bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 6
1 Corinthians 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Omu mu mmwe ng'aliko ky'avunaana omulala, aguma atya okuwoleza mu maaso g'abatali batuukirivu mu kifo ky'okuwoleza mu batuukirivu?
2
Temumanyi nti abatuukirivu be baliramula ensi? Oba mmwe muliramula ensi, mmwe mutamala busongasonga obwo?
3
Temumanyi nga ffe tuliramula bamalayika? Leero nno alabisa bino eby'obulamu buno.
4
Nga mulina ensonga ng'ezo, lwaki muzitwala eri abo Ekleziya b'enyooma?
5
Kino nkyogera kubakwasa nsonyi; ddala ddala mu mmwe temuli n'omu asobola kumala nsonga za ba luganda mu mmwe?
6
Owooluganda n'awawaabira owooluganda ate nnyini mu batakkiriza?
7
Ate mmwe okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka nakyo kitegeeza bwe muwanguddwa. Lwaki temugumiikiriza nsobi? Lwaki temusiima waakiri ne mulyakulwa?
8
Laba, nammwe muyisa bubi, ne mulyakula, ate nnyini abooluganda.
9
Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Muleme kuwubisibwa; abaseegu, oba abasinza balubaale, oba abenzi, oba abagwagwa, oba abakabawala n'ab'oluse lwabwe,
10
oba ababbi, oba abalulunkanira ebintu, oba abatamiivu, oba abavumi, oba abanyazi, si ba kusikira bwakabaka bwa Katonda.
11
Abamu edda bwe mwali, naye kati mwanaazibwa, mwatukuzibwa, sso mwafuuka batuukirivu mu linnya ly'Omukama Yezu Kristu ne mu Mwoyo wa Katonda waffe.
12
“Byonna nzikirizibwa okubikola,” naye si byonna nti bingasa. “Byonna nzikirizibwa okubikola,” naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.
13
“Emmere yakolerwa lubuto, n'olubuto lwakolerwa mmere;” naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri teguliiwo lwa buseegu, wabula lwa Mukama, n'Omukama lwa mubiri.
14
Katonda yazuukiza Omukama, naffe alituzuukiza n'obuyinza bwe.
15
Temumanyi ng'emibiri gyamwe bitundu bya Kristu? Awo nzirire ebitundu bya Kristu mbifuule ebitundu by'omukazi malaaya? Kikafuuwe!
16
Temumanyi nti ayeegatta ne malaaya afuuka mubiri gumu naye? Anti yagamba nti: “Babiri balifuuka omubiri gumu.”
17
Sso eyeegatta ku Mukama, afuuka mwoyo gumu naye.
18
Mwewale obuseegu. Ekibi ekirala kyonna omuntu ky'akola kiba bweru wa mubiri gwe; naye akola eby'obuseegu, ekibi akikola mu mubiri gwe mwennyini.
19
Temumanyi ng'omubiri gwammwe kiggwa kya Mwoyo Mutuukirivu abalimu, gwe mwafuna okuva ewa Katonda? Mmwe temwerinaako bwannannyini.
20
Mwagulibwa n'omuwendo, kale nno mugulumize Katonda mu mubiri gwammwe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16