bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 3
Mark 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Era n'ayingira mu sinaagooga; omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogwakala.
2
Ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato balyoke bamuwawaabire.
3
Ye n'agamba oli eyalina omukono omukalu nti: “Situka ojje wakati.”
4
Awo n'abagamba nti: “Kisaanye kukolera obulungi ku Sabbaato nandiki kukolera bubi, kuwonya bulamu oba kutta?” Bo ne basirika busirisi.
5
N'abeebunguluza amaaso ng'akaladde n'obunakuwavu nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe; n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; omukono gwe ne guddirawo ddala.
6
Abafarisaayo ne bafuluma, amangu ago ne bamuteesaako n'ab'ekibiina kya Erode nga bwe banaamuzikiriza.
7
Yezu n'avaayo n'abayigirizwa be n'adda ku nnyanja. Ekibiina kinene ne kimugoberera okuva mu Galilaaya era n'okuva mu Buyudaaya,
8
n'okuva mu Yeruzaalemu ne mu Yidumeya n'emitala wa Yorudani, ne mu miriraano gya Tiiro ne Sidoni; bwe baawulira bye yali akola, ne bajja gy'ali, ekibiina ekinene obulala!
9
N'alagira abayigirizwa be okumulabira akaato olw'okubeera ekibiina, baleme kumunyigiriza.
10
Kubanga yawonyanga bangi, abalina endwadde, kyebaavanga bamwesuulako bamukwateko.
11
N'emyoyo emigwagwa bwe gyamulabanga nga gimuvunnamira nga giwowoggana nti: “Ggwe oli Mwana wa Katonda,”
12
naye ye ng'agikomako n'amaanyi obutamwatuukiriza.
13
Awo n'alinnya ku lusozi, n'ayita w'ali be yayagala, ne bajja w'ali.
14
N'alonda kkumi na babiri babeerenga naye, abatumenga okuyigiriza,
15
nga balina n'obuyinza obw'okugoba emyoyo emibi:
16
Simoni gwe yayongerako erinnya erya Petero;
17
Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda wa Yakobo, be yayongerako erinnya erya 'Bowanerige', kwe kugamba nti: 'Abaana b'enjota';
18
ne Andureya ne Filippo, ne Barutolomaawo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufayo, ne Taddewo, ne Simoni Omukanaani,
19
ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe.
20
Ne bagenda mu nnyumba, ekibiina ne kikuŋŋaana nate, nga tebakyayinza newandibadde okulya ku mmere.
21
Ababe bwe baawulira, ne bajja okumukwata; baali bagamba nti: “Agudde eddalu.”
22
Abawandiisi abaali bavudde e Yeruzaalemu ne bagamba nti: “Alimu Beelizebuli, n'emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.”
23
Awo n'abayita w'ali, n'abagamba mu ngero nti: “Kale Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani?
24
Obanga obwakabaka bwetemyemu, obwakabaka obwo tebusobola kunywera.
25
Ennyumba bwe yeetemamu, eyo nga tekyanywedde.
26
Obanga Sitaani yeerwanyisa bw'atyo, aba yeetemyemu, talisobola kunywera; atuuse ku nkomerero.
27
Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya w'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi, olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye.
28
Mazima mbagamba nti ebibi byonna birisonyiyibwa, na buli bivumo bye bavumamu Katonda;
29
naye buli alivuma Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa emirembe gyonna; wabula aliko omusango gw'ekibi eky'emirembe gyonna.”
30
Anti baali bagamba nti: “Alimu omwoyo omugwagwa.”
31
Awo nnyina ne baganda be ne bajja ne bayimirira ebweru, ne bamutumira nga bamuyita.
32
Ekibiina kyali kitudde nga kimwetoolodde, abantu ne bamugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo baabano wabweru bakunoonya.”
33
Ye n'abagamba nti: “Mmange ye ani ne baganda bange be baani?”
34
Awo ne yeebunguluza amaaso abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'abagamba nti: “Bano ye mmange, be baganda bange.
35
Kubanga buli akola Katonda ky'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16