bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 5
1 Corinthians 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Tuwulira, ate nga kikakafu, nti mu mmwe eriyo obuseegu, ate nno ekika ky'obuseegu ekitasangika na mu bakafiiri; anti waliwo omu alina muka kitaawe.
2
Mmwe muli mu kwetenda! Temusaanye kubeera mu maziga? Eyakola ekyo abaggyibwemu.
3
Nandibadde siriiyo eyo mu mubiri, naye gye ndi mu mwoyo, era omusango nagumusalidde dda
4
mu linnya ly'Omukama Yezu, oyo eyakola ekintu ng'ekyo. Bwe munaaba mukuŋŋaanye mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, nga nange ndi nammwe mu mwoyo, mu buyinza bwa Mukama waffe Yezu Kristu,
5
muweeyo omuntu ow'engeri eyo eri Sitaani, omubiri gwe guzikirire, olwo omwoyo gwe guwonyezebwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yezu Kristu.
6
Bye mwetendamu tebiriimu. Temumanyi nti ekizimbulukusa ekitono kiti kizimbulukusa obutta bwonna?
7
Mwetukuzeeko ekizimbulukusa ekikadde, mubeere obutta obuggya, nga bwe mutaliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristu, akaliga ka Pasika, atambiddwa.
8
Kale nno embaga tuleme kugirya n'ekizimbulukusa ekikadde, ekizimbulukusa eky'ettima n'obugwenyufu, naye tugirye n'omugaati ogutazimbulukuse mu bwesimbu n'amazima.
9
Mu bbaluwa eri nabawandiikira ne mbagamba obuteetaba na bantu baseegu.
10
Sitegeeza ggwe wamma buli muntu museegu mu nsi muno, oba ow'omululu gw'ebintu, oba omunyazi, yadde abasinza balubaale, mpozzi ng'ensi mwandigivuddeko buvi.
11
Wabula nabawandiikira kubagaana kwetaba n'oyo ayitibwa owooluganda naye nga museegu, oba ow'omululu gw'ebintu, omuvumi, omutamiivu oba omubbi; ow'engeri eyo muleme kulya naye ku lujjuliro.
12
Nze ab'ebweru mbalamula ntya? Nammwe abali mu mmwe si be mulina okulamula?
13
Ab'ebweru Katonda y'abalamula. Omuntu ono omuseegu mumuggyire ddala mu mmwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16