bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 1
Mark 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Amatandika g'Evangili ya Yezu Kristu, Omwana wa Katonda.
2
Nga bwe kyawandiikibwa mu Yisaaya omulanzi nti: “Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, anaakutegekera ekkubo lyo;
3
eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama, muluŋŋamye obukubo bwe.’ ”
4
Yowanna yalinga abatiza mu ddungu ng'ayigiriza batismu ey'okubonerera olw'okusonyiyibwa ebibi.
5
Ensi yonna eya Buyudaaya n'abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu ne bagendanga gy'ali n'ababatiza mu mugga Yorudani nga baatula ebibi byabwe.
6
Yowanna yayambalanga ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya, n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale.
7
Yayigirizanga ng'agamba nti: “Emabega wange wajjayo ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kufukamira kusumulula lukoba lwa ngatto ze.
8
Nze mbabatizza na mazzi, naye oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.”
9
Mu nnaku ezo, Yezu n'ava e Nazareti eky'omu Galilaaya, n'abatizibwa Yowanna mu Yorudani.
10
Amangu ago, olwava bw'ati mu mazzi, n'alaba eggulu nga libikkuse ne Mwoyo ng'akka ku ye ng'enjiibwa.
11
Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa; nkwesiimiramu.”
12
Amangu ago Mwoyo n'amusindika mu ddungu;
13
n'abeera mu ddungu ennaku amakumi ana, n'akemebwa Sitaani; yabeeranga wamu n'ebisolo by'oku ttale, bamalayika nga bamuweereza.
14
Yowanna bwe yamala okusibibwa, Yezu n'ajja mu Galilaaya n'alangirira Evangili ya Katonda,
15
ng'agamba nti: “Obudde butuukiridde; obwakabaka bwa Katonda busembedde; mubonerere, mukkirize Evangili.”
16
Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba Simoni ne Andureya muganda we nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
17
Yezu n'abagamba nti: “Mungoberere; nzija kubafuula mubeere abavubi b'abantu.”
18
Amangu ago, ne baleka obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
19
Bwe yatambulako akabanga, n'alaba Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we nga basanirira obutimba mu lyato;
20
nabo n'abayita amangu ago. Ne baleka kitaabwe Zebedaayo mu lyato wamu n'abakozi be, ne bamugoberera.
21
Awo ne bajja mu Kafarunawumu, amangu ago n'ayingira mu sinaagooga ku lwa Sabbaato n'ayigiriza.
22
Ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye; kubanga yali abayigiriza ng'alina obuyinza, sso si ng'abawandiisi.
23
Mu sinaagooga yaabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omugwagwa, amangu ago n'aleekaana nti:
24
“Otwagaza ki ggwe Yezu ow'e Nazareti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi ggwe ani, Omutuukirivu wa Katonda.”
25
Yezu n'agukabukira nti: “Sirika ate muveemu.”
26
Omwoyo omugwagwa ne gumusikaasikanya, ne gumuvaamu nga guwowoggana mu ddoboozi ddene.
27
Bonna ne bawuniikirira, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kino kiki? Enjigiriza eno empya ate ey'obuyinza! Kubanga newandibadde emyoyo emigwagwa agiragira ne gimuwulira.”
28
Amangu ago ettutumu lye ne libuna mu nsi yonna eyetooloddewo ey'omu Galilaaya.
29
Amangu ago n'ava mu sinaagooga, n'agenda mu nnyumba ya Simoni ne Andureya, ng'ali wamu ne Yakobo ne Yowanna.
30
Nnyina wa muka Simoni yali ku ndiri ng'alina omusujja; amangu ago ne bamubuulira.
31
Ye n'asembera, n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa; omusujja ne gumuta, n'abaweereza.
32
Obudde bwe bwawungeera, enjuba ng'egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna n'abakwatiddwa emyoyo emibi.
33
Ekibuga kyonna kyali kikuŋŋaanidde awo ku mulyango.
34
N'awonya bangi abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, era n'agoba n'emyoyo emibi mingi, naye nga taganya myoyo mibi kwogera, kubanga gyali gimumanyi.
35
Ku makya mu matulutulu n'agolokoka, n'afuluma n'agenda mu kifo ekyesudde n'abeera eyo nga yeegayirira.
36
Simoni n'amugoberera ne banne bwe baali.
37
Bwe baamuggukako, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.”
38
Ye n'abagamba nti: “Tugende n'awalala mu bibuga ebituliraanye, namwo njigirizeemu, anti ekyo kye najjirira.”
39
N'agenda ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe mu Galilaaya yonna, ng'agoba n'emyoyo emibi.
40
Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amwegayirira, n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Bw'oyagala, osobola okunnongoosa.”
41
Yezu ekisaasaazi ne kimukwata, n'agolola omukono gwe n'amukwatako, n'amugamba nti: “Njagala, longooka.”
42
Amangu ago ebigenge ne bimuta, n'alongooka.
43
N'amukuutira, n'amusiibula amangu ago nga bw'amugamba nti:
44
“Laba nti tobaako gw'obuulira, wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo Musa kye yalagira ng'obukakafu gye bali.”
45
Naye ye olwafuluma, ekigambo n'atandika okukyogerako kyere n'okukiralaasa, Yezu nga takyayinza kuyingira mu lwatu mu kibuga, wabula yabeeranga bbali mu bifo ebyesudde. Abantu baagendanga gy'ali nga bava mu buli nsonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16