bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Corinthians 4
1 Corinthians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Omuntu bw'ati bwe yanditulowoozezzaako: ng'abaweereza ba Kristu, abawanika b'ebyama bya Katonda.
2
Kati nno ekirindiriddwa mu bawanika, omuwanika yandisangiddwa nga mwesigwa.
3
Nze mmwe okunnamula, oba okulamulibwa embuga ez'abantu obuntu, sikitwala ng'ekikulu; nange nzennyini seeramula.
4
Kwo okubeera seemanyiiko musango; naye si kwe kugamba nti ndi mutuukirivu; Omukama y'annamula.
5
Awo nno muleke kulamula ng'obudde tebunnatuuka; ng'Omukama tannatuuka oyo alyerula byonna ebikisiddwa mu nzikiza, n'amanyisa enteesa eziri mu mutima; olwo buli omu lw'alifuna ettendo eriva mu Katonda.
6
Abooluganda, njogedde ebyo byonna ku nze ne ku Apollo, lwa kubeera mmwe, mulyoke mutuyigireko okugoberera ebyawandiikibwa, wabulewo mu mmwe eyeetenda olw'omu ne kireetera omulala okugayibwa.
7
Ani akulabyemu eky'enjawulo? Kiki ky'olina ky'otaafuna bufunyi? Oba wakifuna bufunyi, lwaki wetenda ng'ataafuna kifune?
8
Kati mukkuse! Mwagaggawala dda! Mwafuna obwakabaka nga ffe tetuli nammwe! Singa nno muba bakabaka naffe ne tuba bakabaka awamu nammwe!
9
Naye ndowooza Katonda ffe Abatume atwolese ng'abasemberayo ddala mu bonna; ng'abantu abasaliddwa ogw'okufa; kubanga tufuuse ekyokwerolera eri ensi, bamalayika n'abantu.
10
Tuli basiru olw'okubeera Kristu, naye mmwe muli bagezi mu Kristu; tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe mussibwamu ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa.
11
Ne ku ssaawa ya leero tuli bayala, tulumwa ennyonta, tuyita bwereere, tukubibwa, tetulina we tusula;
12
tufaabiina nga tukola n'emikono gyaffe, bwe tuvumibwa, ffe tusabira mikisa; bwe tuyigganyizibwa, ffe tugumiikiriza;
13
bwe tuweebuulwa, ffe tukanya kuddaabiriza; tufuuse bikudumu bya nsi, ebisejja n'okutuusa kati.
14
Bino sibiwandiise kubaswaza, wabula kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa.
15
Mwandiba nga mulina ababasomesa mu Kristu nga kakumi, naye bakitammwe temulina bangi. Nze nabazaala nga kitammwe mwenna mu Kristu Yezu olw'Evangili.
16
Kale nno mbeegayiridde, mundabireko.
17
Kyenvudde mbatumira Timotewo, omwana wange omwagalwa era omwesigwa mu Mukama, okubajjukiza nga bwe mpisa mu Yezu Kristu, nga bwe njigiriza mu buli Ekleziya.
18
Bwe nafaanana ng'atakyayise eyo gye muli, abamu ne beewanika.
19
Nzija nno kujja mangu ewammwe, Omukama ng'ayagadde, olwo ndimanya si bigambo by'abo abeewanika, wabula amaanyi gaabwe.
20
Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebubeera mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi.
21
Kiki kye mwagala? Nzije ewammwe na muggo, oba na kwagala, mu mutima omukkakkamu?
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16