bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 7
1 Corinthians 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Ku bye mwampandiikirako nti: “Kirungi omusajja obutakwata ku mukazi.”
2
Kyokka olw'okubeera obuseegu, buli musajja afune mukazi we, na buli mukazi afune bba.
3
Omusajja asaanye atuukirize mukazi we ky'amubanja, n'omukazi akole bw'atyo eri bba.
4
Kubanga omukazi omubiri gwe tagulinaako bwannannyini, wabula bba; n'omusajja omubiri gwe tagulinaako bwannannyini, wabula mukazi we.
5
Buli omu aleme kugaana munne; wabula mpozzi nga mumaze kukkaanya mumale ebbanga, mufune akadde akeegayirira; ate muddiŋŋane, Sitaani aleme kubakema olw'okulemererwa okwefuga.
6
Kino sikyogera ng'etteeka, wabula nkirekera buli omu.
7
Singa nno mmwenna mwali nga nze bwe ndi. Naye buli omu alina ekirabo kye ekyawufu okuva eri Katonda, omu abeera na kino, n'omulala n'abeera na kiri.
8
Ku batannawasa ne bannamwandu, ŋŋamba nti singa basigalira awo nga nze bwe ndi kyandibakoze bulungi.
9
Naye bwe baba tebasobola kwefuga, bawase, kubanga okuwasa kirungi okusinga okubabirirwa.
10
Abafumbo mbalagira, naye si nze, wabula Omukama y'abalagira, nti omukyala tanobanga ku bba.
11
Bw'anobanga, asigaliranga awo, oba addangayo n'atabagana ne bba. N'omusajja tayawukananga ne mukazi we.
12
Bye ŋŋamba abalala nze mbyogera, si Mukama, nti obanga owooluganda alina omukazi atannakkiriza, omukazi ng'asiima basigale wamu, aleme kumugoba.
13
N'omukazi bw'aba ne bba atannakkiriza, ng'omusajja asiima basigale wamu, aleme kwawukana naye.
14
Kubanga omusajja atannakkiriza atukuzibwa olw'omukazi; n'omukazi atannakkiriza atukuzibwa olw'omusajja. Singa si bwe kityo bwe kiri, abaana bandibadde si batukuvu; sso mu mazima batukuvu.
15
Atannakkiriza bw'ayagala okwawukana, agende. Bwe biba bwe bityo, owooluganda oba mwannyinaffe aba takyalina kiziyizo. Anti Katonda yatuyitira ddembe.
16
Ggwe omukazi, omanyi otya ng'olirokola balo? Ggwe omusajja, omanyi otya ng'olirokola mukazi wo?
17
Buli omu ayise ng'Omukama bwe yamuteebeza, era mu mbeera gye yalimu Katonda lwe yamuyita. Kino kye ndagira mu Ekleziya zonna.
18
Oli we yayitirwa yali mutayirire? Aleme kweggyako bubonero bwa kutayirirwa. Oli we yayitirwa teyali mutayirire? Aleme kunoonya kutayirirwa.
19
Okutayirirwa temuli kantu, n'obutatayirirwa temuli kantu; ekikulu kukwata biragiro bya Katonda.
20
Buli omu asigale mu mbeera mwe yayitirwa.
21
Wali muddu we wayitirwa? Leka kweraliikirira; kyokka bw'osobola okuwona obuddu, weeyambise omukisa ogwo.
22
Kubanga oyo Omukama gwe yayita nga muddu, kaakano mununule wa Mukama; kye kimu n'oli eyayitibwa nga si muddu, kaakano muddu wa Kristu.
23
Mwagulibwa n'omuwendo, muleme kufuuka nno baddu ba bantu.
24
Abooluganda, buli omu anywerere mu mbeera mwe yayitirwa, mw'aba asigala ne Katonda.
25
Omukama taliiko kye yandagira ku batannafumbirwa, naye mpa endowooza yange nga nze olw'ekisa ky'Omukama eyaweebwa okuba omwesigwa.
26
Okulabira ku bikalubo eby'ebiseera bino, ndowooza ekisinga omuntu asigale nga bw'ali.
27
Wagattibwa n'omukazi? Tonoonya kusumululwa. Tonnawasa? Tonoonya wa kuwasa.
28
Naye bw'oba owasizza, oba tokoze kibi; n'omuwala bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Naye abo ennaku ez'omubiri zijja kubasanga; nandyagadde okuzibawonya.
29
Abooluganda, kino kye ŋŋamba, nti akadde kasigadde katono, n'okuva kati abalina abakazi babe ng'abatalina;
30
abakaaba babe ng'abatakaaba; abasanyuka babe ng'abatasanyuka; abagula babe ng'abatalina kantu.
31
Abakolagana n'ensi babe ng'abatakolagana nayo; kubanga enfaanana y'ensi eno eggwaawo.
32
Njagala muleme kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama; asala ga kusanyusa Katonda.
33
Sso omusajja omufumbo yeeraliikirira bya nsi; asala ga kusanyusa mukazi we;
34
oyo aba agabanyiziddwamu wabiri. Omukazi oba omuwala atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama, asala ga kubeera mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo; naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya nsi; asala ga kusanyusa bba.
35
Ebyo mbyogedde lwa kubagasa, si kubatikka mugugu, wabula okubanguyiza ebintu, muweereze Omukama awatali kutaataaganyizibwa.
36
Singa oli awulira nga tayisa bulungi mwogerezebwa we, ng'asikirizibwa gy'ali, era ng'alina kukikola, oyo akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, tewali kibi.
37
N'oli ateesa mu mutima gwe n'amalirira, nga tewali amuwalirizza, nga yeeteesezza bulungi, n'asalawo mu mutima gwe okumukuuma ng'omwogerezebwa we, akola bulungi.
38
Awo nno, oli awasa omwogerezebwa we akola bulungi; naye oyo atamuwasizza aba akoze bulungi okusinga.
39
Omukazi asibiddwa ku bba ebbanga lyonna nga bba akyali mulamu; naye bba bw'amala okufa, wa ddembe okufumbirwa yenna gw'ayagala, naye mu Mukama mwokka.
40
Nze nga bwe ndaba, yandyesiimye okusinga singa asigalira awo; nange ndowooza nnina Mwoyo wa Katonda.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16