bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 2
1 Corinthians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Abooluganda, nange bwe najja gye muli, sajja nga nnangirira ekyama kya Katonda mu njogera ya kikugu oba ya kigezi,
2
kubanga nali nsazeewo obutamanya kirala kyonna mu mmwe wabula Yezu Kristu, oyo omukomerere.
3
Nali mu mmwe mu buteeyinza, mu kutya ne mu kukankana okungi.
4
Bye nayogeranga ne bye nayigirizanga tebyali mu bigambo bisukkirivu eby'amagezi, wabula mu kw'oleka Mwoyo n'amaanyi,
5
okukkiriza kwammwe kuleme kwesigama ku magezi ga bantu, wabula ku maanyi ga Katonda.
6
Naye nga tuli mu bantu abakulu, tubabuulira magezi, si magezi ag'emirembe gyaffe oba ag'abafuzi ab'emirembe gyaffe abagenda basaanyizibwawo;
7
wabula tubabuulira amagezi ga Katonda ag'ekyama agaali gakisiddwa, Katonda ge yategeka okuva ddi nga n'emirembe teginnasooka, tutuuke ku kugulumizibwa.
8
Mu bakungu b'ensi tewaali n'omu kino yakimanya; baba kukimanya tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa.
9
Naye nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebintu eriiso bye litalabangako n'okutu bye kutawulirangako n'omutima gw'omuntu bye guteefumiitirizangako, ebyo Katonda bye yategekera abo abamwagala,”
10
Katonda yabitwoleka mu Mwoyo we; anti Mwoyo yeekebejja buli kintu, newandibadde munda mu Katonda.
11
Ani amanyi ebiri mu muntu munda okuggyako omwoyo gw'omuntu ogumulimu? Bwe kityo nno n'ebiri munda mu Katonda tewali abitegeera okuggyako Mwoyo wa Katonda.
12
Ffe tetwafuna mwoyo gwa nsi eno, wabula Mwoyo ava mu Katonda, tulyoke tutegeere ebirabo Katonda bye yatugabira.
13
Awo nno bino tetubiyigiriza mu bigambo bya magezi ag'obuntu obuntu, wabula mu bigambo Mwoyo by'ayigiriza, eby'omwoyo ne tubinnyonnyola mu lulimi olwa Mwoyo.
14
Omuntu mu bw'omuntu takkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga ku ye byonna biba busiru; tayinza kubitegeera, kubanga bisobola kutegeerwa na Mwoyo.
15
Sso omuntu owa Mwoyo asobola okwekenneenya byonna, naye ye tewali asobola kumwekenneenya.
16
Ani amanyi Omukama by'alowooza munda ye nti amuyigirize? Naye ffe tulina endowooza ya Kristu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16