulumya n'ekitiibwa ekiyitiridde
24
n'okusinga ebitundu byaffe ebikulu bwe byandyetaaze okusukkulumizibwa. Katonda bwe yatereeza bw'atyo omubiri, ekitundu ekitalina kitiibwa n'akiwa ekitiibwa ekisinga,
25
omubiri guleme kwesalaasalamu, naye ebitundu byonna bikolerere ekimu okugasa kinnaakyo.
26
Ekitundu ekimu bwe kirumwa, byonna birumirwa wamu; ekimu bwe kifuna ekitiibwa, n'ebitundu ebirala byonna bisanyukirako.
27
Kati mmwe muli mubiri gwa Kristu, buli omu kitundu kyagwo.
28
Katonda nno yassaawo mu Ekleziya, okusookera ddala Abatume, abookubiri be balanzi, abookusatu be bayigiriza, n'azzaako abakola ebyewuunyo, n'abawonya endwadde, n'abayambi, n'abakulembeze, n'aboogera ebika by'ennimi, n'abavvuunula ennimi.
29
Bonna batume? Bonna balanzi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyewuunyo?
30
Bonna balina ekitone eky'okuwonya? Bonna boogera ennimi? Bonna bayinza okuzivvuunula?
31
Naye muluubirire ebitone ebisingira ddala. Kale nzija kubalaga ekkubo erikyasingira ddala obulungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16