bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 15
1 Corinthians 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Abooluganda, mbajjukiza Evangili gye nabayigiriza, nammwe gye mwakkiriza era kwe munyweredde,
2
mwe munaalokolerwa, bwe muba nga munyweredde ku eyo gye nabayigiriza, okuggyako mpozzi nga mukkiriza lwa busa.
3
Nabatusaako nange kye nafuna, mu kusookera ddala nti Kristu yafa olw'ebibi byaffe ng'Ebiwandiiko bwe bigamba,
4
n'aziikibwa, n'azuukizibwa ku lw'essatu ng'Ebiwandiiko bwe bigamba,
5
n'alabikira Kefa; bwe yava awo n'alabikira ekkumi n'omu,
6
ate n'alabikira n'abooluganda ebikumi bitaano n'okusoba ku mulundi gumu; abasinga obungi mu bo bakyaliwo n'okutuusa kati, newandibadde ng'abalala bagalamidde.
7
Ate n'alabikira ne Yakobo, era n'abatume bonna.
8
Ddaaki, n'alabikira nange, eyali ng'olubuto olutalindiriddwa kuzaalibwa.
9
Anti nze nsembayo mu batume; sisaanidde na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekleziya wa Katonda.
10
Naye olw'eneema ya Katonda ndi kati ky'endi; n'eneema ye gye yampa teyafa busa; wabula ate natakabana ne nsinga na bali bonna, newandibadde nga teyali nze eyakola, wabula eneema ya Katonda eri nange.
11
Oba nno nze njigiriza oba bali abalala, kye tuyigiriza ky'ekyo era nammwe kye mwakkiriza.
12
Oba Kristu yalangirirwa nti yazuukizibwa mu bafu, lwaki abamu mu mmwe bagamba nti teri kuzuukira kwa bafu?
13
Oba teri kuzuukira kw'abafu, ne Kristu nno teyazuukizibwa.
14
Oba Kristu teyazuukizibwa, bye tuyigiriza bya bwereere, n'okukkiriza kwammwe kwa busa.
15
Ffe tusangiddwa nno nga tuli bajulirwa ba Katonda abalimba, anti twajulira Katonda nti yazuukiza Kristu, sso nga tamuzuukizanga, bwe kiba nti abafu tebazuukizibwa.
16
Oba abafa tebazuukizibwa, ne Kristu teyazuukizibwa.
17
Oba Kristu teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe kwa busa, n'okuba mukyali mu bibi byammwe.
18
N'abo abagalamidde mu Kristu, baazikirira.
19
Oba twassa essuubi lyaffe mu Kristu lwa bulamu buno bwokka, awo nno mu bantu bonna ffe tusingamu obunaku.
20
Kwo okuba Kristu yazuukizibwa mu bafu, ebibala ebisooka eby'abo abagalamidde.
21
Omuntu ye yaleeta olumbe, era omuntu y'aleese okuzuukira kw'abafu.
22
Nga mu Adamu abantu bonna bwe bafa, bwe kityo ne mu Kristu bonna bwe baliddamu obulamu.
23
Buli omu mu lubu lwe, Kristu nga bye bibala ebisooka, olwo ku majja ge ne kuddako abo aba Kristu.
24
Olwo enkomerero n'eryoka etuuka, bw'alikwasa Katonda Taata obwakabaka ng'amaze okumenya buli bufuzi, na buli buyinza, na buli maanyi.
25
Talema kufuga okutuusa ng'atadde abalabe be bonna wansi w'ebigere bye.
26
Omulabe alisembayo okuwangulibwa lwe lumbe.
27
Manyanga byonna Katonda yabissa wansi w'ebigere bye. Naye oli bw'agamba nti: “Byonna byassibwa wansi we,” kiba kya nkukunala nti Oli eyabissa wansi we taliiko.
28
Byonna bwe birimala okussibwa wansi we, awo naye Mwana ne yessa wansi w'Oli eyassa byonna wansi we, bw'atyo Katonda abeere byonna mu byonna.
29
Oba si bwe kityo bwe kiri, bagenderera ki okubatizibwa ku lw'abaafa? Lwaki baabatizibwa ku lw'abo oba ddala abafu tebalizuukizibwa?
30
Ye lwaki nze okuba mu kabenje k'okufa buli kaseera?
31
Abooluganda, ndayira okwenyumiriza kwe nnina mu mmwe mu Kristu Yezu Mukama waffe, nti buli lunaku ndi mu kufa.
32
Mugaso ki gwe naggya mu kulwanagana n'agasolo mu Efezi, singa mba njogedde ng'omuntu bw'ayogera? “Oba abafu tebazuukizibwa, ka tulye, tunywe, anti enkya tujja kufa.”
33
Muleke kuwubisibwa: Okuyita n'ab'emize kyonoona empisa ennungi.
34
Muve mu tulo, muyise bulungi; ekibi mukiveeko. Abamu mu mmwe Katonda tebamumanyi n'akatono. Kino nkyogedde kubakwasa nsonyi.
35
Omu ajja kubuuza nti: “Naye abafu bazuukizibwa batya? Omubiri balijja na gwa ngeri ki?”
36
Musiru ggwe! Ky'osiga tekimera wabula nga kimaze kufa.
37
Ky'osiga, si gwe mubiri ogudda, wabula osiga nsigo busigo, oba ya ŋŋano oba empeke endala yonna,
38
naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, buli nsigo n'omubiri gwayo.
39
Kubanga emibiri gyonna si gya ngeri ye emu. Waliwo ogw'omuntu, omulala ogw'ensolo, omulala ogw'ebinyonyi, n'omundi ogw'ebyennyanja.
40
Waliwo emibiri egy'eby'eggulu, n'emibiri egy'eby'oku nsi; naye ekitiibwa ky'eby'eggulu kyawufu, n'ekitiibwa ky'eby'oku nsi nakyo kyawufu.
41
Ekitiibwa eky'enjuba kirala, n'ekitiibwa eky'omwezi nakyo kirala, n'ekitiibwa eky'emmunyeenye nakyo kirala; n'emmunyeenye zaawukana mu bitiibwa.
42
N'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo, ekisigibwa kiba kivunda, ekizuukizibwa kiba tekivunda. Kisigibwa si kya kitiibwa, kizuukizibwa kya kitiibwa;
43
kisigibwa kinafu, kizuukizibwa kya maanyi;
44
kisigibwa mubiri bubiri, kizuukizibwa mubiri ogujjudde omwoyo.
45
Bwe kityo kyawandiikibwa nti: “Omuntu omubereberye Adamu yafuuka omwoyo omulamu;” naye Adamu ow'oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.
46
Naye eky'omwoyo si kye kyasooka, wabula eky'omubiri, olwo ne kuddako eky'omwoyo.
47
Omuntu eyasooka yava mu ttaka, wa mu ttaka; omuntu owookubiri yava mu ggulu.
48
Ng'ono ow'omu ttaka bwe yali, n'abo ab'omu ttaka bwe baba; era ng'ow'omu ggulu bw'ali, n'abo ab'omu ggulu bwe baba.
49
Ffe nga bwe twatwala ekifaananyi ky'omuntu ow'oku nsi, bwe tulitwala n'ekifaananyi ky'omuntu ow'omu ggulu.
50
Abooluganda, kye ntegeeza kye kino: Omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; ekivunda tekisikira kitavunda.
51
Mulabe, mbabuulira ekyama: Ffenna tetugenda kufa, naye ffenna tugenda kufuulibwa,
52
mu kaseera buseera, okutemya n'okuzibula, ekkondeere evvannyuma olulivuga. Ekkondeere ligenda kuvuga, abafu ne bazuukizibwa nga si ba kuvunda, naffe tulifuulibwa.
53
Kubanga kino ekivunda kirina okwambala obutavunda; kino ekifa kiteekwa okwambala obutafa.
54
Kino ekivunda bwe kirimala okwambala obutavunda, na kino ekifa nga kimaze okwambala obutafa, olwo ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti: “Olumbe lumiriddwa mu buwanguzi.
55
Walumbe, obuwanguzi bwo buluwa? Walumbe, ekikato kyo kiruwa?”
56
Anti ekikato ky'olumbe kye kibi; ate ekibi amaanyi gakiva mu Tteeka.
57
Wamma Katonda yeebale atuwa obuwanguzi mu Yezu Kristu Mukama waffe.
58
Kale nno baganda bange abaagalwa, mubeere banywevu, abatanyeenyezebwa, bulijjo nga mukola omulimu gw'Omukama ne muyitirira, nga mumanyi nti mu Mukama temukolera busa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16