bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 14
1 Corinthians 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Muluubirire kwagala; mwegombe ebitone bya Mwoyo, naddala eky'obulanzi.
2
Kubanga ayogera mu nnimi ayogera na Katonda si na bantu; anti mpaawo amutegeera, wabula ayogera byama mu Mwoyo.
3
Sso alanga ayogera eri abantu eby'okubagasa, okubakubiriza n'okubakubagiza.
4
Ayogera mu nnimi yeegasa yekka, sso alanga agasa Ekleziya wa Katonda.
5
Njagala mwenna mwogere ennimi, naye ate okusingawo njagala mulange. Kubanga alanga akira ayogera mu nnimi, wabula mpozzi ng'ow'ennimi alina amunnyonnyola ekibiina ne kiggyamu omugaso.
6
Kati, abooluganda, singa nzija gye muli nga njogera ennimi, mbagasa ki, wabula mpozzi nga mbabuulidde kye ntumiddwa okubabikkulira, oba okumanyisa, oba okulanga oba okuyigiriza.
7
N'ebivuga ebitalina bulamu, ng'endere oba ennanga, bwe bitavuga na maloboozi gaawukanye bulungi, ani ayinza okutegeera ekifuuyiddwa?
8
Eŋŋombe bw'evuga n'eddoboozi eritali kkakafu, ani aneetegeka okugenda okutabaala?
9
Bwe kiri ne ku mmwe; bwe mwogera olulimi ng'ebigambo tebitegeerekeka, omuntu anaategeera atya ekyogerwa? Munaaba mwogerera bbanga ssa.
10
Kwo okuba ennimi ziri nnyingi mu nsi, era mpaawo lutalina makulu;
11
naye bwe mba simanyi byogerwa kye bitegeeza, nzija kubeera mugwira eri oyo ayogera nange, ate naye ajja kubeera mugwira gy'endi.
12
Ne ku mmwe bwe kiri. Awo nno bwe muba muluubirira ebitone bya Mwoyo, muluubirire kugaggawala mu ebyo ebinaazimba Ekleziya.
13
Kale nno ayogera ennimi, yeegayirire afune ow'okuzivvuunula.
14
Bwe neegayirira mu nnimi omwoyo gwange gwegayirira, naye omutima gwange teguliiko kye guganyulwamu.
15
Kati nkole ki? Nandyagadde neegayirire mu mwoyo neegayirire ne mu mutima, nandyagadde nnyimbe ettendo mu mwoyo nnyimbe ne mu mutima.
16
Bw'onootendera Katonda mu mwoyo nga waliwo ali awo atannasomesebwa, ng'omaze okutendereza, anaasobola atya okwanukula nti: “Amiina,” ye bw'aba tategeera ky'ogamba?
17
Weewaawo ggwe Katonda omwebaza bulungi, naye omulala taggyamu mugaso.
18
Katonda mmwebaza okuba nga njogera mu nnimi okubasinga mwenna.
19
Naye mu kibiina kiryose njogere ebigambo ebitaano bye ntegeera obulungi olw'okuyigiriza abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi olutategeerekeka.
20
Abooluganda, muleme kulowooza nga bato; mubeere bato mu kukola bibi, naye mu mutima mulowooze kikulu.
21
Mu tteeka kyawandiikibwa nti: “Ndyogera n'abantu bano mu nnimi endala, ne mu njogera engwira, era ne ku olwo tebalimpuliriza, Omukama y'agamba.”
22
Awo nno okwogera mu nnimi si kabonero akaliwo olw'abakkiriza, wabula olw'abatakkiriza; n'ekitone eky'obulanzi tekiriwo lwa batakkiriza, wabula lwa bakkiriza.
23
Kale ng'Ekleziya yenna akuŋŋaanye, mwenna mumala mwogera mu nnimi, awo ne wayingira abatannasoma oba abatakkiriza, tebalibagamba nti mulaluse?
24
Sso singa bonna balanga, awo ne wayingira atakkiriza oba atannasoma, bw'ayingira, yeesanga abaliwo bonna bamusoomozezza, nga bamulamudde,
25
nga n'ebikisiddwa mu mutima gwe munda byeruddwa; olwo aligwa wansi ku maaso ge, n'asinza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
26
Abooluganda, kiki eky'okukola? Bwe mukuŋŋaana, buli omu abaako n'ekintu: omu luyimba lwa kutendereza, omulala kya kuyigiriza, omulala kya kubikkulira banne, omundi kwogera nnimi, n'omulala kuzivvuunula; naye buli kimu kikolebwe lwa kugasa balala.
27
Singa waliwo ow'okwogera mu nnimi, kino kikolebwe babiri oba abatasukka basatu, naye buli omu mu luwalo lwe, ate ng'omu avvuunula.
28
Bwe watabaawo avvuunula, buli omu ku abo asirike mu lukuŋŋaana, ayogere munda yekka, ayogere ne Katonda.
29
Abalanga nabo boogere babiri oba basatu, abalala nga bategereza.
30
Atudde awo bw'abaako ne ky'abikuliddwa, eyasoose asirike.
31
Mwenna kinnoomu muyinza okulanga, bonna bayige, bakubirizibwe.
32
Omwoyo gw'obulanzi gwandibadde gufugibwa abalanzi bennyini.
33
Kubanga Katonda si Katonda ow'okutabangula, wabula Katonda ow'emirembe. Nga mu Ekleziya zonna ez'abatuukirivu,
34
abakazi basirike mu nkuŋŋaana. Kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula babeere bawulize nga n'Etteeka nalyo bwe ligamba.
35
Oba baliko kye baagala okumanya, babuuze babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu lukuŋŋaana.
36
Ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe, nandiki kyatuuka mu mmwe mwekka?
37
Eyeerowooza nga mulanzi, obanga alina ebitone bya Mwoyo, yandikkirizza bye mbawandiikidde nti Omukama ye yabiragira.
38
Bino atabikkiriza, naye takkirizibwa.
39
Kale nno, baganda bange, mwegombe okulanga, n'okwogera mu nnimi temukugaana.
40
Naye nga byonna bikolebwa na kitiibwa mu butebenkevu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16