bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 13
1 Corinthians 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Singa njogera mu nnimi abantu ne bamalayika ze boogera, sso nga sirina kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, obanga ensaazo ezimala gasaala.
2
Ne bwe mba n'obuyinza obw'obulanzi, oba bwe mba nga nsobola okutegeera buli byama byonna na buli magezi, ne bwe mba n'okukkiriza kwonna nga nsobola n'okusigula ensozi, sso nga sirina kwagala, siba kantu.
3
Ebyange byonna ne bwe mbiwaayo, ne bwe ndiwaayo omubiri gwange gwokebwe, sso nga sirina kwagala, sirina kye ŋŋanyulwamu.
4
Okwagala kugumiikiriza, kwa kisa; okwagala tekukwatirwa buggya, tekwepanka wadde okwetenda,
5
tekukolera bubi, tekwenoonyeza byakwo, tekukalaza, tekulowooleza bubi;
6
tekusanyukira bubi, naye kusanyukira mazima.
7
Kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kugumiikiriza byonna.
8
Okwagala tekuliiko makoma; okulanga kuliggwaawo; zo ennimi zirisirikka, n'ago amagezi galiggwaawo.
9
Amagezi gaffe tegatuukiridde, n'okulanga kwaffe tekutuukiridde;
10
ekituukiridde bwe kirijja, ekitatuukiridde kiriggwaawo.
11
Bwe nali omuto, nayogeranga ng'omuto, nalowoozanga ng'omuto, nalamulanga ng'omuto. Naye bwe nasajjakula, ne nva ku by'obuto.
12
Kati tulabira mu ndabirwamu, mu kwefaanaanyiriza; naye luli tulirabaganira ddala maaso ku maaso; kati mmanyi kitundu, naye luli ndimanyira ddala nga nze bwe mmanyiddwa.
13
Kale nno okukkiriza n'okusuubira n'okwagala bisigalawo, ebisatu ebyo; naye ekisingira ddala bino kwe kwagala.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16